125:1 a Yer 34:1-7 b Ez 24:2Awo Zeddekiya nga yakafugira emyaka mwenda, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’eggye lye lyonna ne balumba Yerusaalemi ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi; ne basiisira ebweru waakyo, ne bakizimbako ebigo okukyetooloola. 2Awo ekibuga ne kizingizibwa okumala emyaka ebiri nga Zeddekiya y’akyali kabaka. 325:3 Yer 14:18; Kgb 4:9Ku lunaku olw’omwenda mu mwezi ogwokuna enjala n’eba nnyingi nnyo mu kibuga, abantu ab’omu nsi ne babulwako n’emmere ey’okulya. 425:4 a Ez 33:21 b Yer 4:17Awo kabaka n’eggye lye lyonna abaali mu kibuga ne bawagula mu bbugwe ekituli, ekiro, ne badduka nga bayita mu mulyango ogwaliraananga ennimiro ya kabaka ne bayita ne ku Bakaludaaya abaali bazingizza ekibuga enjuuyi zonna. 525:5 Ez 12:14Naye eggye ly’Abakaludaaya ne bagoberera kabaka, okutuusa lwe bamukwatira mu nsenyi ez’e Yeriko n’eggye lye lyonna ne lisaasaana okumwabulira. 625:6 a Yer 34:21-22 b 2Bk 23:33Ne bawamba kabaka, ne bamuleeta eri kabaka w’e Babulooni e Libula gye yasalirwa omusango. 725:7 Yer 21:7; 32:4-5; Ez 12:11Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ne bamuggyamu amaaso, ne bamuteeka mu masamba, n’atwalibwa e Babulooni.
Yerusaalemi ne Yeekaalu bisaanyizibwawo
8Awo ku lunaku olw’omusanvu mu mwezi ogwokutaano mu mwaka ogw’ekkumi n’omwenda ogw’obwakabaka bwa Nebukadduneeza, kabaka w’e Babulooni, Nebuzaladaani omuduumizi ow’eggye lya kabaka ery’oku ntikko, ate nga mwami wa kabaka w’e Babulooni n’ajja mu Yerusaalemi. 925:9 a Is 60:7 b Zab 74:3-8; Yer 2:15; Am 2:5; Mi 3:12N’ayokya yeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwa kabaka, n’ennyumba zonna na buli kizimbe ekikulu era nga kya muwendo mu Yerusaalemi. 1025:10 Nek 1:3Awo eggye lyonna ery’Abakaludaaya nga bakulemberwa omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko, ne bamenya bbugwe wa Yerusaalemi. 1125:11 a 2Bk 24:14 b 2Bk 24:1Nebuzaladaani omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’atwala abantu bonna abaali basigaddewo mu kibuga, mu buwaŋŋanguse nga basibe, n’abaali baasenga kabaka w’e Babulooni, n’abalala bonna abaali mu kibuga. 1225:12 2Bk 24:14Wabula yalekamu abaali basemberayo ddala obwavu mu nsi eyo, okulabiriranga emizabbibu n’okulimanga.
13Abakaludaaya ne bamenyaamenya empagi ez’ebikomo n’ebyuma ebyawaniriranga ennyanja ey’ekikomo, n’ennyanja ey’ekikomo, ebyali mu yeekaalu ya Mukama, n’ebikomo byamu ne babitwala e Babulooni. 1425:14 Kuv 27:3; 1Bk 7:47-50Era baatwala n’entamu, n’ebisena, n’ebisalako ebisirinza, n’ebijiiko n’ebintu byonna eby’ekikomo ebyakozesebwanga mu yeekaalu. 15Omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’atwala n’ebyoterezo wamu n’ebibya ebyali ebya zaabu n’ebyali ebya ffeeza.
16Ekikomo ekyava mu mpagi ebbiri, ne mu nnyanja, ne mu byuma ebyawaniriranga ennyanja ey’ekikomo, Sulemaani bye yakolera yeekaalu ya Mukama, obuzito bwakyo nga tebumanyiddwa. 1725:17 1Bk 7:15-22Buli mpagi obugulumivu yali mita munaana ne desimoolo emu ne ku mutwe gwayo nga kuliko ekikomo ng’obugulumivu bwakyo mita emu ne desimoolo ssatu, nga kitoneddwatoneddwa n’ebifaananyi n’amakomamawanga ag’ekikomo okukyetooloola. N’empagi eyookubiri yali ekoleddwa mu ngeri y’emu.
1825:18 a 1By 6:14; Ezr 7:1; Nek 11:11 b Yer 21:1; 29:25Omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’atwala nga basibe: Seraya kabona Asinga obukulu, n’omumyuka we Zeffaniya, n’abaggazi abasatu. 19Era yatwala n’omukungu eyaduumiranga abasajja abalwanyi, n’abakungu abalala bataano abatuulanga ku lukiiko lwa kabaka; era n’atwala n’omuwandiisi omukulu eyavunaanyizibwanga okuyingizanga abantu mu magye mu nsi ya Yuda, n’abasajja abannansi nkaaga abaasangibwa mu kibuga. 20Abo bonna Nebuzaladaani omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’abatwalira kabaka w’e Babulooni e Libula. 2125:21 Lub 12:7; Ma 28:64; Yos 23:13; 2Bk 23:27Kabaka w’e Babulooni n’abattira eyo e Libula, mu nsi y’e Kamasi.
Bw’atyo Yuda n’atwalibwa mu buwaŋŋanguse nga musibe, okuva mu nsi ye.
2225:22 Yer 39:14; 40:5, 7Awo Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alonda Gedaliya mutabani wa Akikamu, muzzukulu wa Safani okuba omukulembeze w’abo abaali basigaddewo mu Yuda. 23Awo abakungu ab’eggye n’abasajja abalala bwe baawulira nga kabaka w’e Babulooni alonze Gedaliya okuba omukulembeze, ne bagenda eri Gedaliya e Mizupa. Abasajja abakungu abo baali Isimayiri mutabani wa Nesaniya, ne Yokanaani mutabani wa Kaleya, ne Seraya mutabani wa Tanukumesi Omunetofa, ne Yaazaniya mutabani w’Omumaakasi. 24Gedaliya n’abalayirira bo n’abasajja baabwe n’abagamba nti, “Temutya bakungu Bakaludaaya, naye mutereere mu nsi muweereze kabaka w’e Babulooni kale ebintu byonna binaabagendera bulungi.”
25Naye mu mwezi ogw’omusanvu, Isimayiri mutabani wa Nesaniya, muzzukulu wa Erisaama ow’olulyo olulangira n’ajja n’abasajja kkumi, n’alumba Gedaliya era n’amutta, awamu n’Abayudaaya; n’Abakaludaaya abaali awamu naye e Mizupa nabo n’abatta. 2625:26 Is 30:2; Yer 43:7Awo abantu bonna okuviira ddala ku wawansi okutuukira ddala ku w’eddaala erya waggulu, n’abamaggye abakulu bonna, ne baddukira e Misiri, nga batidde Abakaludaaya.
Yekoyakini Ateebwa
27Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda nga yakamala emyaka amakumi asatu mu musanvu mu buwaŋŋanguse mu busibe, nga Evirumerodaki kyajje afuuke kabaka w’e Babulooni, Evirumerodaki n’ata Yekoyakini kabaka wa Yuda okuva mu kkomera ku lunaku olw’amakumi abiri mu omusanvu mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri. 2825:28 Ezr 5:5; Nek 2:1N’ayogera naye ebigambo ebyekisa, n’amuwa n’ekitiibwa ekya waggulu okusinga ne bakabaka abalala abaali awamu naye mu buwaŋŋanguse mu busibe e Babulooni. 2925:29 2Sa 9:7Awo Yekoyakini n’aggyamu ebyambalo bye eby’ekkomera n’aliiranga wamu ne kabaka w’e Babulooni ku mmeeza ya kabaka ennaku zonna ez’obulamu bwe. 3025:30 Es 2:9; Yer 28:4Kabaka n’awanga Yekoyakini omugabo ogwa buli lunaku ennaku zonna ez’obulamu bwe.
1西底迦执政第九年十月十日,巴比伦王尼布甲尼撒率领全军攻打耶路撒冷,在城外安营,修筑围城的高台。 2城一直被围困到西底迦执政第十一年。 3那年四月九日,城里饥荒非常严重,百姓无粮可吃。 4城被攻破,城里的所有士兵便在夜间穿过御花园,从两城墙中间的门逃往亚拉巴。当时迦勒底人仍四面包围着城。 5迦勒底军队追赶西底迦,在耶利哥平原追上了他,他的军队都四散而逃。 6迦勒底人擒住西底迦,把他押到利比拉见巴比伦王,在那里审判他。 7巴比伦王在西底迦面前杀了他的众子,又剜去他的双眼,把他用铜链锁着押往巴比伦。
圣殿被毁
8巴比伦王尼布甲尼撒执政第十九年五月七日,他的臣仆——护卫长尼布撒拉旦来到耶路撒冷, 9放火焚烧耶和华的殿、王宫及城内所有的房屋。他烧毁了所有重要建筑。 10他率领的迦勒底军队拆毁了耶路撒冷四围的城墙。 11护卫长尼布撒拉旦掳去城里剩下的百姓、投降巴比伦王的人以及其他人, 12只留下一些最贫穷的人,让他们照料葡萄园、耕种田地。
13迦勒底人打碎耶和华殿中的铜柱、盆座和铜海,把铜运往巴比伦, 14并带走了盆、铲、蜡剪、碟子及一切献祭用的铜器。 15护卫长还带走了火鼎、碗等一切金银器具。
16所罗门为耶和华的殿所造的两根铜柱、一个铜海和一些盆座,用的铜多得无法计算。 17铜柱高八米,柱顶有柱冠,高一点三五米。柱冠周围装饰着铜网和铜石榴。两根柱子都一样。
18护卫长尼布撒拉旦掳走祭司长西莱雅、副祭司长西番亚和三名殿门守卫, 19还从城中拿住一名统管士兵的将领、王的五个亲信、一名负责招兵的书记和六十名平民。 20护卫长尼布撒拉旦把他们带到利比拉去见巴比伦王, 21巴比伦王在那里处死了他们。犹大人就这样被掳去,离开了家园。
基大利做犹大省长
22巴比伦王尼布甲尼撒任命基大利治理犹大的余民。基大利是沙番的孙子、亚希甘的儿子。 23犹大众将领和他们的下属听到巴比伦王委任基大利治理犹大的消息后,便都到米斯巴见基大利。他们是尼探雅的儿子以实玛利、加利亚的儿子约哈难、尼陀法人单户篾的儿子西莱雅、玛迦人雅撒尼亚。 24基大利向他们和他们的下属发誓,说:“你们不用害怕那些迦勒底官员。你们住在这地方服侍巴比伦王,就会平安无事。” 25七月,王室后裔以利沙玛的孙子、尼探雅的儿子以实玛利带着十个人在米斯巴刺杀了基大利以及跟他一起的犹大人和迦勒底人。 26因为害怕迦勒底人报复,犹大众人不论贵贱,都和众将领一起逃往埃及。
约雅斤获释
27巴比伦王以未·米罗达在他执政的元年十二月二十七日,即犹大王约雅斤被掳后第三十七年,施恩释放了约雅斤, 28并好言相待,使他的地位高过被掳到巴比伦的其他各王。 29约雅斤脱去了囚衣,终生与巴比伦王一起吃饭。 30在他有生之年,巴比伦王供应他每天的需用。