2 Bassekabaka 18 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 18:1-37

Keezeekiya Kabaka wa Yuda

118:1 Is 1:1; 2By 28:27Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Koseya mutabani wa Era kabaka wa Isirayiri, Keezeekiya mutabani wa Akazi kabaka wa Yuda, n’atandika okufuga. 218:2 Is 38:5Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano, we yatandikira okufuga, n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi, n’erinnya lya nnyina ye yali Abi muwala wa Zekkaliya. 318:3 Is 38:5N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola. 418:4 a 2By 31:1 b Kuv 23:24 c Kbl 21:9N’aggyawo ebifo ebigulumivu n’amenyaamenya amayinja amoole, n’atema n’empagi eza Baasera. N’amenyaamenya omusota ogw’ekikomo Musa gwe yakola, kubanga ne mu biro ebyo Abayisirayiri baagwoterezangako obubaane.

518:5 2Bk 19:10; 23:25Keezeekiya yeesiga Mukama, Katonda wa Isirayiri, ne wataba n’omu eyamwenkana ku bakabaka bonna aba Yuda mu abo abaamusooka ne mu abo abamuddirira. 618:6 Ma 10:20; Yos 23:8N’anywerera ku Mukama, n’ataleka kumugoberera, era n’akuuma n’amateeka Mukama ge yawa Musa. 718:7 a Lub 39:3; 1Sa 18:14 b 2Bk 16:7Mukama n’abeera wamu naye, era n’abeera n’omukisa mu buli kye yakolanga. N’agyemera kabaka w’e Bwasuli, n’agaana okumuweereza. 818:8 2Bk 17:9; Is 14:29N’awangula Abafirisuuti, mu buli kigo na buli kibuga ekyaliko bbugwe, okuva e Gaza n’okutuuka ku nsalo zaakyo.

918:9 Is 1:1Mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Keezeekiya, ate nga gwe mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa Koseya mutabani wa Era, kabaka wa Isirayiri, Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n’alumba Samaliya n’akizingiza. 10Bwe wayitawo emyaka esatu, mu mwaka ogw’omukaga ogw’obufuzi bwa Keezeekiya, ate nga gwe mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya kabaka wa Isirayiri, Samaliya ne kiwambibwa. 1118:11 Is 37:12Kabaka w’e Bwasuli n’atwala Abayisirayiri e Bwasuli mu buwaŋŋanguse, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga gw’e Gozani ne mu bibuga by’Abameedi, 1218:12 a 2Bk 17:15 b Dan 9:6, 10 c 1Bk 9:6kubanga tebagondera ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, naye baasobya endagaano ye, n’ebyo byonna Musa omuddu wa Katonda bye yalagira. Naye ne batabiwulirizza wadde okubigondera.

1318:13 2By 32:1; Is 1:7; Mi 1:9Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’alumba ebibuga byonna ebyaliko bbugwe ebya Yuda, n’abiwamba. 1418:14 Is 24:5Awo Keezeekiya kabaka wa Yuda n’aweereza obubaka eri kabaka w’e Bwasuli e Lakisi ng’agamba nti, “Nnyonoonye mu maaso go; ddayo ondeke. Nnaakusasula byonna by’ononsalira.” Kabaka w’e Bwasuli n’awooza ku Keezeekiya kabaka wa Yuda ttani kkumi eza ffeeza ne ttani emu eya zaabu. 1518:15 1Bk 15:18; 2Bk 16:8Keezeekiya n’amuwa ffeeza yonna eyali mu yeekaalu ya Mukama n’eyo eyali mu mawanika ag’omu lubiri.

16Mu kiseera ekyo Keezeekiya kabaka wa Yuda n’aggyako zaabu gwe yali atadde ku nzigi ne ku minyolo egya yeekaalu ya Mukama, n’amuwa kabaka w’e Bwasuli.

Sennakeribu Atiisatiisa Yerusaalemi

1718:17 a Is 20:1 b 2Bk 20:20; 2By 32:4, 30; Is 7:3Kabaka w’e Bwasuli n’atuma Talutani, omuduumizi we ow’oku ntikko, Labusalisi, omukulu wa bakungu, ne Labusake omuduumizi we alwanira ku ttale n’eggye eddene, okuva e Lakisi okugenda ewa kabaka Keezeekiya e Yerusaalemi. Ne batuuka e Yerusaalemi, ne bakoma awali olusalosalo olw’ekidiba eky’engulu18:17 Ekidiba eky’engulu kye kidiba ekyasimibwa Keezeekiya okuggyanga amazzi okuva oluzzi Gikoni we lutandikira. ekiri ku kkubo ery’Ennimiro ey’Omwozi w’Engoye. 1818:18 a 2Bk 19:2; Is 22:20 b Is 22:15Awo ne bayita kabaka, naye Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali ssabakaaki, Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bagenda gye bali.

19Awo Labusake n’abagamba nti, “Mutegeeze Keezeekiya nti,

“ ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli nti, Kiki kye weesiga? 20Olowooza nti ebigambo obugambo, kakoddyo akalaga amaanyi n’obuvumu mu kulwana? Ani gwe weesiga, n’okujeema n’onjeemera? 2118:21 a Is 20:5; Ez 29:6 b Is 30:5, 7Laba nno, weesize Misiri, olumuli olwo olwatifu, oluyinza okufumita omukono gw’omuntu ne lumuleetako ekiwundu. Bw’atyo bw’ali Falaawo, ye kabaka w’e Misiri eri abo bonna abamwesiga. 22Ate era bw’oŋŋamba nti, “Twesize Mukama Katonda waffe,” oyo si y’omu Keezeekiya gwe yaggyirawo ebifo ebigulumivu n’ebyoto, ng’agamba Yuda ne Yerusaalemi nti, “Munaasinzizanga mu maaso g’ekyoto kino mu Yerusaalemi”?

23“ ‘Kale nno, jjangu oteese ne mukama wange kabaka w’e Bwasuli, nange n’akuwa embalaasi enkumi bbiri bw’onooba ng’olina abeebagazi. 2418:24 Is 10:8Onooyinza otya okuwangula omu ku baserikale ba mukama wange asembayo, bw’onooba nga weesiga amagaali n’abeebagala embalaasi ab’e Misiri? 2518:25 2Bk 19:6, 22Olowooza nti nnyinza okujja okutabaala ekifo kino n’okukizikiriza awatali kigambo kya Mukama? Mukama yennyini yaŋŋambye nyambuke nzikirize ensi eno.’ ”

2618:26 Ezr 4:7Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, Sebuna ne Yowa ne bagamba Labusake nti, “Tukwegayiridde yogera eri abaddu bo mu lulimi Olusuuli, kubanga tulutegeera. Toyogera naffe mu lulimi olw’Abayudaaya ng’abantu bonna abali ku bbugwe bawuliriza.”

27Naye Labusake n’abaddamu nti, “Mulowooza nti mukama wange yantuma eri mukama wammwe n’eri mmwe okwogera ebigambo bino, so si eri abasajja abatudde ku bbugwe, abali mu kabi nammwe kubanga okufaanana nga mmwe bagenda kulya empitambi yaabwe n’okunywa omusulo gwabwe?”

28Awo Labusake n’ayimirira n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka mu lulimi olw’Abayudaaya nti, “Muwulire ekigambo kya kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli! 2918:29 2Bk 19:10Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, ‘Keezeekiya tabalimbanga, kubanga taliyinza kubalokola mu mukono gwange. 30Temuganya Keezeekiya kubasendasenda mwesige Mukama ng’agamba nti, Mukama alibalokola, era n’ekibuga kino tekiriweebwayo mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’

3118:31 a Kbl 13:23; 1Bk 4:25 b Yer 14:3; Kgb 4:4“Temuwuliriza Keezeekiya. Bw’ati bw’ayogera kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mutabagane nange mujje gye ndi, buli omu ku mmwe anywe okuva mu muzabbibu ggwe, buli muntu ku mutiini gwe, na buli muntu anywe amazzi ag’omu kidiba kye ye;18:31 Amakulu g’ekyo nti wajja kubaawo emirembe, n’obutebenkevu, n’enkulaakulana 3218:32 Ma 8:7-9; 30:19okutuusa lwe ndijja ne mbatwala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey’eŋŋaano n’omwenge omusu, ensi ey’emigaati n’ennimiro ez’emizabbibu, ensi ey’amafuta aga zeyituuni n’omubisi gw’enjuki, mube balamu muleme okufa.’

“Temuwuliriza Keezeekiya kubanga abawabya bw’agamba nti, ‘Mukama alibalokola.’ 3318:33 2Bk 19:12; Is 10:10-11Waliwo katonda n’omu owa baamawanga eyali alokodde ensi ye mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli? 3418:34 a 2Bk 17:24; 19:13 b Is 10:9Bali ludda wa bakatonda b’e Kamasi n’ab’e Alupadi? Bali ludda wa bakatonda b’e Sefavayimu, ab’e Kena n’ab’e Yiva? Baali balokodde Samaliya mu mukono gwange? 3518:35 Zab 2:1-2Ani ku bakatonda abo bonna ab’ensi ezo eyali alokodde ensi ye mu mukono gwange, mulyoke mulowooze nti Mukama alirokola Yerusaalemi mu mukono gwange?”

36Naye abantu ne basirika ne bataddamu kigambo na kimu, kubanga kabaka yali alagidde nti, “Temumuddamu.”

3718:37 2Bk 6:30Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali ssabakaaki, ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bagenda eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamutegeeza ebigambo Labusake bye yali ayogedde.