2 Bassekabaka 19 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 19:1-37

Okulokolebwa Kwa Yerusaalemi Kutegeezebwa

119:1 Lub 37:34; 1Bk 21:27; 2By 32:20-22Kabaka Keezeekiya olwawulira ebyo byonna, n’ayuza ebyambalo bye, n’ayambala ebibukutu, n’alaga mu yeekaalu ya Mukama. 219:2 Is 1:1N’atuma Eriyakimu eyali ssabakaaki, ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona ab’oku ntikko, nga bonna bambadde ebibukutu, okugenda eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi. 3Ne bamugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Keezeekiya nti Leero lunaku lwa buyinike, era lwa kunenyezebwa, era lwa kuswazibwa, ng’abaana bwe batuuka okuzaalibwa, naye ne wataba maanyi ga ku bazaala. 419:4 a 2Bk 18:35 b 2Sa 16:12Kiyinzika okuba nga Mukama Katonda wo yawulidde obubaka bwonna obwa Labusake, mukama we kabaka w’e Bwasuli bwe yaweereza ng’anyooma Katonda omulamu, era nti amunenye olw’ebigambo byonna Mukama Katonda wo by’awulidde. Noolwekyo ssabira ekitundu ekikyasigaddewo.”

5Awo abakungu ba Kabaka Keezeekiya bwe baatuuka eri Isaaya, 619:6 2Bk 18:25Isaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ebigambo by’owulidde, abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa. 719:7 nny 37Wuliriza! Nzija kumuteekamu omwoyo, awulire olugambo ku bikwata ku nsi ye addeyo mu nsi ye, era gye ndimuzikiririza n’ekitala.’ ”

819:8 2Bk 18:14Labusake bwe yawulira nti kabaka w’e Bwasuli avudde mu Lakisi, n’avaayo, n’asanga kabaka ng’alwana ne Libuna.

9Awo Sennakeribu n’afuna obubaka obukwata ku Tiraka kabaka w’e Esiyopya nti, “Laba amaliridde okulwana naawe,” era n’addamu n’atuma ababaka eri Keezeekiya ng’agamba nti, 1019:10 a 2Bk 18:5 b 2Bk 18:29“Bwe muti bwe munagamba Keezeekiya kabaka wa Yuda nti, ‘Tokkiriza Katonda wo gwe weesiga kukulimbalimba ng’akusuubiza nti Yerusaalemi teriweebwayo mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’ 11Ekyamazima wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye bakoze amawanga gonna, nga bagasaanyizaawo ddala. Olowooza nti olirokolebwa? 1219:12 a 2Bk 18:33 b 2Bk 17:6 c Lub 11:31Bakatonda baamawanga ag’e Gozani, n’e Kalani, n’e Lezefu, n’abantu ba Adeni abaali mu Terasali, abasaanyizibwawo bajjajjange, babalokola? 1319:13 2Bk 18:34Kabaka w’e Kamasi, kabaka w’e Alupadi, kabaka w’ekibuga kya Sefavayimu, oba kabaka w’e Kena oba kabaka w’e Yiva, bali ludda wa?”

Okusaba kwa Keezeekiya

14Keezeekiya n’afuna ebbaluwa eyaleetebwa ababaka, n’agisoma. N’ayambuka n’agenda mu yeekaalu ya Mukama, n’agyanjuluza mu maaso ga Mukama. 1519:15 Kuv 25:22Keezeekiya n’asaba eri Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, atuula waggulu ku bakerubi, ggwe wekka, ggwe Katonda ow’obwakabaka bwonna obw’ensi, era ggwe wakola eggulu n’ensi. 1619:16 a Zab 31:2 b 1Bk 8:29 c nny 4; 2By 6:40Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire; ozibule amaaso go Ayi Mukama, olabe; owulire ebigambo bya Sennakeribu, byayogedde ng’avvoola Katonda omulamu.

17“Kya mazima, Ayi Mukama, nti bakabaka b’e Bwasuli baazikiriza amawanga n’ensi zaabwe, 1819:18 a Is 44:9-11; Yer 10:3-10 b Zab 115:4; Bik 17:29ne basuula bakatonda baabwe mu muliro. Naye abo tebaali Katonda, baali mirimu gy’emikono gy’abantu, nga mbaawo n’amayinja, era kyebaava bazikirizibwa. 1919:19 a 1Bk 8:43 b Zab 83:18Kaakano, Ayi Mukama, Katonda waffe, tukwegayiridde, otulokole mu mukono gwe, amawanga gonna ku nsi gamanye nga ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wekka.”

Isaaya Ayogera Ebyobunnabbi ku kugwa kwa Sennakeribu

2019:20 2Bk 20:5Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’aweereza Keezeekiya obubaka nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mpulidde okusaba kwo ku bikwata ku Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli. 2119:21 a Yer 14:17; Kgb 2:13 b Zab 22:7-8 c Yob 16:4; Zab 109:25Kino kye kigambo Mukama ky’ayogedde ku bimukwatako:

“ ‘Omuwala wa Sayuuni embeerera akunyooma

era akusekerera.

Omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyeza omutwe gwe

nga bw’odduka.

2219:22 Zab 71:22; Is 5:24Ani gw’ovumye era n’ovvoola?

Ani gw’okandulidde eddoboozi lyo,

era ani gw’oyimusirizza amaaso go n’amalala?

Obikoze Omutukuvu wa Isirayiri!

2319:23 a Is 10:18 b Zab 20:7Ojereze Mukama

ng’oyita mu babaka bo.

Era ogambye nti,

“Nninye ku ntikko z’ensozi

n’amagaali gange amangi,

ku ntikko ezisingirayo ddala obuwanvu eza Lebanooni.

Ntemye emivule egisingirayo ddala obuwanvu

n’emiberosi gyayo egisingirayo ddala obulungi.

Ntuuse ne mu bifo ebisingirayo ddala okuba ebikusike

ne mu bibira ebisingirayo ddala okuba ebirungi.

24Nsimye enzizi mu bannamawanga,

n’enywa amazzi gaamu.

Nkazizza emigga egy’e Misiri gyonna,

nga ngirinnyirira n’ebisinziiro by’ebigere byange.”

2519:25 a Is 40:21, 28 b Is 10:5; 45:7 c Mi 1:6“ ‘Tewawulira nga nakisalawo dda?

Mu biro eby’edda nakiteekateeka,

era kaakano nkituukirizza,

olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugwe

okuba ng’entuumo y’amayinja.

2619:26 a Zab 6:10 b Is 4:2 c Zab 129:6Ababituulamu tebakyalina buyinza,

batekemuse era baswazibbwa.

Bafaanana ng’ebimera eby’omu nnimiro,

ng’omuddo omubisi,

ng’omuddo ogusibuse mu busolya bw’ennyumba,

ne gutugibwa nga tegunnakula.

2719:27 Zab 139:1-4“ ‘Naye mmanyi obutuuliro bwo

era mmanyi okufuluma kwo n’okuyingira kwo

n’obuswandi bw’ondaga.

2819:28 a Ez 19:9; 29:4 b Is 30:28 c nny 33Kubanga ondaze obuswandi bwo,

n’obujoozi bwo

ne mbuwulira mu matu gange,

kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yo

n’olukoba lwange mu mumwa gwo,

era oliddirayo mu kkubo lye wajjiramu.’

2919:29 a 2Bk 20:8-9; Luk 2:12 b Lv 25:5 c Zab 107:37“Era kano ke kanaaba akabonero ko, ggwe Keezeekiya.

“Omwaka guno olirya ekyo ekimera kyokka,

ne mu mwaka ogwokubiri ekiriva mw’ekyo.

Naye mu mwaka ogwokusatu siga era okungule;

era simba ennimiro ez’emizabbibu, olye ku bibala bya kwo.

3019:30 2By 32:22-23Ekitundu ekisigaddewo eky’ennyumba ya Isirayiri

kyekiriva kiddamu ne kisimba emizi wansi, ne kibala ebibala waggulu.

3119:31 Is 9:7Mu Yerusaalemi muliva ekitundu ekifisseewo,

ne mu Lusozi Sayuuni ne muva abo abaliwona.

Obuggya bwa Mukama ow’Eggye bulikituukiriza.

32“Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikwata ku kabaka w’e Bwasuli, nti,

“ ‘Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino,

wadde okulasayo akasaale.

Talikisemberera n’engabo

newaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza.

3319:33 nny 28Ekkubo lye yakwata ng’ajja, omwo mw’aliddira,

naye taliyingira mu kibuga kino,

bw’ayogera Mukama.

3419:34 a 2Bk 20:6 b 1Bk 11:12-13Ndirwanirira ekibuga kino nkirokole,

ku lwange, ne ku lw’omuddu wange Dawudi.’ ”

3519:35 a Kuv 12:23 b Yob 24:24Ekiro ekyo malayika wa Mukama n’agenda mu nkambi ey’Abasuuli n’atta abasajja emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Ku makya abantu bwe baagolokoka, laba nga bonna mirambo. 3619:36 Lub 10:11; Yon 1:2Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ava mu nkambi, n’addayo ewuwe, n’agenda n’abeera e Nineeve.

3719:37 a nny 7 b Lub 8:4 c Ezr 4:2Awo bwe yali ng’asinziza mu ssabo lya katonda we Nisuloki Adulammereki ne Salezeri batabani be ne bamutta n’ekitala, ne baddukira mu nsi y’e Alalati. Esaladoni mutabani we n’amusikira.