2 Samwiri 10 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Samwiri 10:1-19

Dawudi Awangula Abaana ba Amoni

1Mu kiseera ekyo kabaka w’abaana ba Amoni10:1 Abaana ba Amoni babeeranga mu ddungu ebuvanjuba wa Yoludaani n’afa, mutabani we Kamuni n’amusikira. 210:2 1Sa 11:1Dawudi n’alowooza nga kyandibadde kirungi, okumukolera ebyekisa nga kitaawe bwe yali akoze. Awo Dawudi n’amutumira ekibinja okugenda okumukubagiza olw’okufa kwa kitaawe.

Abasajja ba Dawudi bwe baatuuka mu nsi ey’Abamoni, 3abakungu ba Amoni ne bagamba Kamuni mukama waabwe nti, “Olowooza nga Dawudi okukuweereza ababaka okukubagiza, aba assaamu kitaawo kitiibwa? Olowooza nga Dawudi tabasindise okujja okulawuna n’okuketta ekibuga n’okukiwamba?” 410:4 a Lv 19:27; Is 15:2; Yer 48:37 b Is 20:4Awo Kamuni n’akwata abasajja ba Dawudi n’abamwako ekitundu ky’ebirevu byabwe n’abasalira ebyambalo byabwe wakati okukoma ku manyuma gaabwe, n’abagoba baddeyo ewaabwe.

5Dawudi bwe yategeezebwa ebyo, n’atumira abasajja be ababaka, kubanga baali mu buswavu bungi, n’abagamba nti, “Musigale e Yeriko ebirevu byammwe bimale okukula mulyoke mukomewo.”

610:6 a Lub 34:30 b 2Sa 8:5 c Bal 18:28 d Ma 3:14Awo Abamoni bwe bategeera nga Dawudi bamufuukidde ekyenyinyalwa, ne bapangisa abaserikale ab’ebigere Abasuuli emitwalo ebiri okuva e Besukekobu n’e Zoba, n’abalala abasajja lukumi okuva ewa kabaka w’e Maaka, n’abalala omutwalo gumu mu enkumi bbiri okuva e Tobu.

7Dawudi olwawulira ebyo, n’asindika Yowaabu n’eggye lyonna ery’abasajja abalwanyi abazira. 8Abamoni ne bavaayo ne basimba ennyiriri awayingirirwa mu wankaaki w’ekibuga kyabwe, Abasuuli ab’e Zoba n’ab’e Lekobu, n’abasajja ab’e Tobu n’e Maaka bo ne babeera mu ttale.

9Awo Yowaabu bwe yalaba ng’olutalo lumutaayizza mu maaso n’emabega, n’alondamu abasajja abazira mu Isirayiri, n’abasindika batabaale Abasuuli. 10Abaasigalawo n’abakwasa Abisaayi muganda we okubaduumira, n’abasindika batabaale Abamoni. 11Yowaabu n’agamba muganda we nti, “Bwe munaalaba Abasuuli nga batuyitiridde amaanyi, munajja ne mutubeera. Abamoni bwe banaabayinga amaanyi, tunajja ne tubabeera. 1210:12 a Ma 31:6; 1Ko 16:13; Bef 6:10 b Bal 10:15; 1Sa 3:18; Nek 4:14Tuddemu amaanyi tulwane masajja olw’abantu baffe, n’olw’ebibuga bya Katonda waffe. Mukama akole nga bw’asiima.”

13Awo Yowaabu n’abasajja abaali naye ne bambuka okutabaala Abasuuli, Abasuuli ne babadduka. 14Abamoni bwe baalaba nga Abasuuli badduse, nabo ne badduka Abisaayi, ne bayingira mu kibuga. Yowaabu n’alekeraawo okulwana n’Abamoni, n’addayo e Yerusaalemi.

15Awo Abasuuli bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne beekuŋŋaanya. 16Kadadezeri n’atumya Abasuuli okuva emitala w’Omugga Fulaati, ne bagenda e Keramu nga bakulembeddwamu Sobaki omuduumizi w’eggye lya Kadadezeri.

17Awo Dawudi bwe yakiwulira, n’akuŋŋaanya Isirayiri yenna n’asomoka Yoludaani n’agenda e Keramu. Abasuuli ne basimba ennyiriri okwolekera Dawudi balwane naye. 18Naye ne badduka mu maaso ga Isirayiri, Dawudi n’atta abasajja lusanvu ku bavuzi b’amagaali g’embalaasi, era n’emitwalo ena ku beebagala embalaasi, n’afumita ne Sobaki omuduumizi w’eggye lyabwe n’afiirawo. 1910:19 a 2Sa 8:6 b 1Bk 11:25; 2Bk 5:1Awo bakabaka bonna abaali abaddu ba Kadadezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne beeweerayo ddala eri Abayisirayiri, era ne babawanga n’obusuulu.

Awo Abasuuli ne batya okuddamu okuyamba Abamoni.