2 Timoseewo 2 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Timoseewo 2:1-26

Omuserikale Omwesigwa owa Kristo

12:1 Bef 6:10Noolwekyo mwana wange nywereranga mu kisa ekiri mu Kristo Yesu. 22:2 a 2Ti 1:13 b 1Ti 6:12Ebyo bye wawulira nga njogera mu maaso g’abajulirwa abangi biyigirizenga abantu abeesigwa, abalisobola okubiyigiriza abalala. 32:3 1Ti 1:18Naawe bonaabonanga ng’omuserikale omulungi owa Kristo Yesu. 4Tewali muserikale ng’ali ku lutalo eyeeyingiza mu mitawaana gy’abantu abaabulijjo, alyoke asiimibwe oyo eyamuwandiika. 52:5 1Ko 9:25Omuntu yenna eyeetaba mu mizannyo gy’empaka, taweebwa buwanguzi bw’atagoberera biragiro bya mizannyo egyo. 6Omulimi ategana ennyo y’asaanira okufuna ku bibala ebibereberye. 7Kale lowooza ku bye ŋŋamba; Mukama ajja kukuwa okutegeera byonna.

82:8 a Bik 2:24 b Mat 1:1 c Bar 2:16Jjukira nga Yesu Kristo ow’omu zzadde lya Dawudi yazuukira mu bafu ng’Enjiri gye ntegeeza bw’egamba. 92:9 Bik 9:16Olw’Enjiri eyo, kyenva mbonaabona n’ensibibwa ng’omukozi w’ebibi. Naye ekigambo kya Katonda kyo tekisibiddwa. 102:10 a Bak 1:24 b 2Ko 4:17Kyenva ngumira ebintu byonna olw’abalonde nabo balyoke balokolebwe era bafune, n’ekitiibwa ekitaggwaawo ekiri mu Kristo Yesu.

112:11 Bar 6:2-11Ekigambo kino kyesigwa ekigamba nti:

“Obanga twafiira wamu naye,

era tulibeera balamu wamu naye.

122:12 a Bar 8:17; 1Pe 4:13 b Mat 10:33Obanga tugumiikiriza awamu naye, era tulifugira wamu naye.

Obanga tumwegaana era naye alitwegaana.

132:13 Kbl 23:19; Bar 3:3Ffe bwe tutaba beesigwa, ye aba mwesigwa,

kubanga teyeewakanya.”

Omukozi Katonda gw’asiima

142:14 1Ti 6:4Ebyo bijjukizenga abantu ng’obakuutirira mu maaso ga Katonda, beewalenga okuwakana okutalina mugaso, nga bakyamya abo abawuliriza. 152:15 Bef 1:13; Yak 1:18Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, ng’oli mukozi akola ebitakuswaza, era nga weekuumira mu kkubo ery’obubaka obw’amazima. 162:16 Tit 3:9Weewalenga ebigambo ebinyooma era ebitaliimu nsa, kubanga abantu bibongera bwongezi mu butatya Katonda. 172:17 1Ti 1:20Era ebigambo byabwe birisaasaana nga kookolo; mu abo mwe muli Kumenayo ne Fireeto, 182:18 1Ti 1:19abaakyama ne bava ku mazima, nga bagamba nti okuzuukira kwabaawo dda, era waliwo abamu be bakyamizza. 192:19 a Is 28:16 b Yk 10:14 c 1Ko 1:2Kyokka omusingi Katonda gwe yateekawo mugumu, era gulina akabonero kano: “Mukama amanyi ababe.” Era nti: “Buli ayatula erinnya lya Mukama ave mu butali butuukirivu.”

202:20 Bar 9:21Mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na ffeeza byokka, naye mubaamu n’eby’emiti, era n’eby’ebbumba. Ebimu bikozesebwa emirimu egy’ekitiibwa, n’ebirala egitali gya kitiibwa. 212:21 2Ti 3:17Noolwekyo buli eyeewala ebintu ebyo ebitali bya kitiibwa anaabanga ow’ekitiibwa, atukuziddwa, asaanira okukozesebwa mukama we, olw’omulimu omulungi.

222:22 a 1Ti 1:14; 6:11 b 1Ti 1:5Naye ddukanga okwegomba okubi okw’ekivubuka, ogobererenga obutuukirivu, n’okukkiriza, n’okwagalana era n’emirembe awamu n’abo abasaba Mukama n’omutima omulongoofu. 23Weewalenga empaka ez’obusirusiru, ezitaliimu magezi, kubanga omanyi nti zivaamu okulwana. 242:24 1Ti 3:2, 3Omuddu wa Mukama tasaana kulwana, wabula okuba omukkakkamu eri bonna, n’okuba omuyigiriza omulungi agumiikiriza, 252:25 1Ti 2:4era aluŋŋamya n’obwetoowaze abo abamuwakanya, oboolyawo Katonda alibawa okwenenya, ne bamanya amazima, 262:26 1Ti 3:7ne bava mu mutego gwa Setaani gwe baguddemu abakozese by’ayagala, ne badda engulu mu kutegeera kwabwe.