2 Bassekabaka 8 – LCB & CARS

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 8:1-29

Omukyala Omusunammu Addizibwa Ebibye

18:1 a 2Bk 4:8-37 b Lv 26:26; Ma 28:22; Lus 1:1 c Lub 12:10; Zab 105:16; Kag 1:11Mu biro ebyo Erisa n’agamba omukazi gwe yazuukiriza mutabani we nti, “Golokoka ove wano ogende n’ab’omu nnyumba yo bonna mu nsi gy’oliyinza okubeeramu, kubanga Mukama alireeta ekyeeya mu nsi okumala emyaka musanvu.” 2Omukazi n’asitukiramu n’akola ng’omusajja wa Katonda bwe yayogera, n’alaga ye n’ab’omu nnyumba ye mu nsi y’Abafirisuuti8:2 Ensi y’Abafirisuuti yali njimu nnyo okusinga ensozi za Isirayiri, ate nga n’Abasuuli tebagirumba nnyo nga bwe baalumbanga Isirayiri. okumala emyaka musanvu.

3Oluvannyuma lw’emyaka omusanvu, n’akomawo okuva mu nsi y’Abafirisuuti, n’alaga eri kabaka okumwegayirira addizibwe ekibanja kye n’ennyumba ye. 4Mu kiseera ekyo kye kimu kabaka yali anyumyamu ne Gekazi omuweereza w’omusajja wa Katonda, nga kabaka amugambye nti, “Ntegeeza ebintu ebikulu byonna Erisa by’akoze.” 58:5 2Bk 4:35Awo Gekazi bwe yali ng’akyanyumiza kabaka, engeri Erisa bwe yazuukiza abafu, omukazi eyali ne mutabani we, Erisa gwe yazuukiza n’atuuka, okwegayirira kabaka ng’asaba ekibanja kye n’ennyumba ye. Gekazi n’ayogera nti, “Mukama wange kabaka, ono ye mukazi, era ne mutabani we Erisa gwe yazuukiza y’oyo.” 6Awo kabaka bwe yabuuza omukazi, n’amutegeeza nti bwe kyali. N’alyoka alagira omu ku bakungu amutereereze ensonga ze; n’amugamba nti, “Muddize buli kintu kyonna ekikye, n’obusuulu bwonna obwa kuŋŋaanyizibwa okuva mu kibanja kye okuva ku lunaku lwe yakivaamu okutuusa kaakano.”

Kazayeeri Atta Benikadadi

78:7 a 2Sa 8:5; 1Bk 11:24 b 2Bk 6:24Erisa n’agenda e Ddamasiko n’asanga Benikadadi kabaka w’e Busuuli ng’alwadde. Kabaka bwe yategeezebwa nti, “Omusajja wa Katonda atuuse mu kitundu,” 88:8 a 1Bk 19:15 b Lub 32:20; 1Sa 9:7; 2Bk 1:2 c Bal 18:5n’agamba Kazayeeri nti, “Ffuna ekirabo, ogende osisinkane omusajja wa Katonda, weebuuze ku Mukama ng’oyita mu ye oba, ndiwona endwadde eno.”

9Kazayeeri n’agenda okusisinkana Erisa, n’amutwalira n’ebirabo eby’engeri zonna okuva e Ddamasiko8:9 Ddamasiko kyali kibuga kikulu nga kya byamaguzi nga kisangibwa wakati wa Misiri, Asiya ne Mesopotamiya., ku ŋŋamira amakumi ana. N’agenda n’ayimirira mu maaso ge, n’amugamba nti, “Mutabani wo Benikadadi kabaka w’e Busuuli antumye okukubuuza nti, ‘Ndiwona endwadde eno?’ ” 108:10 Is 38:1Erisa n’amuddamu nti, “Genda omutegeeze nti, ‘Ojja kuwona;’ naye Mukama akimbikulidde nti talirema kufa.” 118:11 a Bal 3:25 b Luk 19:41N’amutunuulira n’amaaso ag’enkaliriza, okutuusa Kazayeeri bwe yakwatibwa ensonyi, omusajja wa Katonda n’atandika okukaaba.

128:12 a 1Bk 19:17; 2Bk 10:32; 12:17; 13:3, 7 b Zab 137:9; Is 13:16; Kos 13:16; Nak 3:10; Luk 19:44 c Lub 34:29 d 2Bk 15:16; Am 1:13Kazayeeri n’abuuza nti, “Kiki ekikaabya mukama wange?” Erisa n’amuddamu nti, “Kubanga mmanyi obubi bw’olikola Abayisirayiri; olikuma omuliro ku bigo byabwe, n’otta abavubuka baabwe n’ekitala, n’osesebbulira abaana abato ku ttaka, era n’obaaga n’abakyala abali embuto.” 138:13 a 1Sa 17:43; 2Sa 3:8 b 1Bk 19:15Awo Kazayeeri n’addamu nti, “Nze ani omuddu wo, embwa obubwa, ayinza okukola ekintu ng’ekyo?” Erisa n’amuddamu nti, “Mukama akimbikulidde nti ggwe ogenda okubeera kabaka w’e Busuuli.” 14Awo n’ava mu maaso ga Erisa, n’addayo eri mukama we. Benikadadi n’amubuuza nti, “Erisa yakugambye ki?” Kazayeeri n’amuddamu nti, “Yaŋŋambye nti eky’amazima ojja kuwona.” 158:15 2Bk 1:17Naye olunaku olwaddirira, enkeera, n’addira ekiwero ekinene, n’akinnyika mu mazzi, n’akibikka ku maaso ga kabaka, okutuusa bwe yafa. N’oluvannyuma Kazayeeri n’alya obwakabaka mu kifo kye.

Yekolaamu, Kabaka wa Yuda

168:16 a 2Bk 1:17; 3:1 b 2By 21:1-4Mu mwaka ogwokutaano nga Yolaamu mutabani wa Akabu ye kabaka wa Isirayiri, Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati, kabaka wa Yuda, n’atandika okufuga Yuda. 17Yalina emyaka amakumi asatu mu ebiri, we yaliira obwakabaka, era n’afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi. 188:18 nny 26; 2Bk 11:1Yekolaamu n’atambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isirayiri ng’ab’ennyumba ya Akabu bwe baakola, n’okuwasa n’awasa omu ku bawala ba Akabu. N’akola ebibi mu maaso ga Mukama. 198:19 a Lub 6:13 b 2Sa 21:17; 7:13; 1Bk 11:36; Kub 21:23Naye Mukama n’atazikiriza Yuda, ku lwa Dawudi omuddu we, gwe yasuubiza nti alireka ettabaaza ye ng’eyaka n’okutuusa ku bazzukulu be emirembe gyonna.

208:20 1Bk 22:47Mu mirembe gya Yekolaamu, Edomu ne bajeemera obufuzi bwa Yuda, ne bassaawo kabaka owaabwe. 21Awo Yekolaamu8:21 Yekolaamu ye Yolaamu n’asomoka n’agenda e Zayiri n’amagaali ge, n’agolokoka mu kiro n’abaduumizi be ne batta Abayedomu abaali bamuzingizza, olwo eggye lye ne lidduka okuddayo ewaabwe. 228:22 a Lub 27:40 b Kbl 33:20; Yos 21:13; 2Bk 19:8Okuva mu kiseera ekyo Edomu n’ajeemera obufuzi bwa Yuda n’okutuusa ku lunaku lwa leero. Mu kiseera kye kimu ab’e Libuna nabo ne bajeema.

23Ebyafaayo ebirala ebyabaawo ku mulembe gwa Yekolaamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 24Yekolaamu n’afa n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Akaziya mutabani we n’amusikira.

Akaziya, Kabaka wa Yuda

258:25 2Bk 9:29Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri nga Yolaamu mutabani wa Akabu ye kabaka wa Isirayiri, Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda, n’atandika okufuga Yuda. 268:26 a nny 18 b 1Bk 16:23Akaziya yalina emyaka amakumi abiri mu ebiri we yaliira obwakabaka, n’afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina ye yali Asaliya8:26 Mukazi wa Yolaamu ye yali Asaliya, ate era nga muwala wa Akabu, muzzukulu wa Omuli kabaka wa Isirayiri. 278:27 a 1Bk 16:30 b 1Bk 15:26N’atambulira mu makubo ga b’ennyumba ya Akabu n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’ab’omu nnyumba ya Akabu bwe baakola, kubanga yali mukoddomi wa nnyumba ya Akabu.

288:28 Ma 4:43; 1Bk 22:3, 29Akaziya n’agenda ne Yolaamu mutabani wa Akabu okutabaala Kazayeeri kabaka w’e Busuuli e Lamosugireyaadi, era eyo Abasuuli ne bafumitirayo Yolaamu, n’afunirayo ebiwundu. 298:29 a 2Bk 9:15 b 1Bk 19:15, 17Awo kabaka Yolaamu n’addayo e Yezuleeri okumujjanjaba ebiwundu Abasuuli bye baamuleetako ng’ali e Lama, bwe yali ng’alwanagana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n’aserengeta e Yezuleeri okulaba ku Yolaamu mutabani wa Akabu, kubanga yali afumitiddwa ebiwundu.

Священное Писание

4 Царств 8:1-29

Возвращение земли шунемитянки

1Елисей сказал женщине, сына которой он воскресил:

– Уходи с семьёй и поселись, где сможешь, потому что Вечный навёл на страну голод, который будет длиться семь лет.

2Женщина собралась и сделала, как сказал пророк. Вместе с семьёй она ушла и семь лет жила в земле филистимлян. 3Через семь лет она вернулась из земли филистимлян и пошла к царю просить о своём доме и о земле. 4А царь в то время беседовал с Гехази, слугой пророка, и сказал:

– Расскажи мне о великих делах, которые совершил Елисей.

5Как раз, когда Гехази рассказывал царю о том, как Елисей воскресил мёртвого, женщина, чьего сына Елисей воскресил, пришла просить царя о своём доме и о земле. Гехази сказал:

– Вот это и есть та женщина, господин мой царь, а это её сын, которого воскресил Елисей.

6Царь расспросил женщину, и она рассказала ему всё. Тогда он поручил чиновнику рассмотреть её дело, сказав ему:

– Верни ей всё, что у неё было, а также все доходы от её земли, что были получены с того дня, как она покинула страну, до этого дня.

Предсказание Елисея об убийстве Бен-Адада

7Елисей пришёл в Дамаск, когда Бен-Адад, царь Сирии, был болен. Когда царю доложили, что пришёл пророк, 8он сказал Хазаилу:

– Возьми с собой подарок и иди встречать пророка. Спроси через него Вечного, выздоровею ли я от этой болезни.

9Хазаил пошёл встречать Елисея, взяв с собой в дар лучших товаров Дамаска на сорок верблюжьих поклаж. Он пришёл, встал перед ним и сказал:

– Твой сын Бен-Адад, царь Сирии, послал меня спросить: «Выздоровею ли я от этой болезни?»

10Елисей сказал:

– Иди и скажи ему: «Ты обязательно выздоровеешь», но Вечный открыл мне, что на самом деле он умрёт.

11Елисей смотрел на Хазаила не отрываясь, пока Хазаил не смутился. Тогда пророк заплакал.

12– Почему мой господин плачет? – спросил Хазаил.

– Потому что я знаю, какое зло ты причинишь исраильтянам, – ответил он. – Ты сожжёшь их крепости, юношей их убьёшь мечом, разобьёшь их младенцев о землю и порубишь их беременных женщин.

13Хазаил сказал:

– Как твой раб, который лишь пёс, сможет совершить такое дело?

– Вечный открыл мне, что ты станешь царём Сирии, – ответил Елисей8:13 Здесь Елисей произносит пророчество, которое ранее было открыто Всевышним Ильясу (см. 3 Цар. 19:15-17)..

14Тогда Хазаил ушёл от Елисея и вернулся к своему господину.

Бен-Адад спросил его:

– Что сказал тебе Елисей?

Хазаил ответил:

– Он сказал мне, что ты непременно выздоровеешь.

15Но на другой день он взял одеяло, намочил его водой и накрыл им лицо царя, и тот умер. А Хазаил стал царём вместо него.

Иорам – царь Иудеи

(2 Лет. 21:5-10, 20)

16На пятом году правления исраильского царя Иорама, сына Ахава, когда Иосафат ещё был царём Иудеи, в Иудее начал царствовать Иорам, сын Иосафата. 17Ему было тридцать два года, когда он стал царём, и правил он в Иерусалиме восемь лет. 18Он ходил путями царей Исраила, по примеру дома Ахава, потому что женился на дочери Ахава. Он делал зло в глазах Вечного. 19Но ради Своего раба Давуда Вечный не хотел погубить Иудею. Он обещал сохранить царство8:19 Букв.: «дать светильник». для него и для его потомков навеки.

20Во времена Иорама Эдом восстал против власти Иудеи и поставил себе своего царя. 21Тогда Иорам пошёл в город Цаир со всеми своими колесницами. Эдомитяне окружили его и начальников над его колесницами. Ночью он встал и пробился через кольцо врагов, а его войско бежало домой. 22И до сих пор Эдом не покорён власти Иудеи. Ливна восстала в то же самое время.

23Прочие события царствования Иорама и всё, что он сделал, записано в «Книге летописей царей Иудеи». 24Иорам упокоился со своими предками и был похоронен с ними в Городе Давуда. И царём вместо него стал его сын Охозия.

Охозия – царь Иудеи

(2 Лет. 22:1-6)

25На двенадцатом году правления исраильского царя Иорама, сына Ахава, над Иудеей начал царствовать Охозия, сын Иорама. 26Охозии было двадцать два года, когда он стал царём, и правил он в Иерусалиме один год. Его мать звали Аталия, она была внучкой Омри, царя Исраила. 27И так как Охозия был в родстве с домом Ахава8:27 Аталия, мать Охозии, была дочерью Ахава (см. ст. 18)., то он и ходил их путями и делал зло в глазах Вечного по примеру дома Ахава.

28Охозия ходил с Иорамом, сыном Ахава, воевать против Хазаила, царя Сирии, под Рамот Галаадский. Сирийцы ранили Иорама, 29и тот вернулся в Изреель, чтобы оправиться от ран, нанесённых ему сирийцами при Рамоте в битве с Хазаилом, царём Сирии. Тогда иудейский царь Охозия, сын Иорама, отправился в Изреель навестить Иорама, сына Ахава, потому что тот был ранен.