2 Bassekabaka 7 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 7:1-20

17:1 nny 16Naye Erisa n’agamba nti, “Muwulire ekigambo kya Mukama, kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, Jjo obudde nga buno ekigero ky’obutta obulungi ekyenkana lita omusanvu ne desimoolo ssatu kiritundibwa gulaamu kkumi n’emu, n’ebigero bibiri ebya sayiri bitundibwe gulaamu kkumi n’emu ebweru wa wankaaki w’e Samaliya.”

27:2 a 2Bk 5:18 b nny 19; Lub 7:11; Zab 78:23; Mal 3:10 c Lub 7:17Awo omukungu kabaka gwe yeesigamangako n’agamba omusajja wa Katonda nti, “Mukama ne bw’anakuba ebituli mu ggulu, ekyo tekiyinzika kubaawo.” Erisa n’amuddamu nti, “Ekyo olikiraba n’amaaso go, naye tolibaako na kimu ky’olyako ku byo.”

Abasuuli Badduka

37:3 Lv 13:45-46; Kbl 5:1-4Waaliwo abasajja bana abaagengewala7:3 Abagenge baali tebateekwa kuliraana muntu yenna okuggyako bagenge bannaabwe (Lv 13:46) abaabeeranga ku mulyango gwa wankaaki w’ekibuga. Ne bagambagana bokka ne bokka nti, “Kiki ekitutuuza wano okutuusa okufa? 4Bwe tunaagamba nti, ‘Tuyingire mu kibuga,’ enjala gy’eri, era tunaafiirayo; ate bwe tusigala wano, era nawo tujja kufiirawo. Noolwekyo tulage mu nkambi y’Abasuuli, bwe banaatusaasira, tunaaba balamu, bwe banaatutta, kale kinaaba bwe kityo.”

5Awo ekiro mu ttumbi ne bagolokoka ne balaga mu lusiisira lw’Abasuuli. Naye bwe baatuuka mu kitundu ekisembayo eky’olusiisira, tewaali muntu n’omu. 67:6 a Kuv 14:24; 2Sa 5:24; Ez 1:24 b 2Sa 10:6; Yer 46:21 c Kbl 13:29Mukama yalowozesa eggye ly’Abasuuli nti kabaka wa Isirayiri yali apangisizza bakabaka b’Abakiiti n’ab’Abamisiri okujja okumulwanirira, bwe lyawulira eddoboozi ly’amagaali n’eddoboozi ly’embalaasi. 77:7 Bal 7:21; Zab 48:4-6; Nge 28:1; Is 30:17Ne bagolokoka ne badduka okuva mu nkambi yaabwe amatumbibudde ne baleka awo eweema zaabwe, n’embalaasi zaabwe n’endogoyi zaabwe, ne badduka okuwonya obulamu bwabwe.

87:8 Is 33:23; 35:6Abagenge bwe baatuuka ku nkambi w’ekoma, ne bayingira mu emu ku weema, ne balya ne banywa era ne beetikka n’effeeza ne zaabu n’engoye, ne bagenda ne babikweka. N’oluvannyuma ne bakomawo, ne bayingira mu weema endala, ne baggyayo ebyalimu, ne bagenda ne babikweka nabyo.

9Awo ne bagambagana nti, “Kye tukola si kituufu. Luno olunaku lwa bigambo birungi; bwe tunaasirika ne tulinda okutuusa enkya, tujja kubonerezebwa. Noolwekyo tugende tutegeeze ab’omu nju ya kabaka.”

10Awo ne bagenda ne bakoowoola abakuumi ba wankaaki w’ekibuga, ne boogera nti, “Twalaze mu nkambi y’Abasuuli ne tutasangayo muntu n’omu okuggyako embalaasi nga zisibiddwa, n’endogoyi nga zisibiddwa, n’eweema nga ziri nga bwe baazirese.” 11Abakuumi ne balangirira amawulire ago, n’ab’omu lubiri ne bakiwulira.

127:12 Yos 8:4; 2Bk 6:25-29Kabaka n’agolokoka mu kiro ekyo, n’agamba abakungu be nti, “Ka mbategeeze Abasuuli kye bategese okutukola. Bamanyi nga tuli bayala; era bavudde mu nkambi yaabwe ne bagenda okwekweka ku ttale, nga balowooza nti, ‘Mazima ddala bajja kuvaayo, n’oluvannyuma tunaabawamba nga balamu, tulyoke tuyingire mu kibuga.’ ”

13Awo omu ku bakungu be n’aleeta ekirowoozo nti, “Ffuna abasajja bagende n’embalaasi ttaano ku ezo ezisigaddewo, kubanga bali ng’ekibiina kyonna ekya Isirayiri ekisigaddewo; baliba ng’ekibiina kyonna ekya Isirayiri ekimaliddwawo. Ka tubasindikeyo bagende balabe ekiriyo.”

14Awo ne balonda abeebagala embalaasi babiri n’embalaasi zaabwe, kabaka n’abatuma okuwondera eggye ly’Abasuuli, ng’abagamba nti, “Mugende mulabe.” 15Ne babawondera okutuukira ddala ku Yoludaani, ne basanga ng’ekkubo lyonna lijjudde engoye n’ebintu ebirala Abasuuli bye baasuula nga badduka. Awo ababaka ne bakomawo eri kabaka ne bamutegeeza bye baalaba.

Okunyaga mu Nkambi y’Abasuuli

167:16 a Is 33:4, 23 b nny 1Awo abantu ne bafuluma, ne bakaliza olusiisira lw’Abasuuli. Ekigero ky’obutta obulungi ekyenkana lita musanvu ne desimoolo ssatu ne kitundibwa gulaamu kkumi n’emu, n’ebigero bibiri ebya sayiri ne bitundibwa gulaamu kkumi n’emu, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.

177:17 nny 2; 2Bk 6:32Kabaka yali alonze omukungu we oli gwe yeesigamangako, okuvunaanyizibwa wankaaki, abantu ne bamulinnyiririra mu mulyango, n’afa, ng’omusajja wa Katonda bwe yayogera, mu kiseera kabaka bwe yalaga ewuwe. 18Bwe kityo bwe kyali kubanga omusajja wa Katonda bwe yagamba kabaka nti, “Jjo essaawa nga zino ebigero bibiri ebya sayiri biritundibwa gulaamu kkumi n’emu, n’ekigero ky’obutta obulungi ne kitundibwa gulaamu kkumi n’emu, mu wankaaki ya Samaliya,” 197:19 nny 2omukungu oyo, yaddamu omusajja wa Katonda nti, “Laba, Mukama ne bwaggulawo ebituli eby’omu ggulu, tekiyinzika kubaawo.” Omusajja wa Katonda n’amugamba nti, “Olikiraba n’amaaso go, naye toliryako na kimu.” 20Era bwe kityo bwe kyali ekyamutuukako, abantu bwe bamulinnyiririra mu wankaaki, n’afa.