Oluyimba lwa Dawudi olw’Okutendereza
122:1 Kuv 15:1; Bal 5:1; Zab 18:2-50Awo Dawudi n’ayimbira Mukama ebigambo eby’oluyimba luno, Mukama bwe yamulokola mu mukono gw’abalabe be ne mu mukono gwa Sawulo. 222:2 a Ma 32:4; Zab 71:3 b Zab 31:3; 91:2 c Zab 144:2N’ayogera nti,
“Mukama lwe lwazi lwange, era ekigo kyange era omulokozi wange;
322:3 a Ma 32:37; Yer 16:19 b Lub 15:1 c Luk 1:69 d Zab 9:9Katonda wange lwe lwazi lwange, omwo mwe neekweka,
ye ngabo yange era amaanyi ge bwe bulokozi bwange.
Kye kiddukiro kyange, mwe nneekweka era ye mulokozi wange;
ggwe ondokola eri abantu ababi.
422:4 Zab 48:1; 96:4Nkaabira Mukama asaanidde okutenderezebwa,
n’andokola eri abalabe bange.
522:5 Zab 69:14-15; 93:4; Yon 2:3“Amayengo ag’okufa ganzingiza;
embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
622:6 Zab 116:3Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;
n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.
722:7 a Zab 120:1 b Zab 34:6, 15; 116:4Mu nnaku yange nakoowoola Mukama;
nakoowoola Katonda wange.
Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;
n’okukaaba kwange kwamutuukako.
822:8 a Bal 5:4; Zab 97:4 b Zab 77:18 c Yob 26:11“Ensi n’ekankana n’ejjugumira,
emisingi gy’eggulu ne ginyeenyezebwa,
ne gikankanyizibwa kubanga yali asunguwadde.
922:9 Zab 97:3; Beb 12:29Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze,
n’omuliro ne guva mu kamwa ke,
n’amanda agaaliko omuliro ne gava mu ye.
1022:10 1Bk 8:12; Nak 1:3Yayabuluza eggulu n’akka wansi;
ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
1122:11 Zab 104:3Ne yeebagala kerubi n’abuuka,
n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
12Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga okuba enkuufiira,
n’ebire ebikutte okuba ekitaba ky’amazzi.
1322:13 nny 9Okumasamasa okwali mu maaso ge
kwayakisa amanda ag’omuliro.
1422:14 1Sa 2:10Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu;
Ali Waggulu Ennyo n’ayogera mu ddoboozi lye.
1522:15 Ma 32:23Yalasa obusaale n’asaasaanya abalabe
n’okumyansa okw’eggulu, n’abawangula.
1622:16 Nak 1:4Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa
n’emisingi gy’ensi ne gyeruka
olw’okunenya kwa Mukama
n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo ze.
1722:17 a Zab 144:7 b Kuv 2:10“Yasinzira waggulu n’antwala
n’ansika mu mazzi amangi.
18Yamponya abalabe bange ab’amaanyi abankyawa,
abo abaali bansinza amaanyi.
1922:19 Zab 23:4Bannumba mu nnaku yange
naye Mukama n’ampanirira.
2022:20 a Zab 31:8 b Zab 118:5 c Zab 22:8 d 2Sa 15:26Yandeeta mu kifo ekigazi;
yandokola kubanga yansanyukira.
2122:21 a 1Sa 26:23 b Zab 24:4“Mukama yampa empeera yange ng’obutuukirivu bwange bwe bwali;
n’ansasula ng’obulongoofu bwe ngalo zange bwe buli.
2222:22 Lub 18:19; Zab 128:1; Nge 8:32Ntambulidde mu kkubo lya Mukama,
era sivanga ku Katonda wange okukola ebitali bya butuukirivu.
2322:23 a Ma 6:4-9; Zab 119:30-32 b Zab 119:102Amateeka ge gonna gaali mu maaso gange,
era ssaava ku biragiro bye.
2422:24 Lub 6:9; Bef 1:4Sizzanga na musango mu maaso ge,
era neekuumye eri obutali butuukirivu.
2522:25 nny 21Mukama kyavudde ansasula ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
era ng’obulongoofu bwange bwe buli mu maaso ge.
26“Eri abeesigwa weeraga okuba omwesigwa;
n’eri abatalina musango ne weeraga obutaba na musango;
2722:27 a Mat 5:8 b Lv 26:23-24eri omulongoofu weeraga okuba omulongoofu
n’eri omukujjukujju ne weeraga okuba omukujjukujju okumusinga.
2822:28 a Kuv 3:8; Zab 72:12-13 b Is 2:12, 17; 5:15Olokola abantu abawombeefu,
naye amaaso go ganoonya ab’amalala n’obakkakkanya.
2922:29 Zab 27:1Oli ttaala yange, Ayi Mukama
era Mukama wange yammulisiza mu nzikiza yange.
30Ku lulwe mpangula eggye,
era ku lwa Katonda wange mbuuka bbugwe.
3122:31 a Ma 32:4; Mat 5:48 b Zab 12:6; 119:140; Nge 30:5-6Ekkubo lya Katonda golokofu,
n’ekigambo kye kituukirira;
era ngabo eri abo bonna
abaddukira gy’ali.
3222:32 1Sa 2:2Kubanga ani Katonda wabula Mukama,
era ani lwazi okuggyako Katonda waffe?
33Katonda kye kiddukiro kyange,
era alongoosa ekkubo lyange.
3422:34 a Kbk 3:19 b Ma 32:13Ebigere byange abifuula okuba ng’eby’ennangaazi,
era ampanirira mu bifo ebya waggulu.
3522:35 Zab 144:1Anteekateeka okulwana entalo,
era n’ansobozesa okulasa obusaale obw’ebikomo.
3622:36 Bef 6:16Ompadde engabo ey’obulokozi bwo,
ne weefeebya ne wessa wansi olyoke onfuule ow’ekitiibwa.
3722:37 Nge 4:11Ogaziyizza ekkubo mwe mpita,
n’obukongovvule bwange tebukoonagana.
38“Nagoba abalabe bange ne mbazikiriza,
so saakyuka kudda mabega okutuusa lwe baamalibwawo.
3922:39 Mal 4:3Na babetentera ddala ne batayinza kuyimuka,
era bali wansi w’ebigere byange.
4022:40 Zab 44:5Wampa amaanyi okulwana entalo,
n’oteeka abo abanjigganya wansi wange.
4122:41 Kuv 23:27Waleetera abalabe bange okunziruka,
ne nsanyaawo abo abankyawa.
4222:42 a Is 1:15 b Zab 50:22Baalindirira okuyambibwa naye ne wataba n’omu ababeera,
ne bakaabira Mukama, naye n’atabaanukula.
4322:43 a Mi 7:10 b Is 10:6; Mi 7:10Nabasekulasekula ne bafuuka ng’enfuufu ey’oku nsi,
ne mbabetenta, ne mbalinnyirira ne bafuuka ng’ebitosi eby’omu nguudo.
4422:44 a 2Sa 3:1 b Ma 28:13 c 2Sa 8:1-14; Is 55:3-5“Ondokodde mu nnumbagana ez’abantu bange,
n’onfuula omukulu w’amawanga;
abantu be saamanya be bampeereza.
4522:45 Zab 66:3; 81:15Bannaggwanga bajja gye ndi nga beegayirira,
bwe bawulira eddoboozi lyange ne baŋŋondera.
4622:46 Mi 7:17Bonna baggwaamu omwoyo,
ne bajja nga bakankana okuva gye beekwese.
4722:47 Zab 89:26“Mukama mulamu! Olwazi lwange yeebazibwe.
Agulumizibwe Katonda wange, olwazi lwange, era obulokozi bwange.
4822:48 Zab 94:1; 144:2; 1Sa 25:39Oyo ye Katonda ampalanira eggwanga,
era ateeka amawanga wansi wange;
4922:49 Zab 140:1, 4anziggya mu balabe bange.
Wangulumiza okusinga abalabe bange,
n’ondokola okuva mu basajja abakambwe.
5022:50 Bar 15:9*Kyenaava nkutenderezanga, Ayi Mukama Katonda, mu mawanga gonna,
era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
5122:51 a Zab 144:9-10 b Zab 89:20 c 2Sa 7:13 d Zab 89:24, 29Kabaka we amuwadde obuwanguzi obw’amaanyi,
era alaze okwagala okutayogerekeka eri oyo gwe yafukako amafuta,
eri Dawudi n’ezzadde lye emirembe gyonna.”