2 Bassekabaka 12 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 12:1-21

Yekoyaasi Addaabiriza Yeekaalu

112:1 2Bk 11:2Mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa Yeeku, Yekoyaasi, nnyina nga ye Zebbiya ow’e Beeruseba, n’atandika okuba kabaka, n’afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi. 2Yekoyaasi n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, ebbanga lyonna, kubanga Yekoyaada kabona ye yamuyigirizanga. 312:3 1Bk 3:3; 2Bk 14:4; 15:35; 18:4Wabula, ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo, n’abantu ne beeyongeranga okuwaayo ssaddaaka n’okwoterezanga obubaane ku bifo ebyo.

412:4 a 2Bk 22:4 b Kuv 35:5 c Kuv 30:12 d Kuv 35:29; 1By 29:3-9Awo Yekoyaasi n’agamba bakabona nti, “Mukuŋŋaanye ensimbi zonna ezireetebwa ng’ebiweebwayo ebitukuzibwa mu yeekaalu ya Mukama, ensimbi ez’omusolo buli muntu z’awaayo, n’ensimbi buli muntu z’awaayo ng’endobolo mu yeekaalu, n’ensimbi buli muntu ze yeesalira kyeyagalire, n’azireeta mu yeekaalu ya Mukama, 5n’oluvannyuma buli kabona addire ezo z’akuŋŋaanyizza aziweeyo okuddaabiriza buli aweetaagisa ku yeekaalu.”

6Naye oluvannyuma lw’emyaka amakumi abiri mu esatu egy’obufuzi bwa kabaka Yekoyaasi, bakabona ne baba nga tebannaddaabiriza yeekaalu. 7Awo kabaka Yekoyaasi12:7 Mu kiseera kino Yekoyaasi yali wa myaka amakumi asatu n’atumya Yekoyaada kabona asinga obukulu ne bakabona abalala, n’ababuuza nti, “Kiki ekibalobera okuddaabiriza yeekaalu? Kale nno, mulekeraawo okutoola ku nsimbi ezikuŋŋaanyizibwa, naye muziweeyo olw’okuddaabiriza yeekaalu.” 8Bakabona ne bakkiriziganya obutaddayo kukuŋŋaanya nsimbi ku bantu, wadde bo bennyini okuvunaanyizibwa okuddaabiriza yeekaalu.

912:9 a Yer 35:4 b 2By 24:8; Mak 12:41; Luk 21:1Yekoyaada kabona asinga obukulu n’addira essanduuko n’awumula ekituli mu kisaanikizo kyayo, n’agiteeka ku luuyi olwa ddyo okumpi n’ekyoto okuliraana n’awayingirirwa. Bakabona abaakuumanga omulyango ne bateekangamu ensimbi zonna ezaaleetebwanga mu yeekaalu ya Mukama. 1012:10 2Sa 8:17Awo bwe baalabanga ng’ensimbi ezireeteddwa mu yeekaalu ya Mukama ziweze nnyingi mu ssanduuko, omuwandiisi wa kabaka ne kabona asinga obukulu ne bajjanga okuzibala n’okuzitereka. 11N’oluvannyuma ensimbi ezo baazikwasanga abasajja abaali baweereddwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga omulimu ogwakolebwanga ku yeekaalu, bo ne basasulanga abakozi, n’abazimbi abaabulijjo, n’abazimbi b’amayinja, n’abatema amayinja, abo bonna nga baddaabiriza yeekaalu ya Mukama. 1212:12 2Bk 22:5-6Ate era ku ezo ensimbi kwe baagulanga embaawo, n’amayinja amabajje okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama n’olwebirala ebyetaagisanga mu kuddaabiriza okwo.

1312:13 1Bk 7:48-51; 2By 24:14Ensimbi ezaaleetebwanga mu yeekaalu tezaakozesebwanga kukola bensani eza ffeeza, oba ebisalako ebisirinza, oba ebibya, oba amakondeere wadde ekintu kyonna ekya zaabu oba ffeeza ebyabeeranga mu yeekaalu ya Mukama; 14kubanga baazisasulanga abakozi abaali baddaabiriza yeekaalu. 1512:15 2Bk 22:7; 1Ko 4:2Era kyali tekyetagisa abasajja be baakwasa ensimbi, okulaga enkozesa y’ensimbi ezo kubanga baakolanga n’obwesigwa. 1612:16 a Lv 5:14-19; Kbl 18:9 b Lv 4:1-35 c Lv 7:7Ensimbi ezaavanga mu biweebwayo eby’okulumiriza n’ebiweebwayo olw’ekibi tezaaleetebwanga mu yeekaalu ya Mukama, zaabanga za bakabona.

1712:17 2Bk 8:12Mu biro ebyo Kazayeeri kabaka w’e Busuuli n’alumba ekibuga ky’e Gaasi, n’akiwamba, n’oluvannyuma n’atandika okulumba n’e Yerusaalemi. 1812:18 a 1Bk 15:18; 2By 21:16-17 b 1Bk 15:21Naye Yekoyaasi kabaka wa Yuda n’addira ebintu byonna ebyatukuzibwa Yekosafaati, ne Yekolaamu ne Akaziya bajjajjaabe bassekabaka ba Yuda, n’ebirabo bye yali awonze, ne zaabu yonna eyali mu mawanika, n’abiggya mu yeekaalu ya Mukama n’abiweereza Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Oluvannyuma Kazayeeri n’alekayo okulumba Yerusaalemi.

19Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yekoyaasi, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 2012:20 a 2Bk 14:5 b 2By 24:25 c Bal 9:6Abaami be ne beekobaana, ne bamuttira mu nnyumba ey’e Miiro, ku kkubo eriserengeta e Siiro. 21Abaali mu lukwe olwo baali Yozakali mutabani wa Simeyaasi ne Yekozabadi mutabani wa Someri, era be baamutta. N’afa n’aziikibwa awali bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Amaziya mutabani we n’amusikira.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

列王纪下 12:1-21

约阿施做犹大王

1以色列耶户执政第七年,约阿施登基,在耶路撒冷执政四十年。他母亲叫西比亚,是别示巴人。 2耶何耶大祭司的教导下,约阿施一生做耶和华视为正的事。 3但他没有拆毁丘坛,人们仍在那里献祭烧香。

4约阿施对祭司们说:“你们要收集那些奉献到耶和华殿的圣银,即人口普查时收取的银子、个人还愿的银子和自愿奉献的银子。 5每位祭司要从奉献的人手中收取银子,用来修殿。” 6可是,直到约阿施执政第二十三年,祭司仍未动工。 7约阿施召来耶何耶大祭司及其他祭司,对他们说:“你们为什么还不修殿呢?不要再向奉献的人收银子了,要把所收的银子交出来修殿。” 8祭司们答应不再向民众收钱,但也不动工修殿。

9耶何耶大祭司在耶和华殿的入口右边的祭坛旁放了一个箱子,箱盖上开了个洞。守门的祭司将奉献到耶和华殿的所有银子放进箱子里。 10箱子里的银子多了,王的书记和大祭司就把银子点好,装在袋子里。 11他们将称好的银子交给修耶和华殿的督工。督工把报酬转交给在殿里工作的木匠、建筑工人、 12泥水匠和石匠,购买修耶和华殿用的木料和凿好的石头,并支付其他的修殿费用。 13献到耶和华殿里的银子没有用于制造殿里的银碗、蜡剪、盆、号及其他金银器皿, 14只用于修殿。 15督工们办事忠诚可靠,不需要跟他们清算账目。 16赎过祭和赎罪祭的银子没有带到耶和华的殿里,而是归给祭司。

17那时,亚兰哈薛攻陷了迦特,准备进攻耶路撒冷18犹大约阿施把先王约沙法约兰亚哈谢和他自己奉献的圣物以及耶和华殿里和王宫库房里的所有金子都送给了亚兰哈薛哈薛便从耶路撒冷退兵。

19约阿施其他的事及其一切作为都记在犹大的列王史上。 20约阿施的臣仆谋反,在去悉拉途中的米罗宫杀了他。 21杀他的是示米押的儿子约撒甲朔默的儿子约萨拔约阿施葬在大卫城他的祖坟里。他儿子亚玛谢继位。