2 Bassekabaka 14 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 14:1-29

Amaziya Kabaka wa Yuda

1Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Yowaasi mutabani wa Yowakazi kabaka wa Isirayiri, Amaziya mutabani wa Yowaasi ssekabaka wa Yuda n’alya obwakabaka. 2Yali aweza emyaka amakumi abiri mu etaano weyatandikira okufuga, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina erinnya lye ye yali Yekoyadiini ow’e Yerusaalemi. 3N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga tebyenkana bya jjajjaawe Dawudi bye yakola. Mu buli nsonga yonna yagobereranga ekyokulabirako kya Yowaasi kitaawe. 414:4 2Bk 12:3; 16:4Kyokka beeyongeranga okuweerayo ssaddaaka n’okwoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu kubanga byali tebiggyiddwawo. 514:5 a 2Bk 21:24 b 2Bk 12:20Bwe yalaba ng’obwakabaka bunywezeddwa mu buyinza bwe, n’atta abakungu abaatemula kabaka kitaawe. 614:6 a Ma 28:61 b Kbl 26:11; Yob 21:20; Yer 31:30; 44:3; Ez 18:4, 20Wabula teyatta batabani baabwe kubanga mu byawandiikibwa mu Kitabo eky’Amateeka ga Musa, Mukama yalagira nti, “Abazadde tebattibwenga ku lw’abaana, so n’abaana tebattibwenga ku lw’abazadde baabwe; buli muntu anaafanga olw’ebibi bye ye.” 714:7 a 2Sa 8:13; 2By 25:11 b Bal 1:36Yawangula ab’e Edomu mu Kiwonvu eky’Omunnyo, era n’atta omutwalo gumu ku bo, n’okuwamba n’awamba Seera14:7 Seera kiyitibwa Petula mu Luyonaani, era kye kibuga kya Idumiya ekikulu mu lutalo, n’akituuma Yokuseeri, era kye kikyayitibwa ne ku lunaku lwa leero.

8Awo mu biro ebyo Amaziya n’atumira Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi, muzzukulu wa Yeeku, kabaka wa Isirayiri, obubaka ng’amusosonkereza nti, “Jjangu tulabagane amaaso n’amaaso.” 914:9 Bal 9:8-15Naye Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’addamu Amaziya kabaka wa Yuda nti, “Omwennyango mu Lebanooni gw’aweereza obubaka eri omuvule mu Lebanooni nga gugamba nti, ‘Waayo muwala wo afumbirwe mutabani wange.’ Naye ensolo enkambwe eya Lebanooni bwe yali ng’eyitawo n’erinnyirira omwennyango. 1014:10 Ma 8:14; 2By 26:16; 32:25Kaakano wegulumizza kubanga owangudde Edomu. Wenyumirize mu buwanguzi bwo ewuwo. Lwaki oyagala okweleetera emitawaana, n’okugwa kwo era n’okwa Yuda?”

1114:11 Yos 15:10Naye Amaziya teyawuliriza, era ekyavaamu Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’amulumba. Ne balabagana amaaso n’amaaso mu lutalo e Besusemesi ekya Yuda. 1214:12 2Sa 18:17Yuda n’awangulibwa Isirayiri, buli musajja n’addukira ewuwe. 1314:13 a 1Bk 3:1; 2By 33:14; 36:19; Yer 39:2 b Nek 8:16; 12:39 c 2By 25:23; Yer 31:38; Zek 14:10Awo Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yekoyaasi muzzukulu wa Akaziya e Besusemesi; Yekoyaasi ne yeeyongerayo e Yerusaalemi, n’amenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi, obuwanvu mita kikumi mu kinaana, okuva ku wankaaki wa Efulayimu okutuuka ku wankaaki ow’oku Nsonda. 14N’atwala ezaabu n’effeeza yonna, n’ebikozesebwa byonna ebyali mu yeekaalu ya Mukama, n’eby’obugagga ebyali mu lubiri lwa kabaka, era n’abantu n’abatwala nga basibe, n’addayo e Samaliya.

Okufa kwa Yekoyaasi

1514:15 2Bk 13:12Ebyafaayo ebirala byonna ebyaliwo mu mirembe gya Yekoyaasi, ne bye yakola n’ebyamagero bye, ne bwe yatabaala Amaziya kabaka wa Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 16Yekoyaasi n’afa n’aziikibwa mu Samaliya mu masiro ga bakabaka ba Isirayiri. Mutabani we Yerobowaamu n’amusikira okuba kabaka.

Okufa kwa Amaziya

17Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi n’awangaala emyaka kkumi n’ettaano emirala oluvannyuma lw’okufa kwa Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isirayiri. 18Ebyafaayo ebirala eby’omulembe gwa Amaziya, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?

1914:19 a 2Bk 12:20 b Yos 10:3; 2Bk 18:14, 17Ne bamusalira olukwe olw’okumuttira mu Yerusaalemi, n’addukira e Lakisi, naye ne bamuwerekereza abasajja era ne bamuttira e Lakisi. 2014:20 2Bk 9:28Ne bakomyawo omulambo gwe ku mbalaasi, era n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu Yerusaalemi, mu kibuga kya Dawudi.

2114:21 2Bk 15:1; 2By 26:23Awo eggwanga lyonna erya Yuda, ne bafuula Azaliya ow’emyaka ekkumi n’omukaaga kabaka, ng’asikira kitaawe Amaziya. 2214:22 1Bk 9:26; 2Bk 16:6Ye yaddaabiriza Erasi era n’azza Yuda obuggya, nga Amaziya amaze okufa.

Yerobowaamu II Kabaka wa Isirayiri

2314:23 2Bk 13:13Mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’obufuzi bwa Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda, Yerobowaamu II mutabani wa Yowaasi ssekabaka wa Isirayiri n’afuuka kabaka mu Samaliya, era n’afugira emyaka amakumi ana mu gumu. 2414:24 1Bk 15:30N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, n’atakyuka okuva mu bibi ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri. 2514:25 a Kbl 13:21; 1Bk 8:65 b Ma 3:17 c Yon 1:1; Mat 12:39Yatuukiriza ekigambo kya Mukama, Katonda wa Isirayiri kye yayogerera mu muddu we Yona mutabani wa Amitayi nnabbi ow’e Gasukeferi, n’azzaawo ensalo ya Isirayiri okuva ku mulyango gwa Kamasi okutuuka ku Nnyanja ey’Omunnyo.

2614:26 a Ma 32:36 b 2Bk 13:4 c Zab 18:41; 22:11; 72:12; 107:12; Is 63:5; Kgb 1:7Mukama yalaba okubonaabona kwa buli omu mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu, nga tewali ayinza ku babeera. 2714:27 a 2Bk 13:23 b Bal 6:14Olw’okubanga Mukama yali tagambye nti alisaanyaawo erinnya lya Isirayiri wansi w’eggulu, n’atuma Yerobowaamu II mutabani wa Yowaasi okubalokola.

2814:28 a 2Sa 8:5; 1Bk 11:24 b 2By 8:3 c 1Bk 15:31Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yerobowaamu II, ne byonna bye yakola, ne bwe yalwana entalo n’obuzira, n’engeri gye yakomezaawo Isirayiri Ddamasiko ne Kamasi ebyali ebya Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 29Yerobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, bassekabaka ba Isirayiri, Zekkaliya mutabani we n’amusikira okuba kabaka.