2 Abakkolinso 5 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

2 Abakkolinso 5:1-21

15:1 a 1Ko 15:47 b 2Pe 1:13, 14Kubanga tumanyi ng’ennyumba yaffe ey’ensiisira ey’oku nsi bw’erisaanyizibwawo, tulina ennyumba okuva eri Katonda, ennyumba etaakolebwa na mikono, ey’olubeerera ey’omu ggulu. 25:2 a nny 4; Bar 8:23 b 1Ko 15:53, 54Kubanga tusindira mu nnyumba eno, nga twegomba okwambazibwa ennyumba yaffe eriva mu ggulu. 3Kubanga bwe tulyambazibwa, tetulisangibwa nga tuli bwereere. 45:4 1Ko 15:53, 54Kubanga ffe abali mu nsiisira eno tusinda, nga tuzitoowererwa, nga tetwagala kusangibwa nga tetwambadde, wabula nga twambadde, omubiri ogufa gumiribwe obulamu. 55:5 Bar 8:23; 2Ko 1:22Oyo eyatuteekerateekera ekintu ekyo kyennyini ye Katonda oyo eyatuwa amazima g’Omwoyo.

6Noolwekyo tulina obwesige bulijjo nga tumanyi nti bwe tuba mu mubiri guno, tetuba waffe, olwo nga tetuli na Mukama waffe. 75:7 1Ko 13:12Kubanga tutambula lwa kukkiriza so si lw’amaaso gaffe bye galaba. 85:8 Baf 1:23Noolwekyo tuli bagumu era tuli basanyufu, wakiri okuva mu mibiri guno ne tubeera ewaffe mu ggulu ne Mukama waffe. 95:9 Bar 14:18Noolwekyo kyetuva tunoonya oba nga tuli ewaffe oba nga tetuli waffe, tumusanyuse. 105:10 Mat 16:27; Bar 14:10; Bef 6:8Kubanga ffe ffenna kitugwanira okulabika mu maaso g’entebe ya Kristo ey’okusalirako omusango, buli muntu asalirwe olw’ebyo bye yakola ng’akyali mulamu, okusinziira ku ebyo bye yakola oba birungi oba bibi.

Omukwano ne Katonda nga guyita mu Kristo

115:11 a Beb 10:31; Yud 23 b 2Ko 4:2Noolwekyo bwe tumanya entiisa ya Katonda, kyetuva tukola obutaweera okuleeta abantu eri Kristo, era kye tuli kimanyiddwa eri Katonda, era nsuubira nga bwe kiri ne mu mitima gyammwe. 125:12 a 2Ko 3:1 b 2Ko 1:14Tetugezaako kuddamu kubeenyumiririzaako, naye tubawa omukisa okwenyumiriza ku lwaffe, musobole okuba n’eky’okuddamu abo ababeewaanirako kyokka nga mu mitima gyabwe si ba mazima. 135:13 2Ko 11:1, 16, 17Bwe tuwulikika ng’abagudde eddalu olw’ebyo bye tweyogerako, tukikoze ku bwammwe. 145:14 Bag 2:20Kubanga okwagala kwa Katonda kutuwaliriza, ng’omu bwe yafiirira bonna, bonna kyebaava bafa. 155:15 Bar 14:7-9Yafiirira abantu bonna; abalamu balemenga okubeera abalamu ku bwabwe bokka, wabula ku bw’oyo eyabafiirira era n’azuukira, 165:16 2Ko 11:18okuva kaakano, tuleme okumanya omuntu yenna mu mubiri, bwe tuba nga ddala twamanya Kristo mu mubiri. Naye kaakano tetukyamumanyi bwe tutyo. 175:17 a Bag 6:15 b Is 65:17Noolwekyo omuntu yenna bw’abeera mu Kristo, aba kitonde kiggya; eby’edda nga bigenze, laba ng’afuuse muggya. 185:18 Bar 5:10; Bak 1:20Ebintu byonna biva eri Katonda eyatukomyawo gy’ali nga tuyita mu Kristo, era ne tuweebwa obuweereza obw’okutabaganya. 195:19 Bar 4:8Kubanga Katonda yali mu Kristo, ng’atabagana n’abantu, nga tababalira, bibi byabwe, n’atuteresa ffe obubaka obw’okutabaganya. 205:20 2Ko 6:1; Bef 6:20Noolwekyo ku bwa Kristo tuli babaka, era Katonda atuma ffe okwogera nammwe. Kyetuva tubeegayirira, ku bwa Kristo, mutabagane ne Katonda. 215:21 a Beb 4:15 b Bar 1:17Kubanga oyo ataamanya kibi, yafuuka ekibi ku lwaffe, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda mu Yesu.