2 Ebyomumirembe 5 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 5:1-14

15:1 a 1Bk 6:14 b 2Sa 8:11Bw’atyo Sulemaani n’amaliriza omulimu gwonna ogwa yeekaalu ya Mukama. N’alyoka aleeta ebintu kitaawe Dawudi bye yawonga, effeeza ne zaabu n’ebintu ebirala byonna ebyole, n’abiteeka mu mawanika ga yeekaalu ya Katonda.

Essanduuko Ereetebwa mu Yeekaalu

25:2 Kbl 3:31; 2Sa 6:12; 1By 15:25Awo Sulemaani n’akuŋŋaanya abakadde ba Isirayiri, n’abakulu b’ebika, n’abakulu b’ennyumba za bajjajja b’abantu ba Isirayiri bagende baleete essanduuko ey’endagaano ya Mukama okuva mu Sayuuni, ekibuga kya Dawudi. 35:3 1By 9:1; 2By 7:8-10Abasajja bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaanira mu maaso ga kabaka mu kiseera eky’embaga mu mwezi ogw’omusanvu.

4Abakadde bonna aba Isirayiri bwe baatuuka, Abaleevi ne basitula essanduuko, 55:5 Kbl 3:31; 1By 15:2ne bagireeta, n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’ebintu byonna ebitukuvu ebyali mu weema. Bakabona n’Abaleevi be baabisitula.

6Awo kabaka Sulemaani n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, abaali bakuŋŋaanye nga bamwetoolodde, nga bali mu maaso g’essanduuko, ne bawaayo ssaddaaka ez’endiga n’ente, ezitaabalibwa muwendo.

75:7 Kub 11:19Awo bakabona ne baleeta essanduuko ey’endagaano ya Mukama munda mu kifo kyayo mu watukuvu wa yeekaalu, mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, ne bagiteeka wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi. 85:8 Lub 3:24Bakerubi baayanjalanga ebiwaawaatiro byabwe okubuna ekifo eky’essanduuko, ne babikkanga essanduuko n’emisituliro gyayo. 9Era emisituliro gyali miwanvu nnyo nga n’okulengerebwa girengerebwa okuva mu watukuvu, naye nga tegirabika ng’omuntu asinzidde ebweru; era ekyali eyo ne leero. 105:10 a Beb 9:4 b Kuv 16:34; Ma 10:2Essanduuko yalimu ebipande Musa bye yateekamu nga ali ku Kolebu, Mukama gye yakolera endagaano n’Abayisirayiri, bwe baali bavudde mu Misiri.

115:11 1By 24:1Awo bakabona bonna ne bava mu Kifo Ekitukuvu. Bonna abaaliwo baali beetukuzizza, obutayawula mu bibiina byabwe. 125:12 a 1Bk 10:12; 1By 25:1; Zab 68:25 b 1By 13:8; 15:24Abaleevi bonna abaali abayimbi, ng’omwo mwe muli Asafu, Kemani, Yedusuni ne batabani baabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe nga bambadde bafuta ennungi, nga bakutte ebitaasa, n’entongooli, n’ennanga, ne bayimirira ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’ekyoto, wamu ne bakabona kikumi mu abiri abaafuuwanga amakondeere. 135:13 1By 16:34, 41; 2By 7:3; 20:21; Ezr 3:11; Zab 100:5; 136:1; Yer 33:11Awo abaafuuwanga amakondeere n’abayimbi ne beegattira wamu mu ddoboozi ery’awamu ne batendereza era ne beebaza Mukama. Ne batendereza Mukama nga bafuuwa amakondeere, nga bakuba n’ebitaasa, n’ebivuga ebirala nga bayimba nti,

“Mulungi,

kubanga okwagala kwe okwenkalakkalira kubeerera emirembe n’emirembe.”

Awo yeekaalu ya Mukama n’ejjula ekire. 145:14 a Kuv 40:35; Kub 15:8 b Kuv 19:16 c Kuv 29:43; 2By 7:2Bakabona ne batasobola kukola mulimu gwabwe ogw’obuweereza olw’ekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula yeekaalu ya Mukama.