2 Ebyomumirembe 7 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 7:1-22

Okuwongebwa kwa Yeekaalu

17:1 a Lv 9:24; 1Bk 18:38 b Kuv 16:10 c Zab 26:8Awo Sulemaani bwe yamaliriza esaala ye, omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka era n’ekitiibwa kya Mukama ne kijjula eyeekaalu. 27:2 a 1Bk 8:11 b Kuv 29:43; 40:35; 2By 5:14Bakabona ne batayinza kuyingira mu yeekaalu ya Mukama kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula eyeekaalu ya Mukama. 37:3 1By 16:34; 2By 5:13; 20:21Awo Abayisirayiri bonna bwe baalaba omuliro nga gukka, n’ekitiibwa kya Mukama nga kiri ku yeekaalu, ne bavuunama ku lubalaza ng’amaaso gaabwe gatunudde wansi ne basinza era ne beebaza Mukama nga boogera nti,

“Mulungi,

era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

4Awo kabaka n’abantu bonna, ne baweerayo ssaddaaka mu maaso ga Mukama. 5Kabaka Sulemaani n’awaayo ssaddaaka ey’ente ezawera emitwalo ebiri, n’endiga n’embuzi emitwalo kkumi n’ebiri. Awo kabaka n’abantu bonna ne bawonga eyeekaalu ya Mukama. 67:6 a 1By 15:16 b 2By 5:12Bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe, n’Abaleevi nabo mu bifo byabwe nga bakutte ebivuga bya Mukama, kabaka Dawudi bye yali akoze olw’okutenderezanga Mukama, buli lwe yeebazanga Mukama ng’agamba nti, “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Ku luuyi olwaddirira Abaleevi, bakabona ne bafuuwa amakondeere, Isirayiri yenna n’ayimirira.

7Sulemaani n’atukuza oluggya olwa wakati olwali mu maaso ga yeekaalu ya Mukama, era eyo n’aweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n’amasavu ag’ebiweebwayo olw’emirembe kubanga ku kyoto eky’ekikomo kye yali akoze kwali tekugyako biweebwayo byokebwa n’ebiweebwayo ebyobutta, n’ebitundu n’amasavu. 87:8 a 2By 30:26 b Lub 15:18Era mu kiseera kyekimu Sulemaani n’akuuma embaga eyo okumala ennaku musanvu, ne Isirayiri yenna wamu naye, n’ekibiina ekinene ennyo okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga ak’e Misiri. 97:9 Lv 23:36Ku lunaku olw’omunaana ne bakuba olukuŋŋaana, kubanga baali bajjagulizza okuwongebwa kw’ekyoto ennaku musanvu, n’embaga ennaku endala musanvu. 10Ku lunaku olw’amakumi abiri mu esatu olw’omwezi ogw’omusanvu, Kabaka Sulemaani n’asindika abantu baddeyo ewaabwe, era ne bagenda nga basanyufu era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw’obulungi bwa Mukama bwe yalaga Dawudi ne Sulemaani n’abantu be Isirayiri.

Mukama Alabikira Sulemaani Omulundi Ogwokubiri

11Awo Sulemaani bwe yamaliriza eyeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwa kabaka, era ng’amalirizza n’ebyo byonna bye yali ateeseteese mu mutima gwe okukola mu yeekaalu ya Mukama ne mu lubiri lwa kabaka, 127:12 Ma 12:5Mukama n’amulabikira mu kiro n’amugamba nti,

“Mpulidde okusaba kwo, era neerobozza gye ndi ekifo kino okuba eyeekaalu ey’okuweerangamu ssaddaaka.

137:13 2By 6:26-28; Am 4:7“Bwe nnaggalangawo eggulu enkuba n’etatonnya, oba ne ndagira enzige okulya ensi oba ne nsindikira abantu bange kawumpuli, 147:14 a Lv 26:41; 2By 6:37; Yak 4:10 b 1By 16:11 c Is 55:7; Zek 1:4 d 2By 6:27 e 2By 30:20; Is 30:26; 57:18abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowazanga, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu, kale nnaawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe. 157:15 2By 6:40Era amaaso gange ganaazibukanga, n’amatu gange ganaawuliranga esaala ezinaawebwangayo mu kifo kino. 167:16 nny 12; 2By 6:6Nnonze era neewongedde yeekaalu eno, Erinnya lyange libeerenga omwo ennaku zonna. Amaaso gange n’omutima gwange binaabeeranga omwo ekiseera kyonna.

177:17 1Bk 9:4“Bw’onootambuliranga mu maaso gange nga Dawudi kitaawo bwe yakola, n’okola bye nkulagira byonna, n’okuuma ebiragiro byange n’amateeka gange, 187:18 a 2By 6:16 b 2Sa 7:13; 2By 13:5ndinyweza entebe ey’obwakabaka bwo, nga bwe nalagaana ne Dawudi kitaawo bwe nayogera nti, ‘Tolirema kuba na musika alifuga Isirayiri.’ 

197:19 a Ma 28:15 b Lv 26:14, 33“Naye bwe munaakyuka ne muva ku mateeka gange n’ebiragiro byange bye mbawadde, ne mugenda okuweereza bakatonda abalala ne mubasinza, 207:20 a Ma 29:28 b 1Bk 14:15 c Ma 28:37ndisiguukulula Isirayiri okuva mu nsi yange, gye mbawadde, era sirifaayo na ku yeekaalu eno gye neewongera olw’Erinnya lyange. Ndigifuula ekisekererwa era ekinyoomebwa mu mawanga gonna. 217:21 Ma 29:24Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikiridde nnyo, abaliyitawo bonna balyewuunya, nga boogera nti, ‘Lwaki Mukama akoze ekifaanana bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’ 22Abantu baliddamu nti, ‘Kubanga baava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala, nga babasinza era nga babaweereza, kyavudde abaleetako emitawaana gino gyonna, ginnamuzisa.’ ”