Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

2 Yokaana

Nze omukadde mpandiikira omukyala omulonde awamu n’abaana be, be njagalira ddala mu mazima, si nze mbaagala nzekka, wabula n’abo bonna abategeera amazima. Amazima ago gabeera mu ffe, era gajjanga kubeera mu ffe emirembe gyonna.

Ekisa, n’okusaasira n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe bijjanga kubeera naffe mu mazima ne mu kwagala.

Nnasanyuka nnyo, bwe nnasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima nga bwe twalagirwa Kitaffe. Naye nnyabo kaakano nkusaba nga siri ng’akuwa ekiragiro ekiggya, naye nkujjukiza ekiragiro ekyo Katonda kye yatuwa okuva ku lubereberye nti, “Twagalanenga.” Era kuno kwe kwagalana nti tugonderenga ebiragiro bya Katonda. Kubanga okuva ku lubereberye twategeezebwa nga bwe tuteekwa okutambula.

Mwekuume, abalimba bangi mu nsi abatakkiriza nti Yesu yayambala omubiri. Buli muntu ayogera bw’atyo mulimba era mulabe wa Kristo. Mwekuume, muleme okufiirwa kye twakolerera, wabula mukikuume kubanga mulifuna empeera yammwe yonna. Buli asukka ku ebyo Kristo by’ayigiriza n’atabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe n’Omwana. 10 Omuntu yenna bw’ajja gye muli, n’atayigiriza bw’atyo, temumwanirizanga mu nnyumba yammwe, n’okulamusa temumulamusanga. 11 Kubanga buli amusembeza aba yeenyigidde mu bikolwa ebyo ebibi.

12 Mbadde na bingi eby’okubawandiikira, kyokka saagala byonna kubibawandiikira buwandiikizi, wabula nsuubira okubakyalira tulyoke twogeraganye nga tulabagana amaaso n’amaaso, essanyu lyaffe liryoke lituukirire.

13 Abaana ba mwannyoko omulonde bakulamusizza.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

約翰二書

我這作長老的寫信給蒙揀選的女士[a]和你的兒女,就是我本著真理所愛的。你們不單是我所愛的,也是一切認識真理的人所愛的。 我們愛你們,因為真理在我們裡面,並且永遠與我們同在。

從父上帝和祂兒子耶穌基督而來的恩典、憐憫和平安也必在真理和愛中與我們同在!

彼此相愛

你的兒女當中有人按照我們從父領受的命令遵行真理,我知道後非常欣慰。 女士啊,我現在勸你,我們大家要彼此相愛。這不是新命令,而是我們從起初就已經領受的命令。 愛就是遵行上帝的命令,這是你們從起初就聽過又當遵行的命令。

提防騙子

因為現在世上有許多騙子出來迷惑人,他們否認耶穌基督曾降世為人。這樣的人是騙子,是敵基督者。 你們要謹慎,好得到完滿的賞賜,免得我們前功盡棄。 誰偏離基督的教導,誰心中就沒有上帝;誰遵守基督的教導,誰就有父和子與他同在。 10 若有人到你們那裡不傳基督的教導,不要請他到家裡,也不要問候他, 11 因為問候他就是與他同流合污。

結語

12 我還有許多事要告訴你們,但不想藉助紙墨,而是希望有機會到你們那裡與你們當面暢談,使我們充滿喜樂。

13 你那蒙揀選之姊妹的兒女問候你。

Notas al pie

  1. 1·1 學者一般認為「蒙揀選的女士」是指教會。