2 Samwiri 1 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Samwiri 1:1-27

Dawudi ategeezebwa Okufa kwa Sawulo

11:1 a 1Sa 31:6 b 1Sa 30:17Oluvannyuma lw’okufa kwa Sawulo, Dawudi n’agenda n’abeera e Zikulagi n’amalayo ennaku bbiri, ng’amaze okusaanyaawo Abamaleki. 21:2 a 2Sa 4:10 b 1Sa 4:12Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, ne wajja omusajja ng’ava mu lusiisira lwa Sawulo, ng’ayuzizza ebyambalo bye, nga ne mu mutwe gwe mulimu enfuufu. Bwe yatuuka awali Dawudi, n’avuunama ng’amuwa ekitiibwa.

3Dawudi n’amubuuza nti, “Ova wa?” N’amuddamu nti, “Ndi kaawonawo okuva mu lusiisira lwa Isirayiri.” 4Dawudi n’ayogera nti, “Ntegeeza ebyabaddewo.” N’ayogera nti, “Abantu badduse mu lutalo, era bangi ku bo bafudde. Sawulo ne Yonasaani mutabani we nabo bafudde.” 5Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Otegedde otya nga Sawulo ne mutabani we Yonasaani nabo bafudde?”

61:6 1Sa 28:4; 31:2-4Omuvubuka n’amugamba nti, “Bwe nnali awo ku lusozi Girubowa, ne ndaba Sawulo nga yeesigamye ku ffumu lye era n’amagaali n’abeebagala embalaasi eby’omulabe nga bamucocca. 7Awo bwe yakyusa amaaso ge n’andaba, n’ankowoola, ne muddamu nti, ‘Nkukolere ki?’

81:8 1Sa 15:2; 30:13, 17“N’ambuuza nti, ‘Ggwe ani?’

“Ne muddamu nti, ‘Ndi Mwamaleki.’

9“N’alyoka aŋŋamba nti, ‘Nnyimirirako onzite! Ndi mu masaŋŋanzira ag’okufa newaakubadde nga ndabika ng’akyalimu obulamu.’

101:10 Bal 9:54; 2Bk 11:12“Kyennava muyimirirako ne mutta, kubanga n’ategeera nga takyalamye. Ne ntwala engule eyali ku mutwe gwe n’ekikomo ekyali ku mukono gwe, era biibino mbireetedde mukama wange.”

111:11 Lub 37:29; 2Sa 3:31; 13:31Awo Dawudi n’abasajja bonna be yali nabo, ne bayuza ebyambalo byabwe. 12Ne bakaaba, ne bakungubaga ne basiiba okutuusa akawungeezi ku lwa Sawulo ne Yonasaani mutabani we; ne ku lw’eggye lya Mukama, ne ku lw’ennyumba ya Isirayiri; kubanga bonna baali bafudde n’ekitala. 131:13 nny 8Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Ova wa?” N’addamu nti, “Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwameleki.” 141:14 1Sa 24:6; 26:9Dawudi n’amugamba nti, “Lwaki tewatya kuzikiriza omuntu Mukama gwe yafukako amafuta?” 151:15 a 2Sa 4:12 b 2Sa 4:10Awo Dawudi n’ayita omu ku basajja be, n’amugamba nti, “Mutte.” N’amufumita n’amutta. 161:16 Lv 20:9; 2Sa 3:28-29; 1Bk 2:32; Mat 27:24-25; Bik 18:6Dawudi n’amugamba nti, “Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo, kubanga akamwa ko ye mujulirwa ng’oyogera nti, ‘Nnatta oyo Mukama gwe yafukako amafuta.’ ”

Dawudi Akungubagira Sawulo ne Yonasaani

171:17 2By 35:25Dawudi n’akungubagira Sawulo ne Yonasaani mutabani we, 181:18 Yos 10:13; 1Sa 31:3n’alagira abantu ba Isirayiri bayigirizibwe oluyimba olw’omutego olw’okukungubaga olwawandiikibwa mu kitabo kya Yasali. Olugamba nti,

191:19 nny 27“Ekitiibwa kyo, ayi Isirayiri, kifiiridde ku nsozi zo!

Ab’amaanyi nga bagudde!

201:20 a Mi 1:10 b 1Sa 31:8 c Kuv 15:20; 1Sa 18:6“Temukyogeranga mu Gaasi,1:20 Gaasi kyali kibuga ky’Abafirisuuti

temukyatuliranga mu nguudo za Asukulooni,1:20 Asukulooni kyali kibuga by’Abafirisuuti.

abawala b’Abafirisuuti baleme okusanyuka,

abawala b’abatali bakomole baleme okujaguza.

211:21 a nny 6; 1Sa 31:1 b Ez 31:15 c Is 21:5“Mmwe ensozi za Girubowa,

muleme okugwibwako omusulo newaakubadde enkuba,

newaakubadde ennimiro okumeramu ensigo.

Kubanga eyo engabo1:21 Engabo zaakolebwanga mu maliba, ne gasiigibwako amafuta ag’omuzeeyituuni. Omuzigo gwe gwagikuumanga obutavunda, ate era ne guziyiza n’obusaale okuyitamu mu ngabo. Engabo ezoogerebwako wano zaali zisaabye omusaayi nga tezikyayinzika kukozesebwa mu ntalo. ey’ab’amaanyi gye yanyoomerwa

n’engabo ya Sawulo, gye yafuukira ng’etafukibwangako mafuta.

221:22 a Is 34:3, 7 b Ma 32:42; 1Sa 18:4Omutego gwa Yonasaani tegwaddanga mabega

n’ekitala kya Sawulo tekyaddanga nga kikalu,

olw’okubuna omusaayi gw’abattibwanga,

n’amasavu g’ab’amaanyi.

231:23 a Ma 28:49; Yer 4:13 b Bal 14:18“Sawulo ne Yonasaani, mu bulamu bwabwe baali baagalwa nnyo era baali baakisa,

ne mu kufa tebaayawukana.

Baali bangu okusinga empungu,

era baali b’amaanyi n’okusinga empologoma.

24“Mmwe abawala ba Isirayiri,

mukaabire Sawulo,

eyabambaza engoye ezinekaaneka ez’okwesiima,

eyabambaza ebyambalo ebyatonebwa ne zaabu.

25“Ab’amaanyi nga bagudde wakati mu lutalo!

Yonasaani attiddwa ku nsozi zammwe.

261:26 a 1Sa 20:42 b 1Sa 18:1Nnumwa nnyo ku lwa muganda wange Yonasaani,

kubanga wali mukwano gwange ddala.

Okwagala kwe wanjagala kwali kwa kitalo,

nga kwa kitalo n’okusinga okw’abakyala.

271:27 nny 19, 25; 1Sa 2:4“Ab’amaanyi nga bagudde,

n’ebyokulwanyisa nga bizikiridde!”