2 Abakkolinso 13 – LCB & KJV

Luganda Contemporary Bible

2 Abakkolinso 13:1-14

Okulabula Okusembayo

113:1 a 2Ko 12:14 b Ma 19:15; Mat 18:16Omulundi guno gwe nzija gye muli gwe gwokusatu. Buli kigambo kirikakasibwa abajulirwa babiri oba basatu nga boogedde. 213:2 a 2Ko 1:23 b 2Ko 12:21Nabalabula era mbalabula nga bwe nabalabula bwe nnali eyo omulundi ogwokubiri, era ne kaakano nga ssiriiyo, abo abaayonoona edda n’abalala bonna, nti bwe ndikomawo ssirisaasira, 313:3 Mat 10:20; 1Ko 5:4nga bwe munoonya okukakasa oba nga njogerera mu Kristo, atali munafu gye muli, wabula ow’amaanyi mu mmwe. 413:4 a Baf 2:7, 8; 1Pe 3:18 b Bar 1:4; 6:4 c nny 9Kubanga newaakubadde nga yakomererwa mu bunafu, kyokka mulamu mu maanyi ga Katonda. Naffe tuli banafu mu mibiri gyaffe nga tuli mu ye, naye tuliba balamu mu ye olw’amaanyi ga Katonda olw’omulimu gwe tukola mu mmwe.

513:5 a 1Ko 11:28 b Yk 6:6 c Bar 8:10Mwekebere mulabe obanga muli mu kukkiriza; oba temumanyi nga Yesu Kristo ali mu mmwe? Mpozi nga temukakasibbwa. 6Naye nsuubira nga mumanyi nti tetuli abataakakasibwa. 7Kaakano tubasabira eri Katonda obutakola kibi na kimu, si lwa kwagala kulabika nga tusiimibwa, wabula mmwe mukole ebirungi, ffe ne bwe tunaasigala nga tetusiimibbwa. 8Kubanga tetuyinza kuwakanya mazima, wabula tugawagira buwagizi. 913:9 nny 11Ffe kitusanyusa bwe tuba abanafu, mmwe ne muba ab’amaanyi. Tubasabira mmwe okuzzibwa obuggya. 1013:10 2Ko 10:8Mbawandiikira kubanga siri nammwe, bwe ndijja nneme kubakambuwalira, okusinziira ku buyinza Mukama bwe yampa okubazimba, so si okubazikiriza.

Okusiibula n’omukisa

1113:11 a 1Bs 4:1; 2Bs 3:1 b Mak 9:50 c Bar 15:33; Bef 6:23Ebisigadde abooluganda, mujaguze, muzibwemu amaanyi, mulowooze bumu, mubeere n’emirembe, Katonda ow’okwagala n’emirembe anaabeeranga nammwe.

1213:12 Bar 16:16Mulamusagane n’okulamusa okutukuvu.

1313:13 Baf 4:22Abatukuvu bonna babalamusizza.

14Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, n’okwagala kwa Katonda, n’okussekimu okwa Mwoyo Mutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna.

King James Version

2 Corinthians 13:1-14

1This is the third time I am coming to you. In the mouth of two or three witnesses shall every word be established. 2I told you before, and foretell you, as if I were present, the second time; and being absent now I write to them which heretofore have sinned, and to all other, that, if I come again, I will not spare: 3Since ye seek a proof of Christ speaking in me, which to you-ward is not weak, but is mighty in you. 4For though he was crucified through weakness, yet he liveth by the power of God. For we also are weak in him, but we shall live with him by the power of God toward you. 5Examine yourselves, whether ye be in the faith; prove your own selves. Know ye not your own selves, how that Jesus Christ is in you, except ye be reprobates? 6But I trust that ye shall know that we are not reprobates. 7Now I pray to God that ye do no evil; not that we should appear approved, but that ye should do that which is honest, though we be as reprobates. 8For we can do nothing against the truth, but for the truth. 9For we are glad, when we are weak, and ye are strong: and this also we wish, even your perfection. 10Therefore I write these things being absent, lest being present I should use sharpness, according to the power which the Lord hath given me to edification, and not to destruction.

11Finally, brethren, farewell. Be perfect, be of good comfort, be of one mind, live in peace; and the God of love and peace shall be with you. 12Greet one another with an holy kiss.

13All the saints salute you. 14The grace of the Lord Jesus Christ, and the love of God, and the communion of the Holy Ghost, be with you all. Amen.