2 Ebyomumirembe 14 – LCB & NIV

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 14:1-15

1Abiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Asa mutabani we n’amusikira, era ku mulembe gwe ensi n’eba n’emirembe okumala emyaka kkumi.

Asa kabaka wa Yuda

2Asa n’akola ebyali ebirungi nga bituufu mu maaso ga Mukama Katonda we. 314:3 Kuv 34:13; Ma 7:5; 1Bk 15:12-14N’aggyawo ebyoto eby’abannamawanga n’ebifo ebigulumivu, era n’amenyaamenya empagi, n’ebifaananyi bya Asera n’abitemaatema. 4N’alagira Yuda okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabe, era n’okukuuma amateeka ge n’ebiragiro bye. 514:5 2By 34:4, 7Era n’aggyawo ebifo ebigulumivu n’ebyoto eby’obubaane mu bibuga byonna ebya Yuda, n’obwakabaka ne buba n’emirembe mu bufuzi bwe. 614:6 1By 22:9; 2By 15:15N’azimba ebibuga ebiriko bbugwe mu Yuda, era ne wataba n’omu eyayaŋŋanga okulwana naye, kubanga Mukama yamuwa okuwummula ku njuyi zonna.

7N’agamba Yuda nti, “Tuzimbe ebibuga bino, tubiteekeko bbugwe, ne wankaaki n’emitayimbwa. Ensi ekyali yaffe, kubanga tunoonyezza Mukama Katonda waffe; tumunoonyezza, n’atuwa emirembe ku buli luuyi.” Ne bazimba era ne bagaggawala. 8Asa yalina eggye nga lya basajja emitwalo amakumi asatu okuva mu Yuda, nga balina engabo ennene n’amafumu, n’abalala emitwalo amakumi abiri mu munaana abaava mu Benyamini nga balina engabo entono n’obusaale, era bonna nga basajja bazira.

914:9 a 2By 12:3; 16:8 b 2By 11:8Olunaku lumu, Zeera Omwesiyopya n’abalumba ng’alina eggye lya basajja akakadde kamu, n’amagaali ebikumi bisatu, n’atuuka n’e Malesa. 10Asa n’agenda okumutabaala, buli omu ku bo n’asimba ennyiriri ez’entalo mu kiwonvu Zefasa e Malesa.

1114:11 a 2By 13:14 b 2By 13:18 c 1Sa 17:45 d 1Sa 14:6; Zab 9:19Awo Asa n’akoowoola Mukama Katonda we ng’agamba nti, “Mukama, tewali akwenkana mu kuyamba abanafu, nga balumbiddwa ab’amaanyi. Tuyambe Ayi Mukama Katonda waffe, kubanga twesize ggwe, era mu linnya lyo tuzze okutabaala eggye lino eddene. Ayi Mukama, oli Katonda waffe, toganya muntu yenna okutuwangula.”

1214:12 2By 13:15Awo Mukama n’akubira Abaesiyopiya mu maaso ga Asa ne mu maaso ga Yuda, Abaesiyopiya ne badduka. 1314:13 Lub 10:19Asa n’eggye lye ne babagoba okutuuka e Gerali, era bangi ku Baesiyopya ne bagwa, ne wataba n’omu ku bo alama, kubanga eggye lya Mukama lyabazikiriza. Abasajja aba Yuda ne beetikka omunyago mungi. 1414:14 Lub 35:5; 2By 17:10Ne bazikiriza ebibuga byonna ebyali byetoolodde Gerali, kubanga entiisa ya Mukama yabagwira. Ne banyaga ebyalo byonna, kubanga byalimu omunyago mungi. 15Ne balumba n’ebibinja by’abalaalo, ne batwala ente, n’endiga, n’embuzi, n’eŋŋamira nnyingi nnyo, ne balyoka baddayo e Yerusaalemi.

New International Version

2 Chronicles 14:1-15

In Hebrew texts 14:1 is numbered 13:23, and 14:2-15 is numbered 14:1-14. 1And Abijah rested with his ancestors and was buried in the City of David. Asa his son succeeded him as king, and in his days the country was at peace for ten years.

Asa King of Judah

2Asa did what was good and right in the eyes of the Lord his God. 3He removed the foreign altars and the high places, smashed the sacred stones and cut down the Asherah poles.14:3 That is, wooden symbols of the goddess Asherah; here and elsewhere in 2 Chronicles 4He commanded Judah to seek the Lord, the God of their ancestors, and to obey his laws and commands. 5He removed the high places and incense altars in every town in Judah, and the kingdom was at peace under him. 6He built up the fortified cities of Judah, since the land was at peace. No one was at war with him during those years, for the Lord gave him rest.

7“Let us build up these towns,” he said to Judah, “and put walls around them, with towers, gates and bars. The land is still ours, because we have sought the Lord our God; we sought him and he has given us rest on every side.” So they built and prospered.

8Asa had an army of three hundred thousand men from Judah, equipped with large shields and with spears, and two hundred and eighty thousand from Benjamin, armed with small shields and with bows. All these were brave fighting men.

9Zerah the Cushite marched out against them with an army of thousands upon thousands and three hundred chariots, and came as far as Mareshah. 10Asa went out to meet him, and they took up battle positions in the Valley of Zephathah near Mareshah.

11Then Asa called to the Lord his God and said, “Lord, there is no one like you to help the powerless against the mighty. Help us, Lord our God, for we rely on you, and in your name we have come against this vast army. Lord, you are our God; do not let mere mortals prevail against you.”

12The Lord struck down the Cushites before Asa and Judah. The Cushites fled, 13and Asa and his army pursued them as far as Gerar. Such a great number of Cushites fell that they could not recover; they were crushed before the Lord and his forces. The men of Judah carried off a large amount of plunder. 14They destroyed all the villages around Gerar, for the terror of the Lord had fallen on them. They looted all these villages, since there was much plunder there. 15They also attacked the camps of the herders and carried off droves of sheep and goats and camels. Then they returned to Jerusalem.