3 Yokaana 1 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

3 Yokaana 1:1-15

11 2Yk 1Nze, Omukadde, mpandiikira ggwe Gayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima.

2Munnange omwagalwa, nkusabira okole bulungi ebintu byonna era obeere mulamu mu mubiri, nga bw’oli mu mwoyo. 33 a nny 5, 10 b 2Yk 4Abooluganda bwe nabatuukako kya nsanyusa nnyo bwe bambuulira nti onyweredde mu mazima, era nti mw’otambulira. 44 1Ko 4:15; 1Yk 2:1Tewali kindeetera ssanyu lisinga ng’eryo lye nfuna bwe mpulira nti abaana bange batambulira mu mazima.

55 Bar 12:13; Beb 13:2Omwagalwa, okola ekintu kya bwesigwa buli lw’okolera abooluganda ebirungi na ddala ababeera ku ŋŋendo ne bw’oba tobamanyi. 6Baategeeza Ekkanisa omukwano gwe wabalaga awamu ne bye wabakolera. Kibeera kirungi singa obasiibuza ekirabo ekiba kisaanidde. 77 a Yk 15:21 b Bik 20:33, 35Kubanga baatambulira mu linnya lya Mukama, nga tebakkiriza ebyo abatali bakkiriza bye baabawanga. 8Noolwekyo ffe ffennyini, ffe tusaana okubalabirira tulyoke tufuuke bakozi bannaabwe mu mazima.

Diyotuleefe ne Demeteriyo

9Nawandiikira Ekkanisa ku nsonga eyo, kyokka Diyotuleefe, olw’okwagala okwefuula omukulembeze tatwagala. 1010 a 2Yk 12 b nny 5 c Yk 9:22, 34Bwe ndijja ndibategeeza ebimu ku bintu by’akola, n’ebintu by’atwogerako ebitali birungi, era n’olulimi oluvuma lw’akozesa. Takoma ku kugaana kwaniriza abooluganda abatambuze kyokka, naye n’okulagira alagira abantu abalala nabo, baleme okubaaniriza era abo ababaaniriza agezaako okubagoba mu Kkanisa.

1111 a Zab 37:27 b 1Yk 2:29 c 1Yk 3:6, 9, 10Mukwano gwange, togobereranga kyakulabirako ekibi wabula eby’obutuukirivu. Gobereranga ebyo byokka by’olaba nga bya butuukirivu. Kirungi ojjukirenga nti abo abakola eby’obutuukirivu baba bakakasiza ddala nga bwe bali abaana ba Katonda; naye abakola ebitali bya butuukirivu balaga nga bwe bali ewala ne Katonda. 1212 a 1Ti 3:7 b Yk 21:24Naye buli omu ayogera bya mazima ku Demeteriyo. Nange mwogerako bya mazima byereere. Naye omanyi nga nze njogera mazima.

13Mbadde na bingi eby’okukugamba, kyokka saagala kubikuwandiikira mu bbaluwa, 1414 a 2Yk 12 b Yk 10:3kubanga nsuubira okukulaba mu bbanga ttono. Kale olwo tuliba na bingi eby’okwogerako ffembi nga tulabaganye amaaso n’amaaso.

15Emirembe gibeerenga naawe.

Ab’emikwano abali wano bakulamusizza. Nange, mikwano gyange abali eyo, buli omu munnamusize.