2 Abakkolinso 8 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Abakkolinso 8:1-24

Okugaba kw’Abakristaayo

18:1 Bik 16:9Kaakano tubategeeza abooluganda, ekisa kya Katonda ekyaweebwa ekkanisa z’e Makedoniya. 2Mu kugezesebwa okw’okubonaabona, baagattika essanyu lyabwe ery’ekitalo n’obwavu bwabwe obungi, ne bafunamu okugaba okwewuunyizibwa ennyo. 38:3 1Ko 16:2Tebaagaba kutuuka we basobola wokka, naye nawo baasukkawo, era baagaba lwa kweyagalira. 48:4 a Bik 24:17 b Bar 15:25; 2Ko 9:1Baatwegayirira tubatwalire ebirabo byabwe, nabo basanyukire wamu ne bannaabwe abaweerezza obuyambi eri abatukuvu. 5Ate era kye twali tutasuubidde, baasooka kwewaayo eri Mukama, n’oluvannyuma gye tuli olw’okwagala kwa Katonda. 68:6 a nny 17; 2Ko 12:18 b 2Ko 12:16, 23 c nny 10, 11Kyatugwanira okusaba Tito, nga bwe yasooka okubaweereza, ajje atuukirize n’ekikolwa ekyo eky’ekisa. 78:7 a 2Ko 9:8 b 1Ko 1:5Naye nga bwe musukirira mu bintu byonna, mu kukkiriza, ne mu kigambo, ne mu kutegeera, ne mu kunyiikira kwonna, twagala okulaba nga ne mu kisa kino musukirira.

88:8 1Ko 7:6Sibawa kiragiro, wabula olw’okunyiikira kw’abalala n’okugezesa okwagala kwammwe nga kw’amazima. 98:9 a 2Ko 13:14 b Mat 20:28Kubanga mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo nga bwe yafuka omwavu ku lwammwe, mwe mulyoke mugaggawale.

108:10 a 1Ko 7:25, 40 b 1Ko 16:2, 3Amagezi ge mbawa ge gano nti mumalirize ekyo kye mwatandikako mu mwaka ogwayita, kubanga si mmwe mwasooka okuleeta ekirowoozo ekyo ate era si mmwe mwali ababereberye mu kutandika okukikolerako. 118:11 2Ko 9:2Naye kaakano mu bumalirivu bwammwe mu kwagala okukikola, mumalirize omulimu ogwo, okusinziira kw’ekyo kye mulina. 128:12 Mak 12:43, 44Kuba obanga mulina obumalirivu nga buli muntu bw’alina, buli muntu aweeyo okusinziira ku ekyo ky’alina so si ky’atalina.

13Abalala baleme kuyambibwa ate nga mmwe munyigirizibwa, walyoke wabeewo, okwenkanankana. 148:14 2Ko 9:12Kaakano bye mulina ebingi biyambe abo abali mu kwetaaga, ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi biribayamba nga muli mu kwetaaga. 158:15 Kuv 16:18Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Oyo eyakuŋŋaanyanga ennyingi teyasigazangawo, n’eyakuŋŋaanyanga entono ng’emumala bumazi.”

Tito atumibwa e Kkolinso ne banne

168:16 a 2Ko 2:14 b Kub 17:17 c 2Ko 2:13Kyokka Katonda yeebazibwe eyassa obunyiikivu bwe bumu mu mutima gwa Tito ku lwammwe. 178:17 nny 6Olw’okuzzibwamu amaanyi kwe yafuna, n’olw’okufuba kwe, yajja gye muli. 188:18 a 2Ko 12:18 b 1Ko 7:17 c 2Ko 2:12Era tutumye wamu naye owooluganda atenderezebwa olw’enjiri mu kkanisa zonna, 198:19 a 1Ko 16:3, 4 b nny 11, 12naye si ekyo kyokka wabula yalondebwa okutambulanga naffe olw’ekisa kye tuweereza ffe olwa Mukama waffe yennyini n’olw’okugulumiza n’okulaga nga bwe twetegese okuyamba, 20nga twewala omuntu yenna okutunenya olw’ekirabo kino kye tuweereza. 218:21 Bar 12:17; 14:18Kubanga kye tugenderera kwe kukola ebirungi, si mu maaso ga Katonda yekka wabula ne mu maaso g’abantu.

22Era awamu nabo twabatumira owooluganda gwe tukakasizza nga munyiikivu mu bintu bingi era nga ne kaakano munyiikivu nnyo olw’obwesige bw’abalinamu. 238:23 a Fir 17 b Baf 2:25 c nny 18, 22Singa wabaawo ayagala okumanya ebifa ku Tito, tukolagana, mukozi munnange; abooluganda, bo batume ba kkanisa, olw’ekitiibwa kya Kristo. 248:24 2Ko 7:4, 14; 9:2Noolwekyo okwagala kwammwe n’okwenyumiriza kwammwe byeyoleke gye bali.