2 Bassekabaka 11 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 11:1-21

Asaliya ne Yekoyaasi

111:1 2Bk 8:18Awo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba mutabani we ng’afudde, n’atandika okusaanyaawo olulyo olulangira lwonna. 211:2 a nny 21; 2Bk 12:1 b Bal 9:5Naye omumbejja Yekoseba muwala wa kabaka Yolaamu mwannyina Akaziya n’abba Yekoyaasi11:2 Yekoyaasi yali tannaweza mwaka gumu, nga n’okuggibwa ku mabeere tannaggibwako (lunny 31; 12:1) n’amuggya mu balangira abaali bagenda okuttibwa, n’abateeka ye n’omukuza we mu kisenge ekimu ng’abakweka Asaliya, era Yekoyaasi n’atattibwa. 3N’abeera mu yeekaalu ya Mukama n’omukuza we okumala emyaka mukaaga, Asaliya nga y’afuga ensi.

411:4 nny 19Mu mwaka ogw’omusanvu Yekoyaada n’atumya abaduumizi ab’ebibinja by’ekikumi, ab’oku Bakali n’abakuumi, ne babaleeta gy’ali mu yeekaalu ya Mukama. N’alagaana nabo endagaano, n’abalayiriza mu yeekaalu ya Mukama, n’oluvannyuma n’abalaga mutabani wa kabaka. 511:5 a 1By 9:25 b 1Bk 14:27N’abawa ebiragiro bino nti, “Kino kye muteekwa okukola: kimu kya kusatu ku kibinja ekikuuma ku ssabbiiti, kye kinaakuumanga olubiri lwa kabaka, 6n’ekimu kya kusatu ekirala ne kikuuma Omulyango Suuli, n’ekimu kya kusatu ekirala ne kikuuma emanju w’omulyango ewabeera abakuumi abakuuma yeekaalu mu mpalo; 7n’ebibiina byammwe ebibiri ebitatera kukuuma ku ssabbiiti, mwenna mugenda kuvunaanyizibwa okukuuma yeekaalu ya Mukama ku lwa kabaka. 8Era muneetooloola kabaka enjuuyi zonna, buli muntu ng’akutte ebyokulwanyisa bye mu mukono gwe, ne buli anaŋŋaanga okubasemberera attibwe. Mukuumenga kabaka butiribiri, bw’anaafulumanga ne bw’anaayingiranga.”

9Abaduumizi ab’ebibinja b’ekikumi ne bakola byonna nga Yekoyaada kabona bwe yalagira, buli omu n’afuna abasajja be, abaali ab’okukola ku ssabbiiti, n’abaali bamaze oluwalo lwabwe, ne bajja eri Yekoyaada kabona. 1011:10 2Sa 8:7; 1By 18:7Kabona n’awa abaduumizi amafumu n’engabo ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu yeekaalu ya Mukama, 11buli mukuumi n’ayimirira n’ebyokulwanyisa bye nga beetoolodde kabaka enjuuyi zonna, okuliraana ekyoto ne yeekaalu okuva ku luuyi olw’obukiikaddyo okutuuka ku luuyi olw’obukiikakkono.

1211:12 a Kuv 25:16; 2Bk 23:3 b 1Sa 9:16; 1Bk 1:39 c Zab 47:1; 98:8; Is 55:12 d 1Sa 10:24Awo Yekoyaada n’afulumya mutabani wa kabaka, n’amutikkira engule, n’amuwa n’endagaano gye baali bakoze, ne bamufuula kabaka. N’afukibwako amafuta, abantu ne bakuba mu ngalo nga bwe bayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Wangaala kabaka!” 13Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw’abakuumi n’olw’abantu, n’alaga eri abantu ku yeekaalu ya Mukama. 1411:14 a 1Bk 7:15; 2Bk 23:3; 2By 34:31 b 1Bk 1:39 c Lub 37:29 d 2Bk 9:23Bwe yatunula, laba, nga kabaka ayimiridde awali empagi, ng’empisa bwe yabanga, n’abaami n’abafuuwa amakondeere nga bayimiridde okuliraana kabaka, n’abantu bonna ab’omu nsi nga basanyuka era nga bwe bafuuwa amakondeere. Awo Asaliya n’ayuza ebyambalo bye, n’aleekaanira waggulu nti, “Bujeemu, bujeemu!”

1511:15 1Bk 2:30Amangwago Yekoyaada kabona n’alagira abaduumizi ab’ebibinja b’ekikumi, abaali bakulira eggye nti, “Mumufulumye wakati w’ennyiriri, na buli amugoberera mumutte n’ekitala.” Kabona yali agambye nti, “Temumuttira mu yeekaalu ya Mukama.” 1611:16 a Nek 3:28; Yer 31:40 b Lub 4:14Ne bakwata Asaliya, ng’anaatera okuyita mu mulyango gw’embalaasi w’eziyingira mu luggya lw’olubiri, ne bamuttira awo.

1711:17 a Kuv 24:8; 2Sa 5:3; 2By 15:12; 23:3; 29:10; 34:31; Ezr 10:3 b 2Bk 23:3; Yer 34:8Awo Yekoyaada n’akola endagaano ne Mukama, ne kabaka n’abantu, nti banaabeera abantu ba Mukama, era n’akola n’endagaano ne kabaka n’abantu. 1811:18 a 1Bk 16:32 b Ma 12:3 c 1Bk 18:40; 2Bk 10:25; 23:20Abantu bonna ab’omu nsi ne bagenda ku ssabo lya Baali ne balimenyaamenya; ne bamenyaamenya ebyoto n’ebifaananyi, era ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso g’ebyoto ebyo.

Yekoyaada kabona n’ateekawo abakuumi ku yeekaalu ya Mukama. 1911:19 nny 4Awo n’alaga n’abaduumizi ab’ebibinja b’ekikumi, n’Abakali, n’abakuumi, n’abantu bonna ab’omu nsi ku yeekaalu, n’aggyayo kabaka mu yeekaalu ya Mukama n’amutwala mu lubiri ng’ayita mu mulyango ogw’abakuumi. Kabaka n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka, 2011:20 Nge 11:10; 28:12; 29:2abantu bonna ab’omu nsi ne bajaguza, n’ekibuga n’ekitereera, kubanga Asaliya yali attiddwa n’ekitala okumpi n’olubiri.

21Yekoyaasi yali aweza emyaka musanvu bwe yatandika okufuga.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

列王紀下 11:1-21

耶何耶大立約阿施為王

1亞哈謝的母親亞她利雅見兒子死了,便決定除掉王室後裔。 2約蘭王的女兒、亞哈謝的妹妹約示芭把亞哈謝的兒子約阿施從被殺的王子中偷出來,將他和乳母藏在一間臥室裡,才躲過亞她利雅,使約阿施沒有被殺。 3約阿施和他的乳母在耶和華的殿裡藏了六年,那時亞她利雅篡位當政。

4第七年,耶何耶大派人召迦利11·4 迦利人」指雇來保護王的外族衛兵。和衛兵的百夫長們到耶和華的殿裡,與他們立約,讓他們在耶和華的殿裡起誓,然後把約阿施王子帶到他們面前。 5耶何耶大吩咐他們說:「你們在安息日值班的,三分之一要守衛王宮, 6三分之一要守衛蘇珥門,三分之一要守住衛兵院後門。你們要輪流守衛。 7安息日沒有值班的兩隊要在耶和華的殿裡保護王, 8各人要手持兵器護衛在王周圍。凡擅自闖入者,都要處死。無論王去哪裡,你們都要緊隨左右。」 9眾百夫長依令而行,各自率領安息日值班和休班的隨從來見耶何耶大10耶何耶大把耶和華殿中大衛王的矛槍和盾牌交給百夫長。 11從殿右到殿左,在祭壇和殿周圍,衛兵都手持兵器護衛王。 12耶何耶大祭司領王子出來,給他戴上王冠,把律法書交給他,膏立他為王。眾人都鼓掌高呼:「願王萬歲!」

13亞她利雅聽見衛兵和眾人的歡呼聲,便走進耶和華的殿,眾人都聚集在那裡。 14她看見王照例站在柱旁,百夫長和吹號的人侍立在王左右,眾人都歡呼吹號,便撕裂衣服喊叫:「反了!反了!」 15耶何耶大祭司認為不可在耶和華的殿裡處死亞她利雅,便命令領兵的百夫長:「把她帶出去。凡跟隨她的,都要殺掉。」 16他們抓住她,把她帶到馬匹進出王宮的入口,在那裡殺了她。

17耶何耶大讓王及民眾與耶和華立約,做耶和華的子民,也讓王與民眾立約。 18於是,民眾出去拆毀了巴力廟,砸碎祭壇和偶像,在壇前殺了巴力的祭司瑪坦耶何耶大派守衛保護耶和華的殿, 19然後率領百夫長、迦利人、衛兵和民眾,護送王從耶和華的殿下來,經過衛兵院的門進入王宮。這樣,約阿施坐上了王位。 20民眾都歡喜快樂,城裡安定,因為亞她利雅已在王宮那裡被處死。 21約阿施七歲登基。