2 Samwiri 23 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Samwiri 23:1-39

Ebigambo ebya Dawudi eby’Enkomerero

123:1 a 2Sa 7:8-9; Zab 78:70-71; 89:27 b 1Sa 16:12-13; Zab 89:20Bino bye bigambo ebya Dawudi, mutabani wa Yese, eby’enkomerero:

ebigambo eby’omusajja eyagulumizibwa,

Ali Waggulu ennyo,

Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta,

omuyimbi wa Zabbuli za Isirayiri:

223:2 Mat 22:43; 2Pe 1:21“Omwoyo wa Mukama yayogerera mu nze,

ekigambo kye kyali mu kamwa kange.

323:3 a Ma 32:4; 2Sa 22:2, 32 b Zab 72:2 c 2By 19:7, 9; Is 11:1-5Katonda wa Isirayiri yayogera,

olwazi lwa Isirayiri yaŋŋamba nti,

‘Omuntu bw’afuga n’obutuukirivu,

n’afugira mu kutya Katonda,

423:4 Bal 5:31; Zab 89:36ali ng’ekitangaala eky’oku makya,

enjuba ng’evaayo ku ggulu nga tekuli bire,

obudde nga butangaala oluvannyuma lw’enkuba okukya

ereetera omuddo okuvaayo mu ttaka.’

523:5 Zab 89:29; Is 55:3Ennyumba yange tetuukiridde mu maaso ga Katonda?

Teyalagaana nange endagaano ey’enkalakkalira,

n’agiteekateeka era n’aginyweza mu buli nsonga?

Ekimulobera okumpa omukisa,

n’okuddamu buli kye mmusaba, kiki?

623:6 Mat 13:40-41Naye abatatya Katonda baliba nga amaggwa agasuulibwa wa bbali,

kizibu okugakwata n’engalo.

7Buli agakwatako kimugwanira okukozesa ekyuma

oba olunyago lw’effumu,

era gookerwa awo omuliro we bagakuŋŋaanyirizza.”

Abasajja ba Dawudi ab’Amaanyi

8Gano ge mannya ag’abasajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yosebu-Basusebesi Omutakemoni eyali omukulu wa bazira abasatu ab’oku ntikko; yatta abasajja lunaana mu lulumbagana lumu.

923:9 a 1By 27:4 b 1By 8:4Eyamuddiriranga ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodayi Omwakowa. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanye okulwana. Abasajja ba Isirayiri baali bazze ennyuma, 10naye ye nayimirira ku bubwe n’atta Abafirisuuti, n’omukono gwe ne gukoowa, ne gusanyalalira ku kitala. Mukama n’abawa obuwanguzi obw’amaanyi olunaku olwo, abaserikale ne baddayo eri Eriyazaali okunyaga ebintu byabo abattibwa.

11Owookusatu ye yali Samma mutabani wa Agee Omukalali. Abafirisuuti bwe baakuŋŋaanira mu musiri ogw’ebijanjaalo, abasajja ba Isirayiri ne babadduka, 12Samma yayimirira wakati mu musiri, n’agulwanirira, era n’atta Abafirisuuti. Mukama n’awa Abayisirayiri obuwanguzi obw’amaanyi.

1323:13 a 1Sa 22:1 b 2Sa 5:18Mu kiseera eky’okukungula, basatu ku bakungu amakumi asatu ne bagenda eri Dawudi mu mpuku eya Adulamu, ekibinja ky’Abafirisuuti nga basiisidde mu kiwonvu Lefayimu. 1423:14 a 1Sa 22:4-5 b Lus 1:19Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, n’olusiisira lw’Abafirisuuti nga luli mu Besirekemu. 15Dawudi n’alumwa ennyonta, n’ayogera nti, “Waliwo omuntu ayinza okunsenera amazzi okuva mu luzzi oluliraanye wankaaki wa Besirekemu?” 1623:16 Lub 35:14Awo abasajja be abazira abasatu ne bawaguza mu nkambi ey’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi lwa Besirekemu olwali luliraanye wankaaki, ne bagatwalira Dawudi. 1723:17 Lv 17:10-12Naye mu kifo eky’okuganywa n’agayiwayo eri Mukama. N’ayogera nti, “Kikafuuwe, Ayi Mukama Katonda, nze okukola ekyo. Nnyinza ntya okunywa omusaayi ogw’abasajja abawaddeyo obulamu bwabwe?” Bw’atyo n’ataganywa.

Ebyo bye bimu ku bintu abasajja abo abasatu abazira bye baakola.

1823:18 2Sa 10:10, 14; 1By 11:20Waaliwo ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya, naye nga mukulu w’abasajja amakumi asatu. Yayimusiza effumu lye eri abasajja ebikumi bisatu n’abatta, ne yeekolera erinnya okwenkanankana abasatu. 19N’aba wa kitiibwa nnyo mu bali amakumi asatu newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abali abasatu.

2023:20 a 2Sa 8:18; 20:23 b Yos 15:21Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ow’e Kabuzeeri yali musajja mulwanyi nnyo eyakola ebyobuzira ebikulu. Yatta babiri ku basajja abazira aba Mowaabu, ate n’aserengeta ne mu bunnya n’atta empologoma mu kiseera eky’obutiti. 21N’atta Omumisiri omunene ennyo. Newaakubadde ng’Omumisiri yalina effumu mu mukono gwe, Benaya ye ng’alina muggo; yamunyagako effumu lye, n’alimuttisa. 22Ebyo bye byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira ng’abasajja bali abasatu abazira. 23N’aweebwa ekitiibwa mu makumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abasatu. Dawudi n’amufuula omukulu w’abambowa.

2423:24 2Sa 2:18Mu makumi asatu mwe mwali:

Asakeri muganda wa Yowaabu,

Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu,

2523:25 Bal 7:1; 1By 11:27Samma Omukalodi,

Erika Omukalodi,

2623:26 1By 27:10Kerezi Omupaluti,

Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa,

2723:27 Yos 21:18Abiyezeeri Omwanasosi,

Mebunnayi Omukusasi,

2823:28 a 1By 27:13 b 2Bk 25:23; Nek 7:26Zalumoni Omwakowa,

Makalayi Omunetofa,

2923:29 Yos 15:57Kerebu mutabani wa Baana Omunetofa,

Ittayi mutabani wa Libayi ow’e Gibea eky’e Benyamini,

3023:30 a Bal 12:13 b Yos 24:30Benaya Omupirasoni,

Kiddayi ow’oku bugga obw’e Gaasi,

3123:31 2Sa 3:16Abi-Aluboni Omwalubasi,

ne Azumavesi Omubalukumi,

32ne Eriyaba Omusaaluboni,

batabani ba Yaseni, Yonasaani,

33ne Samma Omukalali,

Akiyamu mutabani wa Salali Omwalali,

3423:34 a 2Sa 11:3 b 2Sa 15:12Erifereti mutabani wa Akasubayi Omumaakasi,

Eriyaamu mutabani wa Akisoferi Omugiro,

3523:35 Yos 12:22Kezulo Omukalumeeri,

Paalayi Omwalubi,

3623:36 1Sa 14:47Igali mutabani wa Nasani ow’e Zoba,

Bani Omugaadi,

37Zereki Omwamoni,

Nakalayi Omubeerosi, eyasitulanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya,

3823:38 2Sa 20:26; 1By 2:53Ira Omuyisuli,

Galebu Omuyisuli,

3923:39 2Sa 11:3ne Uliya Omukiiti.

Bonna awamu baali amakumi asatu mu musanvu.