Abaebbulaniya 10 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abaebbulaniya 10:1-39

Kristo yeewaayo omulundi gumu ku lwa bonna

110:1 a Beb 8:5 b Beb 9:11 c Beb 9:23 d Beb 7:19Amateeka kisiikirize busiikirize eky’ebirungi ebigenda okujja, go ku bwagwo tegamala, kubanga ssaddaaka ezo ze zimu eza buli mwaka ze bawaayo obutayosa ezitayinza kutukuza abo abaziwaayo. 2Ssaddaaka ezo zandibadde tezikyaweebwayo, kubanga abaaziwaayo, omulundi ogumu gwandibamaze okubatukuza, ne bataddayo kweraliikirira olw’ebibi byabwe. 310:3 Beb 9:7Naye ssaddaaka eza buli mwaka zaabajjukizanga ebibi byabwe. 410:4 Beb 9:12, 13Kubanga omusaayi gw’ente ennume n’embuzi tegusobola kuggyawo bibi.

510:5 a Beb 1:6 b 1Pe 2:24Noolwekyo Kristo bwe yali ng’ajja mu nsi kyeyava agamba nti,

“Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.

Naye wanteekerateekera omubiri.

6Ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’ekibi,

tewabisiima.

710:7 a Yer 36:2 b Zab 40:6-8Kyennava njogera nti, ‘Nzuno, nga bwe kyawandiikibwa mu mizingo gy’ebyawandiikibwa:

Nzize okukola by’oyagala, ng’Ebyawandiikibwa bwe binjogerako.’ ”

810:8 nny 5, 6; Mak 12:33Nga bwe kyogera waggulu nti, Ssaddaaka n’ebiweebwayo, n’ebiweebwayo ebiramba ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’ebibi tewabyagala so tewabisiima, so nga biweebwayo ng’amateeka bwe galagira, 910:9 nny 7n’alyoka agamba nti, “Nzuuno nzize okukola by’oyagala.” Noolwekyo aggyawo enkola esooka alyoke anyweze enkola eyookubiri. 1010:10 a Yk 17:19 b Beb 2:14; 1Pe 2:24 c Beb 7:27Twatukuzibwa olw’okwagala kwe, omubiri gwa Yesu Kristo bwe gwaweebwayo omulundi ogumu ku lwaffe ffenna.

1110:11 a Beb 5:1 b nny 1, 4Buli kabona ayimirira buli lunaku ng’aweereza, n’awaayo ssaddaaka mu ngeri y’emu, ezitayinza kuggyawo bibi, 12naye Kristo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka ey’emirembe gyonna, olw’ebibi, n’alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 1310:13 Beb 1:13Okuva mu kiseera kino alindirira abalabe be bafuulibwe entebe y’ebigere bye. 1410:14 nny 1Kubanga olw’ekiweebwayo ekyo ekimu, abaatukuzibwa yabawa obutuukirivu obw’emirembe gyonna.

1510:15 Beb 3:7Mwoyo Mutukuvu naye akikakasa bw’ayogera nti,

1610:16 Yer 31:33; Beb 8:10“Eno y’endagaano gye ndikola nabo,

oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama.

Nditeeka amateeka gange ku mitima gyabwe,

era ndiwandiika amateeka gange mu myoyo gyabwe.”

1710:17 Beb 8:12Ayongerako kino nti,

“Sirijjukira nate bibi byabwe

newaakubadde obujeemu bwabwe.”

18Naye kaakano awali okusonyiyibwa ebintu ebyo, waba tewakyali kyetaagisa kuwaayo kiweebwayo olw’ebibi.

Obugumiikiriza

1910:19 Bef 2:18; Beb 9:8, 12, 25Kale abooluganda nga bwe tulina obuvumu okuyingira mu Watukuvu w’Awatukuvu olw’omusaayi gwa Yesu, 2010:20 a Beb 9:8 b Beb 9:3eyatuggulirawo ekkubo eriggya era eddamu eriyita mu lutimbe, gwe mubiri gwe, 2110:21 Beb 2:17kale nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu nga y’afuga ennyumba ya Katonda, 2210:22 a Beb 7:19 b Ez 36:25tusembere awali Katonda n’omwoyo ogw’amazima ogujjudde okukkiriza nga tulina emitima egitukuzibbwa okuva mu ndowooza embi, era nga n’emibiri gyaffe ginaazibbwa n’amazzi amatukuvu. 2310:23 a Beb 3:6 b 1Ko 1:9Kale tunyweze essuubi lye twatula nga tetusagaasagana, kubanga eyasuubiza mwesigwa, 24era tussengayo omwoyo buli muntu eri munne, nga twekubiriza mu kwagala ne mu kukola ebikolwa ebirungi. 2510:25 a Bik 2:42 b Beb 3:13Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ng’abamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lw’okudda kwa Mukama waffe lusembedde.

2610:26 Kbl 15:30Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olw’ekibi. 2710:27 Is 26:11; 2Bs 1:7Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogw’ekibonerezo eky’omuliro ogw’amaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda. 2810:28 Ma 17:6, 7; Beb 2:2Omuntu yenna eyajeemeranga amateeka ga Musa yattibwanga awatali kusaasirwa, bwe waabangawo abajulirwa babiri oba basatu abamulumiriza. 2910:29 a Beb 6:6 b Mat 26:28Noolwekyo omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era n’omusaayi gw’endagaano ogunaazaako ebibi n’aguyisa ng’ogwa bulijjo, era n’anyoomoola Omwoyo ow’ekisa, talibonerezebwa n’obukambwe obusingawo? 3010:30 a Ma 32:35; Bar 12:19 b Ma 32:36Kubanga tumumanyi oyo eyagamba nti, “Okuwoolera eggwanga kwange. Nze ndisasula.” Era nti, “Mukama y’aliramula abantu be.” 3110:31 Mat 16:16Kintu kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu!

3210:32 a Beb 6:4 b Baf 1:29, 30Mujjukire ennaku ez’edda bwe mwategeera Kristo, ne mugumiikiriza okubonyaabonyezebwa okw’amaanyi. 3310:33 a 1Ko 4:9 b Baf 4:14; 1Bs 2:14Oluusi mwavumibwanga era ne muyigganyizibwa mu lwatu, ate olulala ne mussa kimu n’abo abaabonaabona nga mmwe. 34Mwalumirwa wamu n’abasibe, era mwagumiikiriza n’essanyu bwe mwanyagibwako ebyammwe kubanga mwamanya nti mulina ebisinga obulungi era eby’olubeerera ebibalindiridde.

35Kale munywererenga ku buvumu bwammwe bwe mulina, obuliko empeera ennene. 3610:36 Luk 21:19Kubanga kibasaanira okugumiikiriza nga mukola Katonda by’ayagala mulyoke mufune ebyo bye yasuubiza.

3710:37 a Mat 11:3 b Kub 22:20Wasigadde akaseera katono nnyo,

oyo ow’okujja ajje era talirwa.

3810:38 Bar 1:17; Bag 3:11Omutuukirivu wange, anaabanga mulamu lwa kukkiriza,

kyokka bw’adda emabega simusanyukira.

39Naye ffe tetuli ba kudda mabega mu kuzikirira, wabula tulina okukkiriza okunywevu okutuleetera okulokoka.