2 Abakkolinso 6 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Abakkolinso 6:1-18

16:1 1Ko 3:9; 2Ko 5:20Ffe ng’abakolera awamu ne Katonda, tubeegayirira, ekisa kya Katonda kye mufunye, kireme kufa bwereere. 26:2 Is 49:8Kubanga agamba nti,

“Nakuwulira mu biro ebituufu,

era ne nkuyamba ku lunaku olw’obulokozi.”

Laba kaakano kye kiseera ekituufu, era laba kaakano lwe lunaku olw’obulokozi.

Ebizibu bya Pawulo

36:3 Bar 14:13, 20Tetuleeta kintu kyonna kyesittaza, obuweereza bwaffe buleme okunenyezebwa, 4naye mu buli kintu tweyoleka nga tuli baweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi okw’okubonaabona, mu bizibu byonna ebya buli ngeri, ne mu kunyolwa, 56:5 a 2Ko 11:23-25 b 1Ko 4:11ne mu kukubibwa ne mu kusibibwa mu kkomera, ne mu busasamalo, ne mu kutakabana, ne mu kutunula, ne mu kusiiba, 66:6 1Bs 1:5ne mu bulongoofu, ne mu kumanya, ne mu bugumiikiriza, ne mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kwagala okutaliimu bukuusa, 76:7 a 2Ko 4:2 b 2Ko 10:4ne mu kigambo eky’amazima, ne mu maanyi ga Katonda olw’ebyokulwanyisa eby’obutuukirivu ebiri mu mukono ogwa ddyo n’ogwa kkono, 86:8 a 1Ko 4:10 b Mat 27:63wakati mu kitiibwa n’okunyoomebwa, wakati mu kutufeebya, ne wakati mu kututenda, nga tuyitibwa abalimba ate nga tuli ba mazima. 96:9 a Bar 8:36 b 2Ko 1:8-10; 4:10, 11Ensi etusussa amaaso nga b’etemanyi, naye ate nga tumanyiddwa ng’abaafa, naye laba nga tuli balamu, nga tubonerezebwa naye ate nga tetuttibwa, 106:10 a 2Ko 7:4 b 2Ko 8:9 c Bar 8:32; 1Ko 3:21nga tunakuwala naye ate nga tusanyuka bulijjo, nga tuli ng’abaavu naye nga tugaggawaza bangi, nga tuli ng’abatalina kintu naye ate nga tulina byonna.

116:11 2Ko 7:3Twogedde lwatu gye muli Abakkolinso, n’omutima gwaffe gugaziye. 12Musiriikiridde bingi naye ffe tubategeezezza byonna. 136:13 1Ko 4:14Kaakano njogera nammwe nga bwe nandyogedde n’abaana, temutwekwekerera.

146:14 a 1Ko 5:9, 10 b Bef 5:7, 11; 1Yk 1:6Temwegattanga wamu n’abatali bakkiriza, kubanga nkolagana ki eriwo wakati w’obutuukirivu n’obujeemu, oba kutabagana ki okuliwo wakati w’ekitangaala n’ekizikiza? 156:15 Bik 5:14Kristo atabagana atya ne Beriyali? Oba mugabo ki omukkiriza gw’alina n’atali mukkiriza? 166:16 a 1Ko 3:16 b Lv 26:12; Yer 32:38; Ez 37:27Yeekaalu ya Katonda ne bakatonda abalala bibeera bitya obumu? Kubanga ffenna tuli Yeekaalu ya Katonda omulamu. Nga Katonda bwe yagamba nti,

“Nnaabeeranga mu bo

era natambuliranga mu bo,

nnaabeeranga Katonda waabwe,

nabo banaabeeranga bantu bange.”

176:17 a Kub 18:4 b Is 52:11Noolwekyo “muve wakati mu bo,

mubeeyawuleko,

bw’ayogera Mukama.

Temukwata ku bitali birongoofu,

nange nnaabaaniriza.”

186:18 Is 43:6Era “nnaabeeranga Kitammwe,

nammwe ne mubeeranga batabani bange ne bawala bange,”

bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna.