2 Ebyomumirembe 9 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 9:1-31

Okukyala kwa Kabaka omukazi w’e Seeba

19:1 Lub 10:7; Ez 23:42; Mat 12:42; Luk 11:31Kabaka omukazi w’e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani n’ajja e Yerusaalemi okumugeza n’ebibuuzo ebikalubo, ng’awerekeddwako ekibinja ekinene omwali eŋŋamira ezaali zeetise ebyakaloosa, ne zaabu nnyingi nnyo n’amayinja ag’omuwendo omungi. Awo bwe yatuuka eri Sulemaani, n’anyumya naye ku ebyo byonna ebyali ku mutima gwe. 2Sulemaani n’addamu ebibuuzo bye byonna, ne wataba n’ekimu ekyamulema okumunnyonnyola. 39:3 1Bk 5:12Awo Kabaka omukazi w’e Seeba bwe yalaba amagezi ga Sulemaani, n’olubiri lwe yali azimbye, 4n’emmere eyaliibwanga ku mmeeza ye, n’okutuula okw’abakungu be, n’abaweereza be mu byambalo byabwe, n’enyambuka gye yayambukangamu okugenda okuwaayo ebiweebwayo mu yeekaalu ya Mukama, n’aggwaamu omwoyo.

5N’agamba kabaka nti, “Bye nnawulira nga ndi mu nsi yange ku bikwata ku bikolwa byo n’amagezi go bya mazima, 69:6 2By 6:32naye nnali sibikkirizanga okutuusa bwe najja ne mbyelabirako n’amaaso gange. Laba saabuulirwa wadde ekitundu eky’ettutumo lyo; bye mpulidde bisingawo ku ebyo bye nnawulira. 7Abantu bo nga balina omukisa! Abaddu bo abakuweereza bulijjo ne bawulira amagezi go nga balina omukisa! 89:8 a 1Bk 2:12; 1By 17:14; 28:5; 29:23; 2By 13:8 b 2By 2:11Mukama Katonda wo yeebazibwe akwenyumiririzaamu, era eyakuteeka ku ntebe yo ey’obwakabaka. Olw’okwagala kwa Katonda wo eri Isirayiri, era n’okwagala okubanyweza emirembe gyonna, kyeyava akufuula kabaka okubafuga, okukola obwenkanya n’obutuukirivu.”

99:9 2By 8:18N’alyoka awa kabaka ettani nnya n’ekitundu eza zaabu, n’ebyakaloosa bingi nnyo nnyini, n’amayinja ag’omuwendo. Waali tewabangawo bya kaloosa bingi bwe bityo nga Kabaka omukazi w’e Seeba bye yawa kabaka Sulemaani.

109:10 2By 8:18Abasajja ba Kulamu n’abasajja ba Sulemaani abaasuubulanga zaabu okuva e Ofiri baaleetanga n’emitoogo n’amayinja ag’omuwendo omungi. 11Kabaka n’akozesa emitoogo egyo okuzimba amaddaala aga yeekaalu ya Mukama n’ag’olubiri lwa kabaka, ate era n’akolamu n’ennanga n’entongooli z’abayimbi. Waali tewabangawo bifaanana ng’ebyo mu nsi ya Yuda. 12Kabaka Sulemaani n’awa Kabaka omukazi w’e Seeba byonna bye yayagala, okusinga n’ebyo bye yali amuleetedde. N’oluvannyuma n’addayo mu nsi ye n’ekibinja kye.

Obugagga bwa Sulemaani

13Obuzito bwa zaabu obwaleetebwanga eri Sulemaani buli mwaka bwaweranga ettani amakumi abiri mu ttaano, 149:14 2By 17:11; Is 21:13; Yer 25:24; Ez 27:21; 30:5okwo nga tagasseeko ey’obusuulu eyaweebwangayo abasuubuzi n’abamaguzi. Ate era ne bakabaka ab’e Buwalabu ne bagavana ab’ensi bamuleeteranga zaabu n’effeeza.

15Kabaka Sulemaani n’aweesa engabo ennene ebikumi bibiri okuva mu zaabu omukubeekube, buli emu ku zo ng’erimu kilo ssatu n’ekitundu eza zaabu omukubeekube. 169:16 a 2By 12:9 b 1Bk 7:2N’aweesa n’engabo entono ebikumi bisatu okuva mu zaabu omukubeekube, buli emu ku zo ng’erimu kilo emu ne desimoolo musanvu eza zaabu. Kabaka n’aziteeka mu lubiri lw’Ekibira kya Lebanooni. 179:17 1Bk 22:39Kabaka n’akola entebe ey’obwakabaka ennene nga ya masanga, n’agibikkako zaabu ennongoose. 18Entebe ye ey’obwakabaka yaliko amaddaala mukaaga, n’akatebe kawumulizaako ebigere akaakolebwa mu zaabu, era yaliko n’emikono eruuyi n’eruuyi, n’ebibumbe by’empologoma ennume bbiri nga ziyimiridde ku mabbali g’emikono. 19N’empologoma kkumi na bbiri emmumbe zaali zisimbiddwa eruuyi n’eruuyi ku madaala omukaaga. Tewaali eyakolebwa ng’eyo mu bwakabaka obulala bwonna. 20Ebinywerwamu byonna ebya kabaka Sulemaani byali bya zaabu, n’ebintu byonna ebyali mu lubiri lw’Ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu omulongoseemu. Tewaali kyakolebwa mu ffeeza kubanga mu biro bya Sulemaani effeeza yabanga ya muwendo gwa wansi. 21Kabaka yalina ebyombo ebyagendanga e Talusiisi n’abasajja ba Kulamu, era buli myaka esatu byaleetanga zaabu n’effeeza, n’amasanga, n’enkoba n’enkima okuva e Talusiisi.

229:22 1Bk 3:13; 2By 1:12Kabaka Sulemaani yali mugagga nnyo era nga mugezi okusinga bakabaka bonna ab’ensi. 239:23 1Bk 4:34Bakabaka bonna baagendanga gyali okumwebuuzaako, n’okuwulira amagezi Katonda ge yali atadde mu mutima gwe. 249:24 2By 32:23; Zab 45:12; 68:29; 72:10; Is 18:7Buli mwaka, buli eyajjanga, yaleetanga ekirabo, ebimu byali bintu bya ffeeza ne zaabu, n’ebirala nga byambalo, n’ebirala nga byakulwanyisa, n’ebirala nga byakaloosa, n’embalaasi, n’ennyumbu.

259:25 1Sa 8:11; 1Bk 4:26Sulemaani yalina ebisibo enkumi nnya omwaterekebwanga embalaasi n’amagaali; n’abavuzi ab’amagaali baali emitwalo ebiri be yateeka mu bibuga eby’amagaali, n’abamu ku bo nga babeera naye mu Yerusaalemi. 269:26 a 1Bk 4:21 b Zab 72:8-9 c Lub 15:18-21Era yafuganga bakabaka bonna okuva ku mugga Fulaati okutuuka ku nsi eya Abafirisuuti, n’okutuuka ku nsalo ya Misiri. 27Kabaka n’afuula ffeeza okuba ekya bulijjo ng’amayinja mu Yerusaalemi era n’emivule ne giba mingi ng’emisukamooli egiri mu biwonvu. 28Sulemaani yasuubulanga embalaasi okuva mu Misiri n’ensi endala.

Okufa kwa Sulemaani

299:29 a 2Sa 7:2; 1By 29:29 b 1Bk 11:29 c 2By 10:2Ebyafaayo ebirala byonna ebyabaawo mu mulembe gwa Sulemaani okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, tebyawandiikibwa mu byafaayo bya nnabbi Nasani, ne mu kwolesebwa kwa Akiya Omusiiro, ne mu birooto eby’omulabi Iddo ebikwata ku Yerobowaamu mutabani wa Nebati? 30Sulemaani n’afugira Isirayiri yenna mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi ana. 319:31 1Bk 2:10N’afa era n’aziikibwa mu kibuga kya kitaawe Dawudi, Lekobowaamu mutabani we n’amusikira.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

歷代志下 9:1-31

示巴女王拜訪所羅門

1示巴女王聽聞所羅門的名聲,便來用難題考問他。她率領許多隨從,用駱駝馱著香料、寶石和大量的黃金到耶路撒冷晉見所羅門王,與所羅門談論她心中的疑問。 2所羅門王解答了她所有的問題,沒有一樣難得住他。 3示巴女王看見所羅門的智慧,又看見他建的宮殿、 4席上的美味、入座的群臣、侍立一旁的僕人、他們的服裝、酒政、以及他在耶和華殿裡獻的燔祭,感到萬分驚奇。 5她對所羅門王說:「我在本國聽到的有關你的功業和智慧原來都是真的。 6若不是親眼目睹,我不會相信。事實上,我聽到的還不到一半!你的智慧遠超過我聽到的傳聞。 7你的臣僕經常侍立在你面前聆聽智慧之言,真有福氣! 8你的上帝耶和華當受稱頌!祂喜愛你,立你做王統治祂的子民。因為你的上帝愛以色列人,要使他們永遠堅立,所以立你為他們的王,使你秉公行義。」

9示巴女王將四噸黃金、大量香料和寶石獻給所羅門王。再無人像示巴女王那樣獻給所羅門王那麼多香料。 10希蘭的僕人和所羅門的僕人從俄斐運來黃金、檀香木和寶石。 11所羅門王用這些檀香木建造耶和華的殿和王宮的階梯,又製作歌樂手的琴瑟。在猶大從來沒有見過這樣的物品。 12所羅門王滿足了示巴女王的一切要求,回贈她的禮物超過了她帶來的。之後,女王和隨從就回示巴去了。

所羅門王的財富

13所羅門每年收到的黃金約二十三噸, 14此外還有商人、阿拉伯諸王和國內各總督送給他的金銀。 15所羅門王用錘好的金子打造了二百面大盾牌,每面用七公斤金子; 16又用錘好的金子打造了三百面小盾牌,每面用三點五公斤金子,全部放在黎巴嫩林宮。 17王又造了一個象牙大寶座,外面用純金包裹。 18這寶座有六級臺階,又有金腳凳與寶座相連,寶座兩旁有扶手,扶手兩邊各站著一頭獅子, 19六級臺階上共站著十二頭獅子,每級臺階兩端各站一頭。這寶座舉世無雙。 20所羅門王所有的杯子都是金的,黎巴嫩林宮裡所有的器皿都是純金的,沒有一件是用銀子造的,因為所羅門年間銀子不算什麼。 21王有船隊與希蘭的僕人一起出海去他施,每三年就運回金銀、象牙、猿猴和孔雀。 22所羅門王的財富和智慧超過天下諸王。 23天下的君王都紛紛來朝見所羅門,聆聽上帝賜給他的智言慧語。 24他們年年都帶來禮物,有金銀器皿、衣服、兵器、香料和騾馬。 25所羅門有四千個安置戰車和馬匹的棚,有一萬二千名騎兵,駐紮在屯車城和他所在的耶路撒冷26所羅門統管從幼發拉底河到非利士地區,遠至埃及邊境的諸王。 27王使耶路撒冷的金銀多如石頭,使香柏木多如丘陵的無花果樹。 28所羅門的馬匹都是從埃及和其他國家運來的。

所羅門逝世

29所羅門一生的事蹟,自始至終都記在拿單先知的史記、示羅亞希雅的《預言書》和易多先見論尼八的兒子耶羅波安的《啟示書》中。 30所羅門耶路撒冷統治以色列四十年, 31他與祖先同眠後,葬在他父親大衛的城裡。他兒子羅波安繼位。