2 Bassekabaka 15 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 15:1-38

Azaliya Kabaka wa Yuda

115:1 nny 32; 2Bk 14:21Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri, Azaliya mutabani wa ssekabaka Amaziya n’alya obwakabaka bwa Yuda15:1 Ebyo byabaawo mu mwaka 767 bc.. 2Yalina emyaka kkumi na mukaaga bwe yatandika okufuga, n’afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina ye yali Yekoliya ow’e Yerusaalemi. 3Yakola ebyali ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Amaziya bwe yali akoze. 4Wabula ebifo ebigulumivu gye baweeranga ssaddaaka tebyaggibwawo, era abantu beeyongeranga okuweerangayo ssaddaaka n’okwoterezangayo obubaane.

515:5 a Lub 12:17 b Lv 13:46 c 2By 27:1 d Lub 41:40Awo Mukama n’aleetera kabaka obulwadde n’agengewala15:5 Mu 2By 26:16-21, Katonda yaleeta ku kabaka ebigenge kubanga y’ewa omulimu ogwa bakabona (laba Lv 13:46), ennaku ze zonna okutuusa bwe yafa, era n’aggyibwako emirimu egy’obuvunaanyizibwa n’ateekebwa mu nnyumba ey’enjawulo. Azaliya n’asigira Yosamu15:5 Yosamu yafugira mu kiseera ekyo kyennyini Azaliya ng’akyali mulamu. mutabani we okuvunaanyizibwanga ensonga zonna ez’omu lubiri, era n’afuganga n’abantu ab’omu nsi.

6Ebyafaayo ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Azaliya, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 715:7 a Is 6:1; 14:28 b nny 5Awo Azaliya n’afa, n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi, Yosamu mutabani we n’amusikira okuba kabaka.

Zekkaliya Kabaka wa Isirayiri

8Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omunaana ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Zekkaliya mutabani wa Yerobowaamu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, n’afugira emyezi mukaaga. 915:9 1Bk 15:26N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga bajjajjaabe bwe baakola, n’atakyuka okuva mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.

1015:10 2Bk 12:20Awo Sallumu mutabani wa Yabesi, n’asala olukwe n’amuttira mu lujjudde lw’abantu, era n’alya obwakabaka. 1115:11 1Bk 15:31Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Zekkaliya, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri. 1215:12 2Bk 10:30Awo ekigambo Mukama kye yagamba Yeeku ne kituukirira, era kyali kigamba nti, “Bazzukulu bo balirya obwakabaka bwa Isirayiri okutuusa ku muzzukulu owookuna.”

1315:13 nny 1, 8Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n’atandika okufuga mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwenda ogw’obufuzi bwa Uzziya kabaka wa Yuda, era n’afugira omwezi gumu mu Samaliya. 1415:14 a 1Bk 14:17 b 2Bk 12:20Menakemu mutabani wa Gaadi n’ava e Tiruza n’agenda okulumba Sallumu mutabani wa Yabesi e Samaliya, era n’amutta. Ye n’afuuka kabaka mu kifo kye. 1515:15 1Bk 15:31Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Sallumu, n’olukwe lwe yasala, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri. 1615:16 a 1Bk 4:24 b 2Bk 8:12; Kos 13:16Mu kiseera ekyo Menakemu n’alumba Tifusa n’azikiriza buli muntu eyalimu, na buli kintu ekyali kikirinaanye ng’atandikira ku nsalo yaakyo ne Tiruza, kubanga tebaamwaniriza. Abakyala abaali embuto nabo n’abatta ng’ababaaga.

Menakemu Kabaka wa Isirayiri

17Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwenda ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Menakemu mutabani wa Gaadi n’alya obwakabaka bwa Isirayiri, era n’afugira emyaka kkumi mu Samaliya. 18Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, era ebbanga lyonna we yabeerera kabaka, n’atakyuka kuleka bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.

1915:19 1By 5:6, 26Awo Puli15:19 Puli lye linnya lya kabaka w’e Bwasuli era lye yayitibwanga mu Babulooni. Ate era yayitibwanga Tigulasupireseri III; yafugira wakati wa 745 ne 727 bc (Laba 1By 5:26) kabaka w’e Bwasuli n’alumba Isirayiri, naye Menakemu n’amusuubiza okumuwa ttani amakumi asatu mu nnya eza ffeeza ng’amusaba okumuwanirira n’okumunyweza ku ntebe ey’obwakabaka. 2015:20 2Bk 12:18Menakemu n’asoloozanga ensimbi ku Bayisirayiri, buli musajja omugagga ng’awaayo gulaamu desimoolo mukaaga eza ffeeza, okuwa kabaka w’e Bwasuli. Awo kabaka w’e Bwasuli n’abaviira mu nsi yaabwe.

21Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Menakemu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 22Menakemu n’afa, Pekakiya mutabani we n’amusikira okuba kabaka.

Pekakiya Kabaka wa Isirayiri

23Mu mwaka ogw’amakumi ataano ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Pekakiya mutabani wa Menakemu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, era n’afugira emyaka ebiri. 24Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, n’atakyuka kuleka bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri. 2515:25 a 2By 28:6; Is 7:1 b 2Bk 12:20Awo omu ku baserikale be abakulu nga mukulu wa kibinja erinnya lye Peka mutabani wa Lemaliya, ne yeekobaana n’abasajja abalala amakumi ataano Abagireyaadi ne battira Pekakiya wamu ne Alugobu, ne Aliye mu kigo eky’omu lubiri e Samaliya. Peka n’atta Pekakiya, n’alya obwakabaka.

26Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Pekakiya, ne bye yakola byonna, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.

Peka Kabaka wa Isirayiri

2715:27 a 2By 28:6; Is 7:1 b Is 7:4Mu mwaka ogw’amakumi ataano mu ebiri ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Peka mutabani wa Lemaliya n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, era n’afugira emyaka amakumi abiri. 28Yakola ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.

2915:29 a 2Bk 16:7; 17:6; 1By 5:26; 2By 28:20; Yer 50:17 b 1Bk 15:20 c 2Bk 16:9; 17:24; 2By 16:4; Is 9:1 d 2Bk 24:14-16; 1By 5:22; Is 14:6, 17; 36:17; 45:13Mu biro bya Peka kabaka wa Isirayiri, Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli n’alumba ebibuga: by’e Iyoni, n’e Aberubesumaaka, n’e Yanoa, n’e Kedesi, n’e Kazoli, n’e Gireyaadi n’e Ggaliraaya, n’ensi yonna eya Nafutaali, abantu baayo n’abatwala nga basibe e Bwasuli. 3015:30 a 2Bk 17:1 b 2Bk 12:20Awo Koseya mutabani wa Era n’asala olukwe okutta Peka mutabani wa Lemaliya, n’amulumba era n’amutta, n’alya obwakabaka mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obwakabaka bwa Yosamu mutabani wa Uzziya.

31Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Peka, ne bye yakola byonna byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.

Yosamu Kabaka wa Yuda

3215:32 1By 5:17Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Peka mutabani wa Lemaliya, Yosamu mutabani wa Uzziya n’alya obwakabaka bwa Yuda. 33Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yatandikira okufuga, era n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi, ne nnyina erinnya lye nga ye Yerusa muwala wa Zadooki. 3415:34 nny 3; 1Bk 14:8; 2By 26:4-5N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Uzziya bwe yakola. 3515:35 a 2Bk 12:3 b 2By 23:20Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo, era abantu ne beeyongeranga okuweerangayo ssaddaaka n’okwoterezangako obubaane. Yaddaabiriza n’Omulyango ogw’ekyengulu ogwa yeekaalu ya Mukama.

36Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yosamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 3715:37 2Bk 16:5; Is 7:1Mu biro ebyo Mukama n’atandika okusindikira Yuda abalabe nga Lezini kabaka w’e Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya. 38Yosamu n’afa, n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe, Akazi mutabani we n’amusikira okuba kabaka.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

列王纪下 15:1-38

亚撒利雅做犹大王

1以色列耶罗波安执政第二十七年,犹大亚玛谢的儿子亚撒利雅登基。 2他十六岁登基,在耶路撒冷执政五十二年。他母亲叫耶可利雅,是耶路撒冷人。 3亚撒利雅效法他父亲亚玛谢,做耶和华视为正的事。 4然而,他没有拆除丘坛,人们仍在那里献祭烧香。 5耶和华惩罚他,使他终生患麻风病。他另住别宫,他儿子约坦摄政,掌管宫中事务,治理国家。 6亚撒利雅其他的事及其一切所作所为都记在犹大的列王史上。 7亚撒利雅与祖先同眠后,葬在大卫城他的祖坟里。他儿子约坦继位。

撒迦利雅做以色列王

8犹大亚撒利雅执政第三十八年,耶罗波安的儿子撒迦利雅撒玛利亚登基做以色列王,执政六个月。 9他做耶和华视为恶的事,重蹈祖先的覆辙,没有离开尼八的儿子耶罗波安使以色列人犯的那些罪。 10雅比的儿子沙龙谋反,当众杀了撒迦利雅,篡位做了以色列王。 11撒迦利雅其他的事都记在以色列的列王史上。 12这件事应验了从前耶和华对耶户的应许:“你的子孙必做以色列王,一直到第四代。”

沙龙做以色列王

13犹大乌西雅执政第三十九年,雅比的儿子沙龙登基,在撒玛利亚执政一个月。 14迦底的儿子米拿现得撒撒玛利亚杀了沙龙,篡位做了以色列王。 15沙龙其他的事及其谋反的经过都记在以色列的列王史上。

米拿现做以色列王

16那时,米拿现得撒起兵攻打提斐萨及其四境。因为城中的居民不肯打开城门投降,他就杀光他们,剖开所有孕妇的肚腹。 17犹大亚撒利雅执政第三十九年,迦底的儿子米拿现撒玛利亚登基做以色列王,执政十年。 18他做耶和华视为恶的事,一生没有离开尼八的儿子耶罗波安使以色列人犯的那些罪。 19亚述普勒犯境,米拿现献给他三十七吨银子,以获得他的支持并巩固自己的王权。 20这些银子是米拿现以色列的所有富户征收来的,每人五百五十克。于是亚述王从以色列境内退兵回国。 21米拿现其他的事及其一切所作所为都记在以色列的列王史上。 22米拿现与祖先同眠后,他儿子比加辖继位。

比加辖做以色列王

23犹大亚撒利雅执政第五十年,米拿现的儿子比加辖撒玛利亚登基做以色列王,执政两年。 24他做耶和华视为恶的事,没有离开尼八的儿子耶罗波安使以色列人犯的那些罪。 25比加辖的一名将军、利玛利的儿子比加谋反,率领五十名基列人在撒玛利亚王宫里刺杀了比加辖亚珥歌伯亚利耶比加篡位做了以色列王。 26比加辖其他的事及其一切所作所为都记在以色列的列王史上。

比加做以色列王

27犹大亚撒利雅执政第五十二年,利玛利的儿子比加撒玛利亚登基做以色列王,执政二十年。 28他做耶和华视为恶的事,没有离开尼八的儿子耶罗波安使以色列人犯的那些罪。

29以色列比加执政期间,亚述提革拉·毗列色来犯,夺取了以云亚伯·伯·玛迦亚挪基低斯夏琐,占领了基列加利利拿弗他利全境,把那里的居民掳往亚述30乌西雅的儿子约坦执政第二十年,以拉的儿子何细亚谋反,杀了利玛利的儿子比加,篡位做了以色列王。 31比加其他的事及其一切所作所为都记在以色列的列王史上。

约坦做犹大王

32利玛利的儿子以色列比加执政第二年,犹大乌西雅的儿子约坦登基。 33他二十五岁登基,在耶路撒冷执政十六年。他母亲叫耶路莎,是撒督的女儿。 34约坦效法他父亲乌西雅,做耶和华视为正的事, 35但没有拆毁丘坛,人们仍在那里献祭烧香。他执政期间,曾建造耶和华殿的上门。 36约坦其他的事及作为都记在犹大的列王史上。 37那时,耶和华差遣亚兰利汛利玛利的儿子比加攻打犹大38约坦与祖先同眠后,葬在大卫城他的祖坟里。他儿子亚哈斯继位。