2 Samwiri 18 – LCB & NIRV

Luganda Contemporary Bible

2 Samwiri 18:1-33

Okufa kwa Abusaalomu

1Awo Dawudi n’akuŋŋaanya abasajja be yalina, n’abalondamu abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ebikumi. 218:2 a Bal 7:16; 1Sa 11:11 b 1Sa 26:6 c 2Sa 15:19Dawudi n’abalagira bagende, ekimu kya kusatu nga kiduumirwa Yowaabu, ekimu kya kusatu ekirala nga kiduumirwa muganda wa Yowaabu, Abisaayi batabani wa Zeruyiya, n’ekimu kya kusatu ekirala nga kiduumirwa Ittayi Omugitti. Kabaka n’agamba abasajja nti, “Nange n’agenda nammwe.”

318:3 a 1Sa 18:7 b 2Sa 21:17Naye abasajja ne boogera nti, “Toteekwa kugenda naffe, kubanga ffe bwe tunadduka tebaatufeeko. Ekitundu ku ffe ne bwe tunaafa tebaafeeyo. Ggwe olimu abantu omutwalo gumu ku ffe ffenna. Ekisinga obulungi weeteeketeeke okutudduukirira ng’osinziira mu kibuga.” 4Kabaka n’addamu nti, “Kye musiimye kye nnaakola.” Awo kabaka n’ayimirira ku mabbali ga wankaaki, ng’eggye lyonna likumba okufuluma mu bibinja eby’ekikumi n’eby’olukumi. 5Kabaka n’alagira Yowaabu, ne Abisaayi ne Ittayi ng’ayogera nti, “Omuvubuka Abusaalomu mumukwate n’ekisa ku lwange.”

Abantu bonna ne bawulira kabaka ng’awa abaduumizi bonna ebiragiro ebikwata ku Abusaalomu. 618:6 Yos 17:18Awo eggye ne lifuluma ku ttale okulwana ne Isirayiri, olutalo ne luba mu kibira kya Efulayimu. 7Abasajja ba Isirayiri ne bakubibwa abasajja ba Dawudi, era bangi ne battibwa ku lunaku olwo. Baawera ng’emitwalo ebiri. 8Olutalo ne lubuna ensi yonna, abantu bangi ne bafiira mu kibira okusinga n’abattibwa n’ekitala.

918:9 2Sa 14:26Awo Abusaalomu n’asisinkana n’abasajja ba Dawudi. Yali yeebagadde ennyumbu ye. Ennyumbu n’eyita wansi w’amatabi amangi ag’omwera omunene, omutwe gwa Abusaalomu ne gulaaliramu, n’asigala ng’alengejja mu bbanga, ennyumbu gye yali yeebagadde n’egenda mu maaso. 10Omu ku basajja bwe yakiraba n’ategeeza Yowaabu nti, “Laba nnalengedde Abusaalomu ng’awanikiddwa ku mwera.” 1118:11 a 2Sa 3:39 b 1Sa 18:4Yowaabu n’agamba omusajja eyajja okumubuulira nti, “Kiki, wamulabye? Kiki ekyakulobedde okumuttirawo? N’andikusasudde gulaamu kikumi mu kkumi na ttaano eza ffeeza ne nkuwa n’olukoba olw’obuzira.”

12Naye omusajja n’amuddamu nti, “Ne bwe wandinsasudde kilo kkumi n’emu eza ffeeza, sandigololedde mukono gwange ku mwana wa kabaka. Ffenna twawulidde kabaka ng’abalagira ggwe, Abisaayi ne Ittayi nti, ‘Waleme okubaawo omuntu yenna anaakola Abusaalomu akabi ku lwange.’ 1318:13 2Sa 14:19-20Kale singa mmusse ne ngwa mu mitawaana, tewandimpolerezza, kubanga omanyi nga tewali kigambo ekikwekebwa kabaka.”

1418:14 2Sa 2:18; 14:30Yowaabu n’ayogera nti, “Sirina bbanga lya kukwonoonerako.” N’addira obusaale busatu n’abulasa mu kifuba kya Abusaalomu ng’akyali mulamu mu mwera. 1518:15 2Sa 12:10N’abavubuka kkumi abaasitulanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu ne beetooloola Abusaalomu ne bamukuba ne bamutta.

1618:16 2Sa 2:28; 20:22Awo Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, eggye ne lireka okugoberera Isirayiri kubanga Yowaabu yabayimiriza. 1718:17 a Yos 7:26 b Yos 8:29Ne batwala Abusaalomu, ne bamusuula mu lunnya oluwanvu mu kibira, ne bamutuumako amayinja. Isirayiri yenna ne badduka nga buli muntu adda ewuwe.

1818:18 a Lub 14:17 b Lub 50:5; Kbl 32:42; 1Sa 15:12 c 2Sa 14:27Mu bulamu bwe, Abusaalomu yaddira empagi n’agiteeka mu kiwonvu kya kabaka ng’ekijjukizo kye; n’ayogera nti, “Sirina mwana wabulenzi kwe balijjuukirira erinnya lyange.” Empagi n’agituuma erinnya lye, era eyitibwa kijjukizo kya Abusaalomu ne leero.

Dawudi Akungubagira Abusaalomu

1918:19 a 2Sa 15:36 b nny 31; Bal 11:36Akimaazi mutabani wa Zadooki n’ayogera nti, “Ka nziruke, ntwalire kabaka amawulire nga Mukama bw’amulokodde mu mukono gw’omulabe we.” 20Naye Yowaabu n’amugamba nti, “Si ggwe onootwala amawulire leero. Oligatwala olunaku olulala olutali lwa leero, kubanga mutabani wa kabaka afudde.”

21Awo Yowaabu n’agamba omusajja Omukusi nti, “Genda otegeeze kabaka by’olabye.” Omukusi n’avuunama mu maaso ga Yowaabu n’adduka. 22Akimaazi mutabani wa Zadooki n’agamba Yowaabu nate nti, “Nkwegayiridde, nzikiriza mmale gagoberera Omukusi.” Yowaabu n’amuddamu nti, “Mutabani wange, kiki ekinaaba kikutwala ate nga tolina mawulire g’onootwala aganakuweesa ekirabo?” 23N’ayogera nti, “Ka mmale gagenda.”

Awo Yowaabu n’amugamba nti, “Dduka.” Akimaazi n’addukira mu kkubo ery’olusenyi lwa Yoludaani n’ayisa Omukusi.

2418:24 1Sa 14:16; 2Sa 19:8; 2Bk 9:17; Yer 51:12Awo Dawudi yali atudde wakati w’emiryango ebiri ogw’omunda n’ogw’ebweru, omukuumi n’alinnya waggulu ku wankaaki ku bbugwe. Bwe yayimusa amaaso ge n’alengera omusajja ng’ajja adduka yekka. 25Omukuumi n’ayogerera waggulu n’ategeeza kabaka. Awo kabaka n’amugamba nti, “Bw’aba ng’ali yekka ateekwa okuba ng’aleeta mawulire malungi.” Omusajja n’asembera.

2618:26 1Bk 1:42; Is 52:7; 61:1Omukuumi n’alengera omusajja omulala ng’ajja adduka, n’akoowoola omuggazi nti, “Laba omusajja omulala ajja adduka yekka.” Kabaka n’ayogera nti, “Naye ateekwa okuba ng’aleeta mawulire malungi.”

2718:27 2Bk 9:20Awo omukuumi n’ayogera nti, “Kindabikira nga enziruka ey’oli akulembedde eri ng’eya Akimaazi mutabani wa Zadooki.” Kabaka n’ayogera nti, “Oyo musajja mulungi era ajja n’amawulire malungi.”

28Awo Akimaazi n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba kabaka nti, “Byonna birungi.” N’avuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi n’ayogera nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wo, azikirizza abasajja abayimusizza omukono ku mukama wange kabaka.”

29Awo kabaka n’abuuza nti, “Omuvubuka Abusaalomu ali bulungi?” Akimaazi n’addamu nti, “Yowaabu bwe yabadde ng’anaatera okutuma omuddu wa kabaka, nange omuddu wo, nalabye oluyoogaano olunene, naye saategedde kyabadde wo.”

30Kabaka n’amugamba nti, “Ggwe dda wabbali.” N’adda wabbali n’ayimirira awo.

31Awo Omukusi n’atuuka, n’ayogera nti, “Wulira amawulire amalungi mukama wange kabaka. Mukama akulokodde leero mu mukono gw’abo bonna abakuyimukiramu.”

3218:32 Bal 5:31; 1Sa 25:26Kabaka n’abuuza Omukusi nti, “Omuvubuka Abusaalomu mulamu?” Omukusi n’addamu nti, “Ekituuse ku muvubuka oyo, kituuke ku balabe ba mukama wange kabaka, n’abo bonna abamuyimukiramu okumukola akabi.”

3318:33 a Kuv 32:32 b Lub 43:14; 2Sa 19:4; Bar 9:3Kabaka n’afuna ensisi, n’ayambuka mu kisenge ekyali waggulu wa wankaaki, n’akaaba. N’agenda nga bw’ayogera nti, “Mutabani wange Abusaalomu, mutabani wange, mutabani wange Abusaalomu. Singa nze nfudde mu kifo kyo, Abusaalomu, mutabani wange!”

New International Reader’s Version

2 Samuel 18:1-33

1David brought together the men with him. He appointed commanders of thousands over some of them. He appointed commanders of hundreds over the others. 2Then David sent out his troops in military groups. One group was under the command of Joab. Another was under Joab’s brother Abishai, the son of Zeruiah. The last was under Ittai, the Gittite. The king told the troops, “You can be sure that I myself will march out with you.”

3But the men said, “You must not march out. If we are forced to run away, our enemies won’t care about us. Even if half of us die, they won’t care. But you are worth 10,000 of us. So it would be better for you to stay here in the city. Then you can send us help if we need it.”

4The king said, “I’ll do what you think is best.”

So the king stood beside the city gate. His whole army marched out in groups of hundreds and groups of thousands. 5The king gave an order to Joab, Abishai and Ittai. He commanded them, “Be gentle with the young man Absalom. Do it for me.” All the troops heard the king give the commanders that order about Absalom.

6David’s army marched out of the city to fight against Israel. The battle took place in the forest of Ephraim. 7There David’s men won the battle over Israel’s army. A huge number of men were wounded or killed that day. The total number was 20,000. 8The fighting spread out over the whole countryside. But more men were killed in the forest that day than out in the open.

9Absalom happened to come across some of David’s men. He was riding his mule. The mule went under the thick branches of a large oak tree. Absalom’s hair got caught in the tree. He was left hanging in the air. The mule he was riding kept on going.

10One of David’s men saw what had happened. He told Joab, “I just saw Absalom hanging in an oak tree.”

11Joab said to the man, “What! You saw him? Why didn’t you strike him down right there? Then I would have had to give you four ounces of silver and a soldier’s belt.”

12But the man replied, “I wouldn’t do anything to hurt the king’s son. I wouldn’t do it even for 25 pounds of silver. We heard the king’s command to you and Abishai and Ittai. He said, ‘Be careful not to hurt the young man Absalom. Do it for me.’ 13Suppose I had put my life in danger by killing him. The king would have found out about it. Nothing is hidden from him. And you wouldn’t have stood up for me.”

14Joab said, “I’m not going to waste any more time on you.” So he got three javelins. Then he went over and plunged them into Absalom’s heart. He did it while Absalom was still hanging there alive in the oak tree. 15Ten of the men carrying Joab’s armor surrounded Absalom. They struck him and killed him.

16Then Joab blew his trumpet. He ordered his troops to stop chasing Israel’s army. 17Joab’s men threw Absalom into a big pit in the forest. They covered him with a large pile of rocks. While all of that was going on, all the Israelites ran back to their homes.

18Earlier in his life Absalom had set up a pillar in the King’s Valley. He had put it up as a monument to himself. He thought, “I don’t have a son to carry on the memory of my name.” So he named the pillar after himself. It is still called Absalom’s Monument to this day.

David Mourns Over Absalom

19Ahimaaz, the son of Zadok, said to Joab, “Let me run and take the news to the king. Let me tell him that the Lord has shown that David is in the right. The Lord has done this by saving David from his enemies.”

20“I don’t want you to take the news to the king today,” Joab told him. “You can do it some other time. But you must not do it today, because the king’s son is dead.”

21Then Joab said to a man from Cush, “Go. Tell the king what you have seen.” The man bowed down in front of Joab. Then he ran off.

22Ahimaaz, the son of Zadok, spoke again to Joab. He said, “I don’t care what happens to me. Please let me run behind the man from Cush.”

But Joab replied, “My son, why do you want to go? You don’t have any news that will bring you a reward.”

23He said, “I don’t care what happens. I want to run.”

So Joab said, “Run!” Then Ahimaaz ran across the plain of the Jordan River. As he ran, he passed the man from Cush.

24David was sitting in the area between the inner and outer gates of the city. The man on guard duty went up to the roof over the entrance of the gate by the wall. As he looked out, he saw someone running alone. 25The guard called out to the king and reported it.

The king said, “If the runner is alone, he must be bringing good news.” The runner came closer and closer.

26Then the man on guard duty saw another runner. He called out to the man guarding the gate. He said, “Look! There’s another man running alone!”

The king said, “He must be bringing good news too.”

27The man on guard duty said, “I can see that the first one runs like Ahimaaz, the son of Zadok.”

“He’s a good man,” the king said. “He’s bringing good news.”

28Then Ahimaaz called out to the king, “Everything’s all right!” He bowed down in front of the king with his face toward the ground. He said, “You are my king and master. Give praise to the Lord your God! He has handed over to you those who lifted their hands to kill you.”

29The king asked, “Is the young man Absalom safe?”

Ahimaaz answered, “I saw total disorder. I saw it just as Joab was about to send the king’s servant and me to you. But I don’t know what it was all about.”

30The king said, “Stand over there and wait.” So he stepped over to one side and stood there.

31Then the man from Cush arrived. He said, “You are my king and master. I’m bringing you some good news. The Lord has shown that you are in the right. He has done this by rescuing you today from all those trying to kill you.”

32The king asked the man from Cush, “Is the young man Absalom safe?”

The man replied, “King David, may your enemies be like that young man. May all those who rise up to harm you be like him.”

33The king was very upset. He went up to the room over the entrance of the gate and wept. As he went, he said, “My son Absalom! My son, my son Absalom! I wish I had died instead of you. Absalom! My son, my son!”