2 Bassekabaka 4 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 4:1-44

Nnamwandu n’Akasumbi ak’Amafuta

14:1 a 1Sa 10:5; 2Bk 2:3 b Kuv 22:26; Lv 25:39-43; Nek 5:3-5; Yob 22:6; 24:9Awo olwatuuka ne wabaawo nnamwandu, eyali afumbiddwa omu ku abo abaali mu kibiina kya bannabbi, n’agenda eri Erisa ng’akaaba n’amugamba nti, “Omuddu wo, baze yafa, era omanyi nga omuddu wo yatyanga Mukama. Naye kaakano eyali amubanja azze, ng’ayagala okutwala batabani bange okubafuula abaddu be.” 24:2 1Bk 17:12Erisa n’amuddamu nti, “Oyagala nkuyambe ntya? Ntegeeza, olina ki mu nnyumba?” N’amugamba nti, “Omuweereza wo ky’alinawo kyokka mu nnyumba twe tufuta4:2 Mu bitundu ebyo, amafuta ag’omuzeeyituuni gaali geetagibwa mu kufumba buli mmere. Ate era gaayambanga okukuuma omubiri gwonna nga mulamu bulungi. otutono ennyo.” 3Erisa n’amugamba nti, “Genda mu baliraanwa bo bonna obeeyazikeko ebintu ebyereere, nga bingi ddala. 4Oyingire mu nnyumba yo weggaliremu ggwe ne batabani bo, ottululire amafuta mu bintu ebyo byonna, ng’ekijjula ky’ossa wa bbali.”

5Bwe yava waali n’addayo eka ne yeggalira mu nnyumba ye n’abaana be. Ne bamuleetera ebita nga ye bw’attulula. 6Ebintu byonna ebyali awo bwe byajjula, n’agamba omu ku batabani be nti, “Ndeetera ekintu ekirala.” Naye n’amuddamu nti, “Biweddeyo.”

Awo amafuta ne gakoma.

74:7 1Bk 12:22Amangwago nnamwandu n’addayo ew’omusajja wa Katonda. Omusajja wa Katonda n’amugamba nti, “Genda otunde amafuta ago, osasule amabanja go, ebinaafikkawo bikuliisenga ggwe ne batabani bo.”

Mutabani w’Omusunammu Azuukizibwa

84:8 Yos 19:18Awo olwatuuka Erisa n’agenda e Sunemu. Mu Sunemu mwalimu omukazi nnaggagga, eyamwegayirira alye ku mmere ey’omu nnyumba ye. Awo olwatuuka, buli lwe yayitangawo, n’akyamira eyo okulya ku mmere. 9Omukazi n’agamba bba nti, “Laba kimbikkuliddwa nti oyo musajja wa Katonda, atera okuyitira wano. 104:10 Mat 10:41; Bar 12:13Kale nno katumutegekere ekisenge waggulu, tumuteekereyo ekitanda n’emmeeza, n’entebe, n’ettabaaza by’anaakozesanga ng’azze okutukyalira.”

11Lumu, Erisa n’akyalayo, n’agenda mu kisenge kye, n’awummulirako eyo. 124:12 2Bk 8:1N’agamba omuweereza we Gekazi nti, “Yita Omusunammu oyo.” N’amuyita, n’ajja n’ayimirira mu maaso ge. 13Erisa n’agamba Gekazi nti, “Mugambe nti, ‘Otulabiridde bulungi nnyo. Kaakano kiki kyewandyagadde kikukolerwe? Wandyagadde tukwogerere eri Kabaka oba ew’omuduumizi w’eggye ku nsonga yonna?’ ”

N’amuddamu nti, “Mbeera mu bantu bange.”

14Erisa n’abuuza Gekazi nti, “Kiki ekiba kimukolerwa?” Gekazi n’addamu nti, “Laba talina mwana, ate ng’akaddiye.” 15Erisa n’amugamba nti, “Muyite.” Bwe yamuyita, n’ajja n’ayimirira mu mulyango. 164:16 Lub 18:10Erisa n’amugamba nti, “Omwaka ogujja, mu biro ng’ebya kaakano oliwambaatira omwana owoobulenzi.”

Omukyala n’amuddamu nti, “Nedda mukama wange, tolimba muweereza wo, ayi omusajja wa Katonda.”

17Naye oluvannyuma omukazi n’aba olubuto, era omwaka ogwaddirira mu biro bye bimu, n’azaala omwana wabulenzi, nga Erisa bwe yali amugambye.

184:18 Lus 2:3Omwana n’akula, naye olunaku lumu n’addukira ewa kitaawe eyali mu nnimiro n’abakunguzi. 19N’amutegeeza nti, “Omutwe gunnuma, omutwe gunnuma!”

Kitaawe n’agamba omu ku baddu be nti, “Mutwalire maama we.”

20Awo omuddu n’amusitula n’amutwala eri nnyina, omwana n’atuula ku mubiri gwa nnyina okutuusa essaawa ey’omu ttuntu n’oluvannyuma n’afa. 214:21 nny 32Nnyina n’asitula omulambo gwe, n’agutwala waggulu n’aguteeka ku kitanda eky’omusajja wa Katonda, n’afuluma, n’aggalawo oluggi.

22N’atumira bba ng’agamba nti, “Mpayo omuddu omu n’endogoyi emu ŋŋende mangu ew’omusajja wa Katonda, nkomewo.”

234:23 Kbl 10:10; 1By 23:31; Zab 81:3N’amubuuza nti, “Kiki ekikutwala gy’ali leero? Si lunaku lwa mwezi ogwakaboneka wadde olwa Ssabbiiti.” Omukazi n’amuddamu nti, “Teweeraliikirira, kiri bulungi.” 24Ne yeebagala endogoyi, n’agamba omuddu we nti, “Ggwe kulemberamu, totta ku bigere wabula nga nkugambye.” 254:25 1Bk 18:20; 2Bk 2:25Ne basitula, n’agenda eri omusajja wa Katonda ku Lusozi Kalumeeri4:25 Olusozi Kalumeeri lwali nga kilomita amakumi asatu okuva e Sunamu.. Omusajja wa Katonda bwe yamuleengera ng’akyali walako, n’agamba omuddu we Gekazi nti, “Laba, Omusunammu wuuli! 26Dduka omusisinkane omubuuze nti, ‘Oli bulungi ne balo ali bulungi? Ate omwana?’ ”

Omukazi n’amuddamu nti, “Kiri bulungi.”

274:27 1Sa 1:15Bwe yatuuka okumpi n’olusozi awaali omusajja wa Katonda, n’agwa wansi ne yeenyweza ku bigere by’omusajja wa Katonda. Amangwago Gekazi n’ajja ng’ayagala okumugobawo, naye omusajja wa Katonda n’amugamba nti, “Muleke! Kubanga ali mu nnaku nnyingi nnyo, ate nga Mukama tannambikkulira nsonga, wadde okugintegeeza.” 28Omukazi n’alyoka ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Nakusaba omwana, mukama wange? Saakugamba obutansuubiza ekisukkiridde?” 294:29 a 1Bk 18:46; 2Bk 2:8, 14; 9:1 b Kuv 4:2; 7:19; 14:16Erisa n’agamba Gekazi nti, “Weesibe ekimyu, okwate omuggo gwange otambule mangu nnyo nga bw’osobola. Bw’onoosisinkana omuntu yenna mu kkubo tomulamusa, ate bw’akulamusa tomwanukula. Ddira omuggo gwange ogugalamize ku kyenyi ky’omwana.” 30Naye nnyina w’omwana n’agamba nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu, era nga naawe bw’oli omulamu, sijja kukuleka mabega.” Erisa n’asituka n’amugoberera. 31Gekazi ye n’abakulemberamu, n’agenda n’ateeka omuggo ku kyenyi ky’omulenzi, naye ne wataba kanyego newaakubadde okuddamu. Amangwago Gekazi n’addayo n’asisinkana Erisa, n’amutegeeza nti, “Omwana tagolokose.”

324:32 nny 21Awo Erisa n’atuuka ku nnyumba, n’agenda butereevu mu kisenge gye yasanga omulambo gw’omwana nga gugalamiziddwa ku kitanda kye. 334:33 1Bk 17:20; Mat 6:6N’ayingira ekisenge, ne yeggalirayo, n’atandika okusaba Mukama. 344:34 1Bk 17:21; Bik 20:10N’alinnya waggulu ku kitanda n’agalamira ku mulambo, omumwa ku mumwa, amaaso ku maaso, n’emikono ku mikono eby’omulambo. Mu kiseera ekyo ng’akyagugalamiddeko ne gutandika okubuguumirira. 354:35 a Yos 6:15 b 2Bk 8:5Erisa n’ayimuka, n’atambulatambula mu kisenge, n’oluvannyuma n’addamu n’agalamira ku mulambo. Omulenzi n’ayasimula emirundi musanvu, omulenzi n’azibula amaaso ge.

364:36 Beb 11:35Awo Erisa n’ayita Gekazi n’amugamba nti, “Yita Omusunammu oyo.” N’amuyita. Omusunammu bwe yajja n’amugamba nti, “Situla omwana wo.” 37Omukazi n’ayingira, n’avuunama ku bigere bya Erisa, n’asitula omwana we n’afuluma.

Erisa n’Enva Ezirimu Obutwa

384:38 a 2Bk 2:1 b Lv 26:26; 2Bk 8:1Oluvannyuma, Erisa ng’azeeyo e Girugaali, ate nga mu kiseera kye kimu enjala egudde mu nsi, ekibiina kya bannabbi ne bakuŋŋaanira ewuwe. N’agamba omuweereza we nti, “Abaana ba bannabbi bafumbireyo enva mu ntamu ennene.” 39Omu ku bo n’alaga mu nnimiro n’anoga amaboga, n’alaba n’omuzabbibu ogw’omu nsiko4:39 Ekimera ekyo kyefaananyiriza omuboga era ekibala kyakyo kyenkana omucungwa mu bunene. Ekibala ekyo kikaayirira nnyo., n’anoga ku bibala byagwo ebiwera, n’assa mu lugoye lwe. N’addayo n’abisalirasalira mu ntamu ey’enva. Teyamanya nga bye yanoga birimu akabi. 40Buli muntu ne bamusenera ku nva; naye bwe baaziryako, ne bayogerera waggulu nti, “Omusajja wa Katonda mu ntamu mulimu okufa.” Ne batazirya.

414:41 Kuv 15:25; 2Bk 2:21Erisa n’agamba nti, “Mundeetereyo obuwunga.” Ne babumuleetera n’abuteeka mu ntamu y’enva, n’abagamba nti, “Mugabule abantu balye.” Ne wataba kabi mu ntamu y’enva.

Erisa Agabula Abantu Ekikumi

424:42 a 1Sa 9:4 b Mat 14:17; 15:36 c 1Sa 9:7Waaliwo omusajja eyava e Baalusalisa, n’aleetera omusajja wa Katonda emigaati egya sayiri kumi n’ebiri nga mmere ey’okubibala ebibereberye, ate era n’amuleetera n’ebirimba eby’eŋŋaano embisi. Erisa n’agamba omuweereza we nti, “Bigabire abantu babirye.”

434:43 a Luk 9:13 b Mat 14:20; Yk 6:12Omuweereza we n’amuddamu nti, “Bino mbigabula ntya abantu ekikumi?” 44Naye Erisa n’amuddamu nti, “Bigabire abantu babirye, kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Banaalya ne bibalemeranawo.’ ” N’abibagabula, ne balya, ne bibalemeranawo, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.