2 Ebyomumirembe 6 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 6:1-42

16:1 Kuv 19:9; 1Bk 8:12-50Mu kiseera ekyo Sulemaani n’ayogera nti, “Mukama eyagamba nti Alituula mu kizikiza ekikutte; 26:2 Ezr 6:12; 7:15; Zab 135:21nkuzimbidde yeekaalu ey’ekitiibwa, ekifo ky’onoobeerangamu emirembe gyonna.”

3Awo kabaka n’akyuka n’atunuulira ekibiina kyonna ekya Isirayiri ekyali kiyimiridde awo, n’abasabira omukisa. 4N’ayogera nti,

“Yeebazibwe Mukama Katonda wa Isirayiri, atuukiriza n’omukono gwe ekyo kye yasuubiza n’akamwa ke eri Dawudi kitange, ng’agamba nti,

5“ ‘Okuva ku lunaku lwe naggya abantu bange mu nsi y’e Misiri, tewali kibuga kye nnalonda mu bika byonna ebya Isirayiri okuzimba mu eyeekaalu olw’erinnya lyange, wadde omuntu yenna okuba omukulembeze w’abantu bange Isirayiri. 66:6 a Ma 12:5; Is 14:1 b Kuv 20:24; 2By 12:13 c 1By 28:4Naye kaakano nnonze Yerusaalemi okubeeramu Erinnya lyange, era nnonze Dawudi okufuga abantu bange Isirayiri.’ 

76:7 1Sa 10:7; 1By 17:2; 28:2; Bik 7:46“Kitange Dawudi yali akiteeseteese mu mutima gwe okuzimbira Erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri eyeekaalu. 8Naye Mukama n’agamba kitange Dawudi nti, ‘Newaakubadde nga kyali mu mutima gwo okuzimbira Erinnya lyange eyeekaalu, era wakola bulungi okuba nakyo mu mutima gwo, 9naye si ggwe olizimba yeekaalu eyo, wabula mutabani wo, ow’omubiri gwo n’omusaayi gwo; y’alizimbira Erinnya lyange eyeekaalu.’ 

10“Kaakano, Mukama atuukirizza kye yasuubiza. Nsikidde Dawudi kitange, era ntudde ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde Erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri eyeekaalu. 116:11 Ma 10:2; 2By 5:10; Zab 25:10; 50:5Era omwo mwe ntadde essanduuko, omuli endagaano eya Mukama ggye yakola n’abantu ba Isirayiri.”

Okusaba kwa Sulemaani okw’Okuwonga Eyeekaalu

12Awo Sulemaani n’ayimirira mu maaso g’ekyoto kya Mukama mu maaso g’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, n’ayimusa emikono gye. 136:13 a Nek 8:4 b Zab 95:6Yali akoze ekituuti eky’ekikomo, ekyali mita bbiri ne desimoolo ssatu obuwanvu n’obugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu, n’obugulumivu mita emu ne desimoolo ssatu, era ng’akitadde wakati mu luggya olw’ebweru era kye yali ayimiriddeko. N’afukamira mu maaso g’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, n’ayimusa emikono gye eri eggulu. 146:14 a Kuv 8:10; 15:11 b Ma 7:9N’ayogera nti,

“Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri tewali Katonda akufaanana mu ggulu newaakubadde ku nsi, atuukiriza endagaano ye ey’okwagala eri abaddu be abatambulira mu maaso ge n’emitima gyabwe gyonna. 156:15 1By 22:10Otuukirizza ekyo kye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, kubanga wasuubiza n’akamwa ko, era okituukirizza n’omukono gwo leero.

166:16 a 2Sa 7:13, 15; 1Bk 2:4; 2By 7:18; 23:3 b Zab 132:12“Kaakano Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, tuukiriza ebyo bye wasuubiza Dawudi kitange bwe wayogera nti, ‘Tolirema kufuna musika mu maaso gange kutuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri, ab’ezzadde lyo bwe baneegenderezanga okutambuliranga mu maaso gange ng’etteeka lyange bwe liri, nga ggwe bw’otambulidde mu maaso gange.’ 17Kale nno, Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri ekigambo kyo kye wasuubiza Dawudi omuddu wo kituukirire.

186:18 a Kub 21:3 b 2By 2:6; Zab 11:4; Is 40:22; 66:1; Bik 7:49“Naye ddala Katonda alituula n’abantu ku nsi? Laba, eggulu n’eggulu erisinga okuba erya waggulu toligyamu, kale ate olwo yeekaalu gye nzimbye gy’oyinza okugyamu? 19Wuliriza okusaba kw’omuddu wo n’okwegayirira kwe, Ayi Mukama Katonda wange, owulire okusaba kw’omuddu wo kwasaba gy’oli. 206:20 a Kuv 3:16; Zab 34:15 b Ma 12:11 c 2By 7:14; 30:20Amaaso go gatunuulirenga eyeekaalu eno emisana n’ekiro, ekifo kye wayogerako nti oliteeka omwo Erinnya lyo, era owulire okusaba kw’omuddu wo eri ekifo kino. 216:21 Zab 51:1; Is 33:24; 40:2; 43:25; 44:22; 55:7; Mi 7:18Wulira kaakano okwegayirira kw’omuddu wo n’okw’abantu bo Isirayiri, bwe banaabanga basaba nga batunuulidde ekifo kino; owulirenga okuva mu kifo eyo gy’obeera, era bw’owuliranga, osonyiwenga.

226:22 Kuv 22:11“Omuntu bw’anaayonoonanga ku muliraanwa we, ne kimugwanira okulayira, era n’ajja n’alayira mu maaso g’ekyoto mu yeekaalu eno, 236:23 Is 3:11; 65:6; Mat 16:27owulirenga okuva mu ggulu, obeeko ky’okola. Osalenga omusango wakati w’abaddu bo osasulenga gwe gusinze, ng’ebikolwa bye bwe bimusaanira. Oyatulenga atalina musango, era omusasulenga ng’obutuukirivu bwe, bwe bunaabanga.

246:24 Lv 26:17“Abantu bo Isirayiri bwe banaabanga bawanguddwa omulabe olw’obutali butuukirivu bwabwe, naye ne bakyuka ne baatula erinnya lyo, ne basaba ne beegayiririra mu maaso go mu yeekaalu eno, 25kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu, osonyiwe ekibi ky’abantu bo Isirayiri era obakomyewo mu nsi gye wabawa bo ne bajjajjaabwe.

266:26 Lv 26:19; Ma 11:17; 28:24; 2Sa 1:21; 1Bk 17:1“Eggulu bwe linaggalwangawo ne wataba nkuba, kubanga boonoonye gy’oli, naye ne basaba nga batunuulidde ekifo kino, ne baatula erinnya lyo, ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe ekibaweezesezza ekibonerezo, 276:27 nny 30, 39; 2By 7:14kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu, osonyiwe ekibi ky’abaddu bo, abantu bo Isirayiri, obayigirize ekkubo eggolokofu, lye bateekwa okutambulirangamu, era obaweereze enkuba ku nsi gye wawa abantu bo, obusika bwo.

286:28 2By 20:9“Bwe wanaagwangawo enjala oba kawumpuli mu nsi, oba ne wabaawo okugengewala oba obukuku, oba enzige oba ebisaanyi, oba abalabe baabwe ne babazingiriza mu bibuga byabwe wadde ne bw’anaabanga kawumpuli ow’engeri etya, oba bulwadde bwa ngeri ki, 29ne wabaawo okusaba oba okwegayirira okw’engeri zonna okukoleddwa omuntu yenna, oba abantu bo bonna Isirayiri, nga buli omu ategedde endwadde ye, n’obuyinike bwe, era ng’ayanjulurizza engalo ze eri yeekaalu eno, 306:30 a nny 27 b 1Sa 16:7; 1By 28:9; Zab 7:9; 44:21; Nge 16:2; 17:3kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu gy’obeera osonyiwe, era osasule buli muntu ng’ebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe wekka gw’omanyi emitima gy’abaana b’abantu; 316:31 Zab 103:11, 13; Nge 8:13balyoke bakutyenga, era batambulirenga mu makubo go ennaku zonna ze banaabeeranga mu nsi gye wawa bajjajjaffe.

326:32 a 2By 9:6; Yk 12:20; Bik 8:27 b Kuv 3:19, 20“Era mu ngeri y’emu, bwe wanaabangawo munnaggwanga atali wa ku bantu bo Isirayiri, ng’ava mu nsi ey’ewala, olw’erinnya lyo ekkulu, n’olw’omukono gwo ogw’amaanyi, n’omukono gwo ogugoloddwa, bw’anajjanga n’asaba ng’atunuulidde eyeekaalu eno, 336:33 2By 7:14kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu gy’obeera, okolere omunnaggwanga oyo kyonna ky’anaakusabanga; abantu bonna ab’omu nsi balyoke bamanye erinnya lyo era bakutye, ng’abantu bo Isirayiri bwe bakola, era bategeere nti ennyumba eno gye nzimbye etuumiddwa Erinnya lyo.

346:34 a Ma 28:7 b 1By 5:20“Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe, yonna gy’onoobasindikanga, ne basaba nga batunuulidde ekibuga kino ky’olonze ne yeekaalu gye nzimbidde Erinnya lyo, 35kale owulirenga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe, ng’osinziira mu ggulu, obaddiremu.

366:36 a Yob 15:14; Zab 143:2; Mub 7:20; Yer 17:9; Yak 3:1; 1Yk 1:8-10 b Lv 26:44“Bwe banaakolanga ebisobyo, kubanga tewaliwo muntu atasobya, n’obasunguwalira, n’obawaayo eri omulabe, ne batwalibwa nga basibe mu nsi ey’ewala oba ey’okumpi, 376:37 2By 7:14; 33:12, 19, 23; Yer 29:13oluvannyuma ne beenenya mu mutima nga bali mu nsi gye bali abasibe, ne bakwegayiririra mu nsi ey’okusibibwa kwabwe nga boogera nti, ‘Twayonoona, twakola eby’obubambavu, era twagira ekyejo,’ 38era bwe beenenyanga n’omutima gwabwe gwonna n’emmeeme yaabwe yonna mu nsi ey’okusibibwa kwabwe gye baatwalibwa, ne basaba nga batunuulidde ensi gye wawa bajjajjaabwe, n’eri ekibuga kye walonda, n’eri eyeekaalu gye nazimba ku lw’Erinnya lyo, 39kale, owulirenga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe, ng’osinziira mu ggulu, ekifo gy’obeera obaddiremu, era osonyiwe abantu bo abakwonoonye.

406:40 2By 7:15; Nek 1:6, 11; Zab 17:1, 6“Kaakano Katonda wange, amaaso go gazibukenga, n’amatu go gawulirenga okusaba okunaaweerwangayo mu kifo kino.

416:41 a Is 33:10 b 1By 28:2 c Zab 132:16 d Zab 116:12“Era kaakano, Ayi Mukama Katonda golokoka, okke mu kifo kyo

eky’okuwummulirangamu, ggwe n’essanduuko ey’amaanyi go.

Bakabona bo Ayi Mukama Katonda, bambazibwe obulokozi,

era n’abatukuvu bo basanyukire obulungi bwo.

426:42 Zab 89:24, 28; Is 55:3Ayi Mukama Katonda, tokyusa maaso go okuva ku oyo gwe wafukako amafuta.

Ojjukire ekisa kye walaga Dawudi omuddu wo.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

历代志下 6:1-42

1那时,所罗门说:

“耶和华啊,

你曾说你要住在密云中,

2现在我为你建造了殿宇,

作你永远的居所。”

所罗门为民众祝福

3王转身为站立在那里的以色列全体会众祝福。 4他说:“以色列的上帝耶和华当受称颂!祂亲口给我父大卫的应许,祂也亲手成就了! 5祂曾说,‘自从我把我的子民带出埃及以来,我并没有在以色列众支派中选出一座城建造殿宇作为我名所在之地,也没有选立一人做我以色列子民的君王。 6但如今,我拣选了耶路撒冷作为我名所在之地,又拣选了大卫来治理我的以色列子民。’”

7所罗门又说:“我父大卫曾想建一座殿来尊崇以色列的上帝耶和华之名, 8但耶和华对我父大卫说,‘你想为我建殿,这番心意是好的, 9但你不要建,要由你的亲生儿子为我建殿。’ 10现在耶和华已经成就祂的应许,让我继承我父大卫的王位统治以色列,又为以色列的上帝耶和华的名建了殿。 11我把约柜安放在里面,约柜里有耶和华与以色列人所立的约。”

所罗门的祷告

12所罗门当着以色列会众的面,站在耶和华的坛前,向天伸出双手祷告。 13他曾造一个长二点二五米,宽二点二五米,高一点三五米的铜台,放在院子中间。他站在台上,当着以色列会众的面跪下,向天伸出双手, 14祷告说:“以色列的上帝耶和华啊,天上地下没有神明可以与你相比!你向尽心遵行你旨意的仆人守约、施慈爱。 15你持守给你仆人——我父大卫的应许,你曾亲口应许,你今天亲手成就了。 16以色列的上帝耶和华啊,你曾对你仆人——我父大卫说,‘若你的子孙像你一样谨慎行事,遵行我的律法,你的王朝就不会中断。’求你信守这应许。 17以色列的上帝耶和华啊,求你实现你给你仆人大卫的应许。

18“然而,上帝啊,你真的会住在人间吗?看啊,诸天尚且不够你居住,更何况我建造的这殿呢? 19可是,我的上帝耶和华啊,求你垂顾你仆人的祷告和祈求,垂听你仆人在你面前的呼求和祷告。 20愿你昼夜看顾这殿——你应许立你名的地方!你仆人向着这地方祷告的时候,求你垂听。 21你仆人和你的以色列子民向这地方祈祷的时候,求你从你天上的居所垂听,赦免我们的罪。

22“如果有人得罪邻舍,被叫到这殿中,在你的坛前起誓, 23求你从天上垂听,在你众仆人当中施行审判,按他们的行为罚恶赏善。

24“当你的以色列子民因得罪你而败在敌人手中时,如果他们回心转意归向你,承认你的名,在这殿里祈祷, 25求你从天上垂听,赦免他们的罪,带领他们回到你赐给他们和他们祖先的土地上。

26“当你的子民得罪你,你惩罚他们,使天不降雨时,如果他们向着这地方祷告,承认你的名,并离开罪恶, 27求你在天上垂听,赦免你仆人——你以色列子民的罪,教导他们走正道,降下甘霖滋润你赐给你子民作产业的土地。

28“如果国中有饥荒、瘟疫、旱灾、霉病、蝗灾、虫灾,或是城邑被敌人围困,无论遭遇什么灾祸疾病, 29只要你的以色列子民,或个人或全体,自知心中痛苦并向着这殿伸手祷告,无论祈求什么, 30求你从天上的居所垂听,赦免他们。唯独你能洞察人心,你必按各人的行为施行赏罚, 31使你的子民在你赐给我们祖先的土地上终生敬畏你,遵行你的道。

32“如果有远方的外族人听说你的大能大力,慕名而来,向着这殿祷告, 33求你从天上的居所垂听,应允他们的祈求,好叫天下万民都像你的以色列子民一样认识你的名、敬畏你,并知道我建造的这殿属于你的名下。

34“你的子民奉你的命令上阵与敌人作战,无论他们在哪里,如果他们向着你选择的这城和我为你建造的这殿祷告, 35求你从天上垂听,使他们得胜。

36“世上没有不犯罪的人,如果你的子民得罪你,以致你向他们发怒,让敌人把他们掳走,不论远近, 37若他们在那里回心转意,向你恳求,承认自己犯罪作恶了; 38若他们全心全意地归向你,朝着你赐给他们祖先的这片土地、你选择的这城和我为你建的这殿向你祷告, 39求你从你天上的居所垂听他们的祈求,为他们伸张正义,赦免得罪你的子民。

40“我的上帝啊,

求你睁眼看、侧耳听在这殿里献上的祷告。

41耶和华上帝啊,

愿你起来与你大能的约柜一同进入你的安息之所!

耶和华上帝啊,

愿你的祭司披上救恩,

愿你的圣民蒙福欢乐!

42耶和华上帝啊,

求你不要厌弃你所膏立的人,

顾念你曾应许以慈爱待你的仆人大卫。”