2 Abakkolinso 9 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

2 Abakkolinso 9:1-15

Okuyamba Bakristaayo bannaabwe

19:1 a 1Bs 4:9 b 2Ko 8:4Mmanyi bulungi nga tekinneetaagisa kubawandiikira ku nsonga y’okuweereza abatukuvu; 29:2 a 2Ko 7:4, 14 b 2Ko 8:10 c Bik 18:12kubanga mmanyi nga bwe mwagala ennyo okuyamba, ne mikwano gyaffe wano mu Makedoniya nabategeezaako nga nnenyumiriza ku lwammwe nti ab’omu Akaya babadde beetegefu okuviira ddala mu mwaka ogwayita, era obumalirivu bwammwe bwakubiriza bangi. 39:3 1Ko 16:2Nabatumira abooluganda okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme kuba kwa bwereere mu nsonga eyo, mube beetegefu nga bwe nagamba. 49:4 Bar 15:26Si kulwa ng’ab’e Makedoniya bajja nange ne babasanga nga temwetegese, ne tuswala, ne bwe tutaboogerako nti ye mmwe, mu kubeesiga mmwe. 59:5 a Baf 4:17 b 2Ko 12:17, 18Kyenvudde ndowooza nga kiŋŋwanidde okubagumya abooluganda, bano babasookeyo, bateeketeeke ekirabo kye mwasuubiza, ekirabo ekyo kitegekebwe kibeere omukisa so si ekintu eky’okuwalirizibwa.

69:6 Nge 11:24, 25; 22:9; Bag 6:7, 9Naye mujjukire nti, “Asiga ekitono alikungula kitono, naye asiga ekinene alikungula kinene.” 79:7 a Kuv 25:2; 2Ko 8:12 b Ma 15:10 c Bar 12:8Buli omu akola nga bw’asazeewo mu mutima gwe, si lwa nnaku, newaakubadde olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu. 89:8 a Bef 3:20 b Baf 4:19Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga n’ebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi, 99:9 Zab 112:9nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Yasaasaanya, yagabira abaavu.

Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.”

109:10 a Is 55:10 b Kos 10:12Kubanga oyo awa omulimi ensigo okusiga, ate n’amuwa n’emmere ey’okulya, anaayazanga ensigo yammwe era n’agyongerako, era anaayongeranga ebibala eby’obutuukirivu. 119:11 a 1Ko 1:5 b 2Ko 1:11Anaabagaggawazanga mu buli kintu, ekyebazisa Katonda mu ffe.

129:12 a 2Ko 8:14 b 2Ko 1:11Kubanga omulimu gw’obuweereza buno tegukoma ku kuyamba batukuvu abali mu kwetaaga kyokka, kusukkirira mu kwebaza okungi eri Katonda. 139:13 a 2Ko 8:4 b Mat 9:8 c 2Ko 2:12Olw’obukakafu obuvudde mu buweereza obwo, Katonda agulumizibwa olw’okugonda okw’okwatula kwammwe eri Enjiri ya Kristo, ne mu kugaba kwe mwalaga mu bye mwabawa, n’eri abantu bonna, 14era n’okubasabira kwe babasabira kubanga babaagala nnyo olw’ekisa kya Katonda eky’ekitalo kye mulina; 159:15 a 2Ko 2:14 b Bar 5:15, 16Katonda yeebazibwe olw’ekirabo ekitayogerekeka.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

哥林多后书 9:1-15

1关于捐助圣徒的事,其实我不必再写信提醒你们, 2因我知道你们的热心。我向马其顿教会的人夸耀你们,说亚该亚人的捐款在一年前就预备好了,你们的热心激励了许多人。 3现在我先派这几位弟兄到你们那里,以便你们把捐款预备好,正如我所说的那样,免得我们在这件事上夸耀你们的话成了虚言。 4因为万一有马其顿的人与我同去,发现你们并没有准备好,不但我们会因如此信任你们而羞愧,你们也会无地自容。 5因此,我认为有必要请那几位弟兄先去你们那里,将你们从前认捐的款项收集妥当,这样就表明你们的捐赠是出于甘心乐意,而不是出于勉强。

甘心乐意地捐助

6要记住:“少种的少收,多种的多收。” 7各人心里想捐多少就捐多少,不要勉强,不要为难。因为捐得甘心乐意的人才是上帝所喜爱的。 8上帝能够将各样的恩典多多赐给你们,使你们在各方面常常富足有余,可以多行各样的善事。 9正如圣经上说:

“他慷慨施舍、周济穷人,

他的仁义永远长存。”

10赐农夫种子又赐人粮食的上帝,必加倍赐给你们种子,使你们收获更多仁义的果子, 11叫你们事事丰裕,可以多多施舍。这样,从我们这里得到你们帮助的人便会向上帝献上感恩。 12因为这件善事不单可以帮助经济困难的圣徒,也使许多人对上帝充满感恩。 13通过这件善事,他们会把荣耀归给上帝,因为看见你们信服基督的福音,慷慨地帮助他们及众人。 14他们也会因上帝赐给你们的丰盛恩典而热切地为你们祷告。 15感谢上帝,祂的恩赐真是无以言表!