Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Abaebbulaniya 1

Omwana mukulu okusinga bamalayika

1Edda, Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe mu ngeri nnyingi ez’enjawulo ng’ayita mu bannabbi; naye mu nnaku zino ez’oluvannyuma yayogera naffe ng’ayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi n’ebintu byonna ebirimu. Amasamasa n’ekitiibwa kya Katonda, era ky’ekifaananyi kye ddala bw’ali, era abeezaawo buli kintu olw’ekigambo kye eky’amaanyi. Bwe yamala okukola ekikolwa eky’okututukuza okuva mu bibi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Bw’atyo n’asinga bamalayika, nga kyeragira ku linnya lye okuba ery’ekitiibwa okusinga amannya gaabwe.

Kubanga ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti,

“Ggwe oli Mwana wange,
    Leero nkuzadde?”
Era nate nti, “Nze nnaabeeranga Kitaawe gy’ali
    naye anaabeeranga Mwana wange gye ndi?”

Era nate bw’aleeta Omwana we omubereberye mu nsi, agamba nti,

“Bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.”

Era ayogera ku bamalayika nti,

“Afuula bamalayika be ng’empewo,
    n’afuula n’abaweereza be ng’ennimi z’omuliro.”

Naye ku Mwana ayogera nti,

“Entebe yo ey’Obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera emirembe n’emirembe;
    obutuukirivu, gwe muggo ogw’obwakabaka bwo.
Wayagala obutuukirivu n’okyawa obujeemu.
    Katonda, era Katonda wo kyeyava akufukako
    amafuta ag’omuzeeyituuni agaleeta essanyu okusinga banno.”

10 Ayongera n’agamba nti,

“Mukama ku lubereberye wassaawo omusingi gw’ensi,
    era n’eggulu mirimu gwa mukono gwo.
11 Ebyo biriggwaawo, naye ggwe olibeerera emirembe gyonna,
    era byonna birikaddiwa ng’ekyambalo bwe kikaddiwa.
12 Era olibizingako ng’ekooti bwe zingibwako,
    era birikyusibwa ng’ekyambalo bwe kikyusibwa.
Naye ggwe oba bumu,
    so n’emyaka gyo tegirikoma.”

13 Ani ku bamalayika gwe yali agambye nti,

“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
    okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo,
    ne bafuuka entebe y’ebigere byo”?

14 Bamalayika bonna, myoyo egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

希伯来书 1

划时代的启示

1在古代,上帝曾借着先知以各种方式多次向我们的祖先说话; 在这世界的末期,祂又借着自己的儿子亲自向我们说话。上帝早已立祂承受万物,并借着祂创造了宇宙万物。 祂正是上帝荣耀的光辉,是上帝本体的真像。祂用自己充满能力的话语维系万物。祂洗净了世人的罪之后,便坐在天上至高上帝的右边。 祂既承受了比天使更高的名分,就远超越天使。

上帝从未对任何一个天使说:

“你是我的儿子,我今日成为你父亲。”

或说:

“我要做你的父亲,你要做我的儿子。”

上帝差遣祂的长子到世上来时,说:

“上帝的天使都要敬拜祂。”

上帝提到天使的时候,也只是说:

“上帝使祂的天使成为风,使祂的仆役成为火焰。”

但论到祂的儿子,祂却说:

“上帝啊,你的宝座永远长存,
你以公义的杖执掌王权。
你喜爱公义,憎恶邪恶。
所以上帝,你的上帝,
用喜乐之油膏你,使你超过同伴。”

10 此外又说:

“主啊,太初你奠立大地的根基,
亲手创造诸天。
11 天地都要消亡,但你永远长存。
天地都会像衣服渐渐破旧,
12 你要像卷外衣一样把天地卷起来。
天地将如衣服一样被更换,
但你永远不变,
你的年日永无穷尽。”

13 上帝从未对任何一个天使说:

“你坐在我的右边,
等我使你的仇敌成为你的脚凳。”

14 天使岂不都是服役的灵吗?他们奉差遣,岂不是去为那些将要承受救恩的人服务吗?