2 Ebyomumirembe 11 – LCB & NIV

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 11:1-23

111:1 1Bk 12:21Awo Lekobowaamu bwe yatuuka mu Yerusaalemi, n’akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda n’eya Benyamini, bonna nga bawera abasajja abalwanyi emitwalo kkumi na munaana, bagende balwanyise Isirayiri, obwakabaka babuddize Lekobowaamu.

211:2 2By 12:5-7, 15Naye ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nti, 3“Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda, n’Abayisirayiri bonna abali mu Yuda ne Benyamini nti, 411:4 2By 28:8-11Bw’ati bw’ayogera Mukama, ‘Temulumba baganda bammwe. Buli omu ku mmwe addeyo ewuwe, kubanga kino kivudde gye ndi.’ ” Awo ne bagondera ekigambo kya Mukama, ne baddayo, ne batagenda kulumba Yerobowaamu.

Lekobowaamu Anyweza Yuda

5Lekobowaamu n’abeera mu Yerusaalemi, n’azimba ebibuga eby’okwerinda mu Yuda: 6n’azimba Besirekemu, ne Etamu, ne Tekowa, 7ne Besuzuli, ne Soko, ne Adulamu, 8ne Gaasi, ne Malesa, ne Zifu, 9ne Adorayimu, ne Lakisi, ne Azeka, 10ne Zola, ne Ayalooni, ne Kebbulooni nga bye bibuga ebiriko bbugwe ebyali mu Yuda ne Benyamini. 11N’anyweza bbugwe waabyo, n’ateekayo abaduumizi, n’emmere ey’okwerinzisa n’amafuta ag’omuzeeyituuni ne wayini. 12N’ateekayo engabo n’amafumu mu bibuga byonna, n’abinywereza ddala, Yuda ne Benyamini ne biba bibye.

13Bakabona n’Abaleevi okuva mu Isirayiri yonna ne bakkiriziganya naye. 1411:14 a Kbl 35:2-5 b 2By 13:9Abaleevi ne bava mu butaka bwabwe ne baleka n’eby’obugagga bwabwe ne bajja mu Yuda ne Yerusaalemi, kubanga Yerobowaamu ne batabani be babagobaganya era ne babagaana okuweereza Mukama mu bwakabaka bwabwe, 1511:15 a 1Bk 13:33 b 1Bk 12:31 c Lv 17:7 d 1Bk 12:28; 2By 13:8nga balonda bakabona abaabwe okuweerezanga ku bifo ebigulumivu, ne bakatonda baabwe ab’ebifaananyi eby’embuzi n’ente, bye yali abumbye. 1611:16 2By 15:9N’abo bonna abaali beewaddeyo mu mitima gyabwe okunoonya Mukama Katonda wa Isirayiri ne bagenda n’Abaleevi e Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. 1711:17 2By 12:1Ne banyweza obwakabaka bwa Yuda, era ne bawagira Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani okumala emyaka esatu, nga batambulira mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani.

Ennyumba ya Lekobowaamu

18Lekobowaamu n’awasa Makalasi muwala wa Yerimosi mutabani wa Dawudi, ne Abikayiri muwala wa Eriyaabu mutabani wa Yese, 19Makalasi n’azaalira Lekobowaamu abaana aboobulenzi: Yewusi, ne Semaliya ne Zakamu. 2011:20 a 1Bk 15:2 b 2By 13:2Oluvannyuma Lekobowaamu n’awasa Maaka muwala wa Abusaalomu, n’amuzaalira Abiya, ne Attayi, ne Ziza ne Seromisi. 2111:21 Ma 17:17Lekobowaamu n’ayagala nnyo Maaka muwala wa Abusaalomu okusinga bakazi be abalala. Bonna awamu n’awasa abakazi kkumi na munaana n’afunayo n’abalala nkaaga, abaamuzaalira abaana aboobulenzi amakumi abiri mu munaana n’abaana aboobuwala nkaaga.

2211:22 Ma 21:15-17Lekobowaamu n’alonda Abiya mutabani wa Maaka okuba omukulu wa baganda be, ng’agenderera okumufuula kabaka. 23N’akola eky’amagezi, n’asaasaanya batabani be abamu mu masaza ag’enjawulo aga Yuda ne Benyamini, ne mu bibuga byonna ebyaliko bbugwe, n’abawa eby’obugagga bingi, n’abafunira n’abakazi bangi.

New International Version

2 Chronicles 11:1-23

1When Rehoboam arrived in Jerusalem, he mustered Judah and Benjamin—a hundred and eighty thousand able young men—to go to war against Israel and to regain the kingdom for Rehoboam.

2But this word of the Lord came to Shemaiah the man of God: 3“Say to Rehoboam son of Solomon king of Judah and to all Israel in Judah and Benjamin, 4‘This is what the Lord says: Do not go up to fight against your fellow Israelites. Go home, every one of you, for this is my doing.’ ” So they obeyed the words of the Lord and turned back from marching against Jeroboam.

Rehoboam Fortifies Judah

5Rehoboam lived in Jerusalem and built up towns for defense in Judah: 6Bethlehem, Etam, Tekoa, 7Beth Zur, Soko, Adullam, 8Gath, Mareshah, Ziph, 9Adoraim, Lachish, Azekah, 10Zorah, Aijalon and Hebron. These were fortified cities in Judah and Benjamin. 11He strengthened their defenses and put commanders in them, with supplies of food, olive oil and wine. 12He put shields and spears in all the cities, and made them very strong. So Judah and Benjamin were his.

13The priests and Levites from all their districts throughout Israel sided with him. 14The Levites even abandoned their pasturelands and property and came to Judah and Jerusalem, because Jeroboam and his sons had rejected them as priests of the Lord 15when he appointed his own priests for the high places and for the goat and calf idols he had made. 16Those from every tribe of Israel who set their hearts on seeking the Lord, the God of Israel, followed the Levites to Jerusalem to offer sacrifices to the Lord, the God of their ancestors. 17They strengthened the kingdom of Judah and supported Rehoboam son of Solomon three years, following the ways of David and Solomon during this time.

Rehoboam’s Family

18Rehoboam married Mahalath, who was the daughter of David’s son Jerimoth and of Abihail, the daughter of Jesse’s son Eliab. 19She bore him sons: Jeush, Shemariah and Zaham. 20Then he married Maakah daughter of Absalom, who bore him Abijah, Attai, Ziza and Shelomith. 21Rehoboam loved Maakah daughter of Absalom more than any of his other wives and concubines. In all, he had eighteen wives and sixty concubines, twenty-eight sons and sixty daughters.

22Rehoboam appointed Abijah son of Maakah as crown prince among his brothers, in order to make him king. 23He acted wisely, dispersing some of his sons throughout the districts of Judah and Benjamin, and to all the fortified cities. He gave them abundant provisions and took many wives for them.