2 Samwiri 21 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

2 Samwiri 21:1-22

Dawudi Atangirira Abagibyoni

121:1 a Lub 12:10; Ma 32:24 b Kuv 32:11Awo mu mirembe gya Dawudi ne waba enjala okumala emyaka esatu, Dawudi ne yeeyongera nnyo okunoonya Mukama. Mukama n’ayogera nti, “Ennyumba ya Sawulo ejjudde omusaayi, kubanga yatta Abagibyoni.”

221:2 Yos 9:15Kabaka n’akuŋŋaanya Abagibyoni21:2 Abamoli be bantu abaabeeranga mu Kanani nga tekinnatwalibwa Bayisirayiri (Lub 15:16; Yos 24:18). Abagibyoni be Bakiivi (Yos 9:7; 11:19) n’ayogera gye bali. (Abagibyoni tebaali Bayisirayiri naye baali bakaawonawo ab’oku baana b’Abamoli. Abayisirayiri baali babalayiridde obutabakola kabi, naye Sawulo olw’obuggya bwe yalina n’agezaako okubazikiriza ku lwa Isirayiri ne Yuda.) 321:3 1Sa 26:19; 2Sa 20:19Dawudi n’abuuza Abagibyoni nti, “Mbakolere ki? Nnaabatangirira ntya, mmwe okuwa Isirayiri, obusika bwa Mukama omukisa?” 421:4 Kbl 35:33-34Abagibyoni ne bamuddamu nti, “Kye twetaaga okuva eri Sawulo oba ennyumba ye, si kigambo kya ffeeza oba zaabu, so tetulina buyinza kutta muntu yenna mu Isirayiri.” Dawudi n’ababuuza nti, “Kiki kye mwagala mbakolere?” 5Ne baddamu kabaka nti, “Ku lw’omusajja eyatuyigganyanga n’ayagala okutuuzikiriza, ne tubulwako ne we tubeera mu Isirayiri, 621:6 a Kbl 25:4 b 1Sa 10:24tuwe musanvu ku batabani be tubatte tubaanike mu maaso ga Mukama e Gibea ekya Sawulo, omulonde wa Mukama.” Kabaka n’ayogera nti, “Ndibabawa.”

721:7 a 2Sa 4:4 b 1Sa 18:3; 20:8, 15; 2Sa 9:7Kabaka n’alekawo Mefibosesi mutabani wa Yonasaani, mutabani wa Sawulo. 821:8 a 2Sa 3:7 b 1Sa 18:19Naye kabaka n’addira Alumoni ne Mefibosesi batabani ba Lizupa muwala wa Aya bombi be yazaalira Sawulo, ne batabani ba Mikali21:8 Mikali ebiwandiiko ebimu bigamba Merabu muwala wa Sawulo be yazaalira Abuliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi Sawulo be yalabiriranga bataano, n’abawaayo. 921:9 a 2Sa 16:8 b Lus 1:22N’abawaayo eri Abagibyoni, ne babatta ne babaanika ku lusozi mu maaso ga Mukama. Bonna omusanvu ne battibwa mu nnaku ezaasooka ez’amakungula nga batandika amakungula ga sayiri.

1021:10 nny 8; Ma 21:23; 1Sa 17:44Lizupa muwala wa Aya n’addira ebibukutu, n’abyaliira ku lwazi, okuva ku ntandikwa ey’amakungula okutuusa enkuba lwe yatonnya okuva mu ggulu, n’ataganya nnyonyi za mu bbanga newaakubadde ensolo enkambwe okulya emirambo gyabwe emisana oba ekiro. 11Dawudi bwe yategeezebwa, Lizupa omuzaana wa Sawulo, muwala wa Aya, kye yakola, 1221:12 a 1Sa 31:11-13 b Yos 17:11 c 1Sa 31:10n’agenda, n’aggya amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani ku bantu ab’e Yabesugireyaadi, Abafirisuuti gye baagawanika, ku lunaku kwe battira Sawulo e Girubowa, abaali bagatutte mu bubba mu kifo ekigazi eky’abantu bonna e Besusani. 13Dawudi n’aggyayo amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani, n’agakuŋŋaanya n’amagumba g’abo abattibwa ne baanikibwa.

1421:14 a Yos 18:28 b Yos 7:26 c 2Sa 24:25Ne baziika amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani mu ntaana ya Kiisi kitaawe wa Sawulo, e Zeera mu nsi ya Benyamini, ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Oluvannyuma Katonda n’addamu okusaba kw’ensi.

Entalo n’Abafirisuuti

1521:15 2Sa 5:25Ne waba nate olutalo wakati w’Abafirisuuti n’Abayisirayiri. Dawudi n’aserengeta n’abasajja be okulwana n’Abafirisuuti, n’akoowa nnyo. 16Awo Isubibenobu omu ku bazzukulu b’agasajja agawanvu yalina effumu ng’obuzito bw’omutwe gw’alyo kilo ssatu n’ekitundu ng’alina n’ekitala ekiggya, n’ayogera nti agenda okutta Dawudi. 1721:17 a 2Sa 20:6 b 1Bk 11:36 c 2Sa 18:3Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n’adduukirira Dawudi, n’alumba Omufirisuuti, n’amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayirira nti, “Tokyatabaala naffe ettaala ya Isirayiri ereme okuzikira.”

1821:18 1By 11:29; 20:4; 27:11Bwe waayitawo ebbanga ne wabaawo olutalo olulala n’Abafirisuuti e Gobu. Sibbekayi21:18 Sibbekayi ye yaduumiranga ekibinja ky’eggye lya Dawudi eky’omunaana (1By 27:11). Nzaalwa ya Kusa ekiri mu bukiikaddyo bw’ebuvanjuba bw’e Besirekemu. Omukusasi n’atta Safu omu ku bazzukulu b’agasajja gali agawanvu. 1921:19 1Sa 17:7Ne wabaawo nate olutalo olulala n’Abafirisuuti e Gobu, Erukanani21:19 Erukanani yali kitaawe wa Dawudi omuto (1By 11:26). mutabani wa Yayiri Omubesirekemu n’atta muganda wa Goliyaasi Omugitti eyalina olunyago lw’effumu olwali ng’omuti ogulukirwako engoye.

20Ne waba olutalo olulala e Gaasi, ne wabaayo omusajja omuwanvu ennyo eyalina engalo mukaaga ku buli mukono n’ebigere mukaaga ku buli kigere, byonna awamu abiri mu bina. Era naye yali muzzukulu w’agasajja gali agawanvu ennyo. 2121:21 1Sa 16:9Bwe yasoomooza Isirayiri, Yonasaani mutabani wa Simeeya, muganda wa Dawudi, n’amutta.

22Abo abana baali bazzukulu b’agasajja gali agawanvu ennyo mu Gaasi, era bonna ne bagwa mu mukono gwa Dawudi ne basajja be.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

撒母耳记下 21:1-22

基遍人向扫罗家复仇

1大卫执政期间,连续有三年饥荒,大卫就求问耶和华。耶和华说:“发生这饥荒是因为扫罗一家人的血债,他们杀害了基遍人。” 2原来基遍人不是以色列人,他们是亚摩利人的遗民。以色列人曾起誓不伤害他们,但扫罗以色列人和犹大人发热心,试图铲除基遍人。大卫就召来基遍人, 3问他们:“我可以为你们做些什么来赎罪,使你们愿意祝福耶和华的子民21:3 子民”希伯来文是“产业”。呢?” 4基遍人答道:“金银不能解决我们和扫罗一家人的问题,我们也不想处死任何以色列人。”大卫说:“你们要我怎么办?” 5他们说:“扫罗曾试图灭绝我们,把我们从以色列境内铲除。 6请你把扫罗的七个子孙交给我们。耶和华选立了扫罗,我们就在耶和华面前把他们吊死在扫罗的家乡基比亚城。”王说:“我必把他们交给你们。”

7大卫王因为与扫罗的儿子约拿单在耶和华面前起过誓,就没有把扫罗的孙子、约拿单的儿子米非波设交出来。 8他把埃亚的女儿利斯巴扫罗所生的两个儿子亚摩尼米非波设扫罗女儿米拉米何拉巴西莱的儿子亚得列所生的五个儿子交给基遍人。 9基遍人在耶和华面前把他们七人吊死在山上,那时正好是收割大麦的时候。

10扫罗的嫔妃、埃亚的女儿利斯巴在一块磐石上用麻布搭了一座棚看尸。她白天不让飞鸟靠近,夜间不容野兽走近,从开始收割大麦,一直守到降下雨来。 11大卫知道这件事以后, 12就去基列·雅比人那里把扫罗约拿单的骸骨运来。从前非利士人在基利波杀死扫罗约拿单,把他们的尸体挂在伯珊的广场,后来基列·雅比人把尸体偷走了。 13大卫运回扫罗约拿单的骸骨,又收殓了扫罗那七个子孙的骸骨。 14众人按照大卫的吩咐,把扫罗约拿单的骸骨埋葬在扫罗父亲基士的墓里,在便雅悯境内的洗拉。此后,上帝垂听了人们为国家的祷告。

与非利士人交战

15以色列人又和非利士人交战,大卫亲自出征。在他十分疲倦的时候, 16一个名叫以实·比诺的巨人佩戴新刀,手拿三公斤半重的铜矛,冲上来要杀他。 17洗鲁雅的儿子亚比筛赶来救驾,杀死了非利士巨人。这事以后,大卫的部下向他起誓说:“你绝不可再跟我们一起出战,免得以色列的灯熄灭。” 18后来,以色列人和非利士人在歌伯打仗,户沙西比该杀了另一个非利士巨人撒弗19在同一个地方,伯利恒雅雷俄珥金的儿子伊勒哈难又杀了迦特歌利亚歌利亚的长矛粗如织布机的轴。 20迦特的一次交战中,有一个非利士巨人每只手脚各有六个手指和脚趾,共二十四个手指和脚趾。 21他向以色列人骂阵,大卫的哥哥示米亚的儿子约拿单就杀了他。 22这四个迦特巨人的后裔都死在大卫和他的部下手里。