2 Ebyomumirembe 25 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 25:1-28

Amaziya Kabaka wa Yuda

1Amaziya yalina emyaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekoyadaani ow’e Yerusaalemi. 225:2 nny 14; 1Bk 8:61; 2By 24:2N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, naye si na mutima ogutuukiridde. 3Obwakabaka bwe bwanywezebwa mu buyinza bwe, n’atta abakungu abatta kabaka kitaawe. 425:4 a Ma 28:61 b Kbl 26:11; Ma 24:16Naye n’atatta baana baabwe, wabula n’akola ng’etteeka mu kitabo kya Musa, Mukama we yalagira nti, “Abazadde tebattibwenga olw’ekibi ky’abaana baabwe, so n’abaana tebattibwenga olw’ekibi ky’abazadde baabwe, naye buli muntu anaafanga olw’ekibi kye ye.”

525:5 a 2Sa 24:2 b Kuv 30:14 c Kbl 1:3; 1By 21:1; 2By 17:14-19Amaziya n’akuŋŋaanya abasajja ba Yuda, n’abategeka mu nnyiriri z’ennyumba zaabwe, nga baduumirwa ab’enkumi n’ab’ebikumi mu Yuda yonna ne mu Benyamini. N’oluvannyuma n’abala abo abaalina emyaka amakumi abiri n’okusingawo, ne baba abasajja emitwalo amakumi asatu, abaali basobola okugenda mu lutalo, era nga bayinza n’okukwata effumu n’ekitala. 6Ate era n’agulayo n’abasajja abalala ab’amaanyi nga bazira emitwalo kkumi okuva mu Isirayiri, olwa ttani ssatu ne bisatu byakuna ebya ffeeza.

725:7 2By 16:2-9; 19:1-3Naye ne wabaawo omusajja wa Katonda eyagenda gy’ali n’amugamba nti, “Ayi kabaka, tokkiriza eggye lya Isirayiri okugenda naawe, kubanga Mukama tali wamu ne Isirayiri, talina n’omu gwali naye ku bantu ba Efulayimu. 825:8 2By 14:11; 20:6Ate ne bw’onoogenda ng’olowooza nti oli muzira nnyo mu ntalo, Katonda alikuwaayo mu maaso g’omulabe, kubanga Katonda alina obuyinza okuyamba, n’okulekerera.”

925:9 Ma 8:18; Nge 10:22Awo Amaziya n’abuuza omusajja wa Katonda nti, “Naye tunaakola tutya ku bya ttani esatu n’ebisatu byakuna ebya ffeeza ze nasasula eggye lya Isirayiri?” Omusajja wa Katonda n’addamu nti, “Mukama ayinziza ddala okukuwa n’ebisinga ku ebyo.”

1025:10 nny 13Awo Amaziya n’alagira eggye eryali lizze gy’ali okuva mu Efulayimu okuddayo ewaabwe waalyo. Ne banyiigira nnyo Yuda, era ne baddayo ewaabwe nga banyiize nnyo.

11Amaziya ne yeefungiza, n’akulembera abantu be, n’agenda mu kiwonvu eky’omunnyo n’atta abasajja omutwalo gumu ab’e Seyiri. 1225:12 Zab 141:6; Ob 3Eggye lya Yuda ne liwamba n’abasajja abalala omutwalo gumu nga balamu, ne babatwala waggulu ku lwazi, ne babasuula wansi okuva ku bbangabanga, ne basesebbuka ebifiififi.

13Naye eggye liri Amaziya lye yasindika okuddayo, n’ataliganya kugenda naye mu lutalo; lyalumba ebibuga bya Yuda okuva e Samaliya okutuuka e Besukolooni, ne litta abantu enkumi ssatu ku bo, era ne litwala n’omunyago mungi. 1425:14 Kuv 20:3; 2By 28:23; Is 44:15Awo Amaziya bwe yakomawo ng’amaze okutta Abayedomu, n’aleeta bakatonda b’abantu ab’e Seyiri, n’abassaawo nga bakatonda be, n’abasinzanga, era n’abaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa. 1525:15 Zab 96:5; Is 36:20Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuukira ku Amaziya, n’amuweereza nnabbi, eyamutegeeza nti, “Lwaki ogoberera bakatonda b’abantu, abataayinza kulokola bantu baabwe mu mukono gwo?”

16Naye bwe yali ng’akyayogera, kabaka n’amubuuza nti, “Twali tukulonze okuba omuwi wa magezi owa kabaka? Sirika! Lwaki onoonya okuttibwa?” Awo nnabbi nga tannasirika, n’ayogera kino nti, “Mmanyi nga Katonda amaliridde okukuzikiriza, kubanga tossizaayo mwoyo ku kubuulirira kwange.”

17Awo Amaziya kabaka wa Yuda ne yeebuuza ku bawi b’amagezi be, n’aweereza obubaka eri Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi, muzzukulu wa Yeeku, kabaka wa Isirayiri, ng’agamba nti, “Jjangu tusisinkane amaaso n’amaaso.”

1825:18 Bal 9:8-15Naye Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’addamu Amaziya kabaka wa Yuda bw’ati nti, “Omwennyango ogwali mu Lebanooni gw’aweereza obubaka eri omuvule ogwali mu Lebanooni, nga gugamba nti, ‘Waayo muwala wo eri mutabani wange, amufumbirwe,’ naye ensolo ey’omu nsiko eyali mu Lebanooni, ng’eyitawo, n’erinnyirira omwennyango. 19Weewaana nga bw’owangudde Edomu, era omutima gwo gujjudde okwegulumiza n’okwenyumiriza. Naye sigala ewuwo. Lwaki onoonya emitawaana, ne weeretera okugwa, ggwe ne Yuda?”

2025:20 1Bk 12:15; 2By 10:15; 22:7Naye Amaziya n’atawuliriza, kubanga okuwangulwa abalabe baabwe kwava eri Katonda, kubanga bava ku Katonda waabwe ne banoonya bakatonda ba Edomu. 21Awo Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’alumba, ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne basisinkana amaaso n’amaaso mu lutalo e Besusemesi ekya Yuda. 22Isirayiri n’awangula Yuda, buli muntu n’addukira ewuwe. 2325:23 a 2Bk 14:13; Nek 8:16; 12:39 b 2By 26:9; Yer 31:38Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yowaasi, muzzukulu wa Yekoyakaazi e Besusemesi, n’amuleeta e Yerusaalemi. Yowaasi n’amenyaamenya n’ekitundu ekya bbugwe wa Yerusaalemi okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku Mulyango ogw’oku Nsonda, eyali mita kikumi mu kinaana obuwanvu. 2425:24 1By 26:15N’atwala ezaabu n’effeeza yonna, n’ebintu ebirala byonna ebyali mu yeekaalu ya Katonda ebyali bikuumibwa Obededomu, wamu n’eby’obugagga eby’omu lubiri, n’abawambe, n’addayo e Samaliya.

25Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n’awangaala emyaka emirala kkumi n’ettaano, oluvannyuma olw’okufa kwa Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi, kabaka wa Isirayiri. 26Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Amaziya, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, tebyawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri? 2725:27 Yos 10:3Okuva mu kiseera, Amaziya lwe yakyuka okuva ku Mukama, baamusalira olukwe mu Yerusaalemi, n’addukira e Lakisi. Kyokka ne bamusindikira abasajja abaamugoberera okutuuka e Lakisi, era ne bamuttira eyo. 28Omulambo gwe ne baguleetera ku mbalaasi, n’aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe mu kibuga kya Yuda.