Abaebbulaniya 1 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abaebbulaniya 1:1-14

Omwana mukulu okusinga bamalayika

11:1 a Yk 9:29; Beb 2:2, 3 b Bik 2:30 c Kbl 12:6, 8Edda, Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe mu ngeri nnyingi ez’enjawulo ng’ayita mu bannabbi; 21:2 a Zab 2:8 b Yk 1:3naye mu nnaku zino ez’oluvannyuma yayogera naffe ng’ayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi n’ebintu byonna ebirimu. 31:3 a Yk 1:14 b Bak 1:17 c Beb 7:27 d Mak 16:19Amasamasa n’ekitiibwa kya Katonda, era ky’ekifaananyi kye ddala bw’ali, era abeezaawo buli kintu olw’ekigambo kye eky’amaanyi. Bwe yamala okukola ekikolwa eky’okututukuza okuva mu bibi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obw’omu ggulu. 41:4 Bef 1:21Bw’atyo n’asinga bamalayika, nga kyeragira ku linnya lye okuba ery’ekitiibwa okusinga amannya gaabwe.

51:5 a Zab 2:7 b 2Sa 7:14Kubanga ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti,

“Ggwe oli Mwana wange,

Leero nkuzadde?”

Era nate nti, “Nze nnaabeeranga Kitaawe gy’ali

naye anaabeeranga Mwana wange gye ndi?”

61:6 a Beb 10:5 b Ma 32:43; Zab 97:7Era nate bw’aleeta Omwana we omubereberye mu nsi, agamba nti,

“Bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.”

71:7 Zab 104:4Era ayogera ku bamalayika nti,

“Afuula bamalayika be ng’empewo,

n’afuula n’abaweereza be ng’ennimi z’omuliro.”

8Naye ku Mwana ayogera nti,

“Entebe yo ey’Obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera emirembe n’emirembe;

obutuukirivu, gwe muggo ogw’obwakabaka bwo.

91:9 a Baf 2:9 b Is 61:1, 3Wayagala obutuukirivu n’okyawa obujeemu.

Katonda, era Katonda wo kyeyava akufukako

amafuta ag’omuzeeyituuni agaleeta essanyu okusinga banno.”

10Ayongera n’agamba nti,

“Mukama ku lubereberye wassaawo omusingi gw’ensi,

era n’eggulu mirimu gwa mukono gwo.

111:11 Is 34:4Ebyo biriggwaawo, naye ggwe olibeerera emirembe gyonna,

era byonna birikaddiwa ng’ekyambalo bwe kikaddiwa.

121:12 a Beb 13:8 b Zab 102:25-27Era olibizingako ng’ekooti bwe zingibwako,

era birikyusibwa ng’ekyambalo bwe kikyusibwa.

Naye ggwe oba bumu,

so n’emyaka gyo tegirikoma.”

131:13 a Yos 10:24; Beb 10:13 b Zab 110:1Ani ku bamalayika gwe yali agambye nti,

“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,

okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo,

ne bafuuka entebe y’ebigere byo”?

141:14 a Zab 103:20 b Beb 5:9Bamalayika bonna, myoyo egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi.