2 Timoseewo 1 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Timoseewo 1:1-18

11:1 a 2Ko 1:1 b Bef 3:6; 1Ti 6:19Nze, Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw’okwagala kwa Katonda, ng’okusuubiza bwe kuli okw’obulamu obuli mu Kristo Yesu, 21:2 a Bik 16:1 b 1Ti 1:2nkuwandiikira ggwe Timoseewo omwana wange omwagalwa, nga nkwagaliza ekisa n’okusaasirwa, n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Kristo Yesu Mukama waffe.

Okwebaza n’Okugumya

31:3 a Bar 1:8 b Bar 1:10Neebaza Katonda gwe mpeereza mu mwoyo omulungi nga bajjajjange bwe baakola, nga nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange emisana n’ekiro. 41:4 a Bik 20:37 b 2Ti 4:9Bwe nzijukira amaziga go ne neegomba okukulaba ndyoke nzijule essanyu. 51:5 a 1Ti 1:5 b Bik 16:1Nzijukira okukkiriza kwo okw’amazima olubereberye okwali mu jjajjaawo Looyi ne mukadde wo Ewuniike; era nga nkakasiza ddala nga naawe okulina. 61:6 1Ti 4:14Kyenva nkujjukiza okuseesanga ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe kye yakuwa, bwe nakussaako emikono gyange. 71:7 Bar 8:15Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, n’okwagala era n’okwegendereza.

81:8 a Mak 8:38; Bar 1:16 b Bef 3:1 c 2Ti 2:3, 9; 4:5Noolwekyo tokwatibwa nsonyi kwogera ku bya Mukama waffe, wadde ku nze omusibe we, wabula naawe bonaabona olw’Enjiri ng’oyambibwa amaanyi ga Katonda, 91:9 Bar 8:28eyatulokola n’atuyita tubeere babe. Ekyo yakikola nga tasinziira ku bikolwa byaffe, wabula ng’asinziira mu kuyitibwa okutukuvu, si ng’ebikolwa byaffe bwe biri, naye olw’ekigendererwa kye ye, n’ekisa kye, kye yatukwatirwa ng’ayita mu Kristo Yesu okuva edda n’edda Lyonna. 101:10 a Bef 1:9 b 1Ko 15:26, 54Kaakano ekisa ekyo kyolesebbwa mu kulabika kw’Omulokozi waffe Kristo Yesu eyaggyawo okufa, n’aleeta obulamu obutazikirizibwa ng’ayita mu Njiri, 111:11 1Ti 2:7gye nalonderwa okugisaasaanya, n’okuba omutume, era omuyigiriza, 121:12 a 1Ti 6:20 b nny 18era kyenva mbonaabona bwe ntyo. Kyokka sikwatibwa nsonyi, kubanga mmanyi gwe nakkiriza, era nkakasa nti ayinza okukuuma ekyo kye namuteresa okutuusa olunaku luli.

131:13 a Tit 1:9 b 1Ti 1:14Gobereranga ebigambo ebireeta obulamu bye wawulira njogera, mu kukkiriza ne mu kwagala mu Kristo Yesu. 141:14 Bar 8:9Ekintu ekirungi eky’omuwendo kye wateresebwa kikuumenga ng’oyambibwa Mwoyo Mutukuvu abeera mu ffe.

151:15 2Ti 4:10, 11, 16Kino okimanyi, ng’ab’omu Asiya bonna banjabulira, mu abo mwe muli Fugero ne Kerumogene.

161:16 2Ti 4:19Mukama akwatirwe ekisa ab’omu nnyumba ya Onesifolo, kubanga yambeesabeesa emirundi mingi era teyankwatirwa nsonyi kubanga ndi musibe; 17bwe yatuuka e Ruumi, yafuba nnyo okunnoonya era n’anzuula. 181:18 Beb 6:10Mukama amukwatirwe ekisa ku lunaku luli. Era gw’omanyi bulungi nnyo byonna bye yakola mu Efeso.