2 Samwiri 15 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

2 Samwiri 15:1-37

Obujeemu bwa Abusaalomu

115:1 a 2Sa 12:11 b 1Sa 8:11; 1Bk 1:5Bwe waayitawo ebbanga, Abusaalomu ne yeefunira amagaali, n’embalaasi, n’abasajja amakumi ataano okumukulemberangamu. 215:2 Lub 23:10; 2Sa 19:8Yagolokokanga mu makya n’ayimirira ku mabbali g’ekkubo okwolekera wankaaki w’ekibuga. Omuntu yenna bwe yabanga n’ensonga gye yaleeteranga kabaka okulamula, Abusaalomu yamuyitanga n’amubuuza nti, “Oviira mu kibuga ki?” Bwe yaddangamu nti, “Omuddu wo aviira mu kimu ku bika bya Isirayiri,” 315:3 Nge 12:2Abusaalomu n’alyoka amugamba nti, “Laba, ensonga ntuufu era etegeerekeka, naye tewali muntu anaagikulamulira.” 415:4 Bal 9:29Ate era Abusaalomu yayongerangako ne kino nti, “Singa nnondebwa okuba omukulembeze mu nsi, olwo buli muntu alina ensonga anajjanga gye ndi, ne mukolera ku nsonga ye.”

5Ate era omuntu yenna eyajjanga n’amuvuunamira ng’amuwa ekitiibwa, yagololanga omukono gwe, n’amukwatako n’amunywegera ng’amulamusa. 615:6 Bar 16:18Bw’atyo Abusaalomu bwe yeeyisanga eri Abayisirayiri bonna abajjanga eri kabaka nga baagala okubalamulira ensonga zaabwe. Ekyavaamu n’abba emitima gy’abantu ba Isirayiri.

7Oluvannyuma lw’emyaka ena, Abusaalomu n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde, nzikiriza ŋŋende e Kebbulooni, ntuukirize obweyamo bwange bwe nakola eri Mukama. 815:8 a 2Sa 3:3; 13:37-38 b Lub 28:20Omuweereza wo bwe yabeeranga e Gesuli mu Busuuli, nakola obweyamo nga ŋŋamba nti, ‘Mukama bw’alinzizaayo e Yerusaalemi, ndisinza Mukama.’ ” 9Kabaka n’amuddamu nti, “Ggenda mirembe.” N’asitula n’alaga e Kebbulooni.

1015:10 1Bk 1:34, 39; 2Bk 9:13Abusaalomu n’atuma ababaka kyama mu bika byonna ebya Isirayiri, babagambe nti, “Amangwago nga muwulidde okuvuga kw’amakondeere, mwogere nti, ‘Abusaalomu ye kabaka e Kebbulooni.’ ” 11Abasajja ebikumi bibiri be baawerekera Abusaalomu oluvannyuma olw’okuyitibwa ng’abagenyi, songa tebaalina kye baamanya ku nsonga eyo. 1215:12 a nny 31, 34; 2Sa 16:15, 23; 1By 27:33 b Yob 19:14; Zab 41:9; 55:13; Yer 9:4 c Yos 15:51 d Zab 3:1Mu kiseera ekyo, Abusaalomu bwe yali ng’awaayo ssaddaaka, n’atumya Akisoferi15:12 Akisoferi ye yali jjajja omusajja owa Basuseba (11:3; 23:34) Omugiro, omuwi w’amagezi owa Dawudi, okuva mu kibuga ky’e Giro. Obujeemu ne bwongerwamu amaanyi n’abagoberezi ba Abusaalomu ne beeyongeranga obungi.

13Omubaka n’ajja n’ategeeza Dawudi nti, “Emitima gy’abantu ba Isirayiri gigoberedde Abusaalomu.”

1415:14 a 2Sa 12:11; 1Bk 2:26; Zab 3; 132:1 b 2Sa 19:9Awo Dawudi n’agamba abakungu be bonna abaali naye e Yerusaalemi nti, “Mugolokoke tudduke kubanga bwe tutaakole bwe tutyo tewaabeewo n’omu ku ffe anaawona Abusaalomu. Tuteekwa okuvaawo amangu nga bwe kisoboka, aleme okutusaangiriza wano okusaanyaawo ekibuga n’ekitala.” 15Abakungu ba kabaka ne bamuddamu nti, “Abaddu bo beetegefu okukola kyonna, mukama waffe kabaka ky’anaaba asazeewo.”

1615:16 2Sa 16:21-22; 20:3Awo Kabaka n’asitula n’ennyumba ye yonna ne bamugoberera, naye n’alekawo abakyala be kkumi okulabirira olubiri. 17Kabaka n’abantu bonna abaagenda naye, bwe baatambulako akabanga, ne batuuka mu kifo ekimu ewalako n’olubiri ne bayimirira awo. 1815:18 1Sa 30:14; 2Sa 8:18; 20:7, 23; 1Bk 1:38, 44; 1By 18:17Abasajja be bonna ne bamukulemberamu, n’Abakeresi bonna n’Abaperesi bonna, n’Abagitti olukaaga bonna abaali bamugoberedde okuva e Gaasi ne bakumba nga bamukulembeddemu.

1915:19 a 2Sa 18:2 b Lub 31:15Awo kabaka n’agamba Ittayi Omugitti nti, “Lwaki otugoberera? Ddayo obeere ne kabaka Abusaalomu. Oli munnaggwanga eyagobebwa ewaabwe. 2015:20 a 1Sa 23:13 b 2Sa 2:6Wajja jjuuzi. Lwaki leero nkutambuza eno n’eri, nga ssinamanya gye ndaga? Ddayo n’abantu bo. Ekisa n’emirembe bibeerenga naawe.”

2115:21 Lus 1:16-17; Nge 17:17Naye Ittayi n’addamu kabaka nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, era mukama wange kabaka nga bw’ali omulamu, buli mukama wange kabaka gy’anaagendanga, oba bulamu oba kufa, omuddu wo anaabeeranga wamu naawe.”

22Dawudi n’agamba Ittayi nti, “Kale yitawo ogende mu maaso.” Awo Ittayi Omugitti n’abasajja be bonna n’abantu baabwe abaali naye ne bayitawo. 2315:23 2By 29:16Ab’omu byalo bonna ne bakaaba nnyo bwe baalaba abantu nga bayitawo. Kabaka naye n’asomoka akagga Kidulooni, abantu bonna ne bayitawo ne boolekera eddungu.

2415:24 a 2Sa 8:17 b Kbl 4:15 c 1Sa 22:20Zadooki awamu n’Abaleevi bonna abaali awamu naye, abaasitulanga essanduuko ey’endagaano ya Mukama, baagenda ne kabaka. Essanduuko ya Katonda ne bagissa wansi, Abiyasaali naye n’ayambuka okuwaayo ssaddaaka okutuusa abantu bonna bwe baggwa mu kibuga.

2515:25 Kuv 15:13; Zab 43:3; Yer 25:30Awo kabaka n’agamba Zadooki nti, “Zzaayo essanduuko ya Katonda mu kibuga. Bwe ndiraba ekisa mu maaso ga Mukama, alinkomyawo, ne ngirabako n’ekifo Mukama ky’abeeramu. 2615:26 1Sa 3:18; 2Sa 22:20; 1Bk 10:9Naye bw’alisalawo nti, ‘Ssiri musanyufu naawe,’ ndimweteefuteefu ankole nga bw’asiima.”

2715:27 a 1Sa 9:9 b 2Sa 17:17Ate era kabaka n’agamba Zadooki nti, “Toli mulabi? Ddayo mu kibuga mirembe, ne mutabani wo Akimaazi ne mutabani wa Abiyasaali, Yonasaani. Ggwe ne Abiyasaali muddeeyo ne batabani bammwe. 2815:28 2Sa 17:16Ndirindirira ekigambo ekiriva gye muli, we tulisomokera okulaga mu ddungu.” 29Awo Zadooki ne Abiyasaali ne bazzaayo essanduuko ya Katonda e Yerusaalemi ne basigala eyo.

3015:30 a 2Sa 19:4; Zab 126:6 b Es 6:12; Is 20:2-4Naye Dawudi n’alinnyalinnya n’alaga ku lusozi olw’Emizeeyituuni ng’akaaba, n’omutwe ng’agubisse era ng’ali mu bigere15:30 Okubikka omutwe n’okutambula nga tolina ngatto mu bigere bwali bubonero obulaga ennaku n’okukungubaga. Abantu bonna abaali awamu naye nabo baali beebisse emitwe era nga bakaaba. 3115:31 nny 12; 2Sa 16:23; 17:14, 23Dawudi n’ategeezebwa nti, “Akisoferi ali omu ku abo abeekobaana ne Abusaalomu.” Dawudi n’asaba nti, “Ayi Mukama Katonda nkwegayiridde, fuula amagezi ga Akisoferi obusirusiru.”

3215:32 a Yos 16:2 b 2Sa 1:2Awo Dawudi bwe yatuuka ku ntikko y’olusozi, abantu gye baasinzizanga Katonda, Kusaayi Omwaluki15:32 Omwaluki Abaluki baalina oluganda ku Bayisirayiri (Yos 16:2). yaliyo okumusisinkana, ekkooti ye ng’eyulise n’omutwe gwe nga gujjudde enfuufu. 3315:33 2Sa 19:35Dawudi n’amugamba nti, “Bw’onoogenda nange ojja kunfuukira ekizibu. 3415:34 2Sa 16:19Naye bw’onoddayo mu kibuga, n’ogamba Abusaalomu nti, ‘Ndibeera omuddu wo, ayi kabaka; nga bwe naweerezanga kitaawo mu biro eby’edda, bwe ntyo bwe nnaakuweerezanga,’ onooba ombedde mu nsonga ey’okulemesa Akisoferi, afuuse omuwi w’amagezi owa Abusaalomu. 3515:35 2Sa 17:15-16Zadooki ne Abiyasaali tebaliiyo? Kale bategeeze ekigambo kyonna ky’onoowulira mu lubiri. 3615:36 nny 27; 2Sa 17:17Batabani baabwe ababiri, Akimaazi mutabani wa Zadooki ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali nabo bali eyo, era abo boonoontumiranga bwe wanaabangawo ensonga yonna.”

3715:37 a 2Sa 16:16-17; 1By 27:33 b 2Sa 16:15Awo Kusaayi mukwano gwa Dawudi n’atuuka e Yerusaalemi, nga Abusaalomu ayingira ekibuga.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

撒母耳記下 15:1-37

押沙龍謀反

1後來,押沙龍為自己備了車馬,又派五十個人在他前面開道。 2他常常清早起來,站在城門的通道旁邊。每當有人來找王審理爭訟時,押沙龍便問他是從哪一座城來的,那人就會報上自己所屬的支派。 3押沙龍會對他說:「你的申訴合情合理,可惜王沒有派人來聽你申訴。」 4他接著會說:「要是我被立為國中的審判官就好了!那樣,任何人有申訴都可以來找我,我一定會為他主持公道。」 5每當有人要向他叩拜,他都伸手扶他,親吻他。 6押沙龍這樣對待每一個來向王申訴的以色列人,贏得了民心。

7過了四年,押沙龍對王說:「請讓我到希伯崙去還我向耶和華許下的願吧。 8僕人住在亞蘭基述時曾許願,如果耶和華帶領我回到耶路撒冷,我必在希伯崙敬拜祂。」 9王說:「你平安地去吧!」押沙龍就去了希伯崙10他派密使通知以色列各支派一聽見號角的響聲,便喊:「押沙龍希伯崙做王了!」 11有二百人應邀隨同押沙龍一起從耶路撒冷希伯崙,他們對內情一無所知。 12押沙龍獻祭的時候,還派人去把大衛的謀士亞希多弗從他的故鄉基羅請來。反叛的勢力大增,擁護押沙龍的民眾越來越多。

大衛逃離耶路撒冷

13有人來稟告大衛:「以色列的民心都歸向押沙龍了。」 14大衛便對在耶路撒冷跟隨他的臣僕說:「我們趕快逃命吧!否則,我們都難逃押沙龍的追捕。我們要馬上離開!免得他趕到殘害我們,屠殺全城。」 15臣僕對王說:「臣等謹遵我主我王的決定。」 16於是王就帶著全家逃命,只留下十個妃嬪看守宮殿。

17大衛王帶著眾民離開耶路撒冷,走到最後的那座房子時,停了下來。 18跟隨他的人都走到前面去了,包括基利提人、比利提人以及從迦特來跟隨他的六百人。 19王問迦特以太說:「你為什麼要跟我們一起逃難呢?回去留在新王那裡吧!你是流亡到這裡的外族人。 20你剛來不久,我怎麼可以叫你跟我們一同四處飄流呢?我甚至不知道往何處去。你還是和你的弟兄回去吧,願耶和華以慈愛和信實待你!」 21以太卻答道:「我憑永活的耶和華和我主我王的性命起誓,不管我王去哪裡,僕人都要誓死追隨到底!」 22大衛便對以太說:「那就繼續前行吧!」於是,迦特以太帶著他的人及所有的家眷繼續前行。 23眾人離開時,百姓都放聲大哭。王帶著所有的人過了汲淪溪,向曠野走去。

24祭司撒督亞比亞他和抬上帝約櫃的利未人都來了,他們把約櫃放下,讓城裡出來的人先走過去。 25王對撒督說:「你把上帝的約櫃運回城去吧。倘若耶和華恩待我,祂必使我重返家園,重見約櫃和會幕; 26但如果我使祂不悅,我也甘願聽憑祂的處置。 27你是個有先見之明的人,安心帶著你的兒子亞希瑪斯亞比亞他的兒子約拿單回城吧。 28我會在曠野渡口那裡等你們的消息。」 29於是,撒督亞比亞他便把上帝的約櫃抬回耶路撒冷,留了下來。

30大衛蒙著頭,赤著腳登上橄欖山,邊走邊哭,他的隨從也蒙著頭,哭著走上山。 31有人告訴大衛亞希多弗也叛變,投奔了押沙龍大衛就禱告說:「耶和華啊,求你使亞希多弗的謀算都變得愚不可及。」 32大衛來到山頂敬拜上帝的地方,看見亞基戶篩撕破了衣服,頭蒙灰塵前來迎接他。 33大衛對他說:「你跟我一同逃命,只會給我帶來不便。 34你還是回到城中,告訴押沙龍你願意做他的臣僕,就像以前做我的臣僕一樣,這樣你就可以幫我破壞亞希多弗的計謀。 35祭司撒督亞比亞他都在那裡,你在宮內聽到什麼消息就告訴他們。 36撒督的兒子亞希瑪斯亞比亞他的兒子約拿單也在那裡,你聽到什麼消息,可以派他們傳信給我。」 37於是,大衛的朋友戶篩便回到城裡。那時,押沙龍也進了耶路撒冷