1 Yokaana 5 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

1 Yokaana 5:1-21

Obuwanguzi bwaffe

15:1 1Yk 2:22Buli akkiriza nti Yesu ye Kristo, oyo aba mwana wa Katonda, era buli ayagala kitaawe w’omwana ayagala n’omwana we. 2Ku ekyo kwe tutegeerera nga twagala abaana ba Katonda, bwe twagala Katonda ne tukola by’atulagira. 35:3 Yk 14:15; 2Yk 6Kubanga okwagala kwa Katonda kwe kukola ebyo by’atulagira okukola. Okukola by’atulagira si kizibu, 4kubanga buli mwana wa Katonda awangula ekibi n’okwegomba ensi, era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, kwe kukkiriza kwaffe. 5Naye ani ayinza okuwangula ensi okuggyako oyo akkiriza nti Yesu Mwana wa Katonda?

Yesu Kristo

65:6 a Yk 19:34 b Yk 14:17Yesu Kristo oyo yennyini ye yajja n’amazzi n’omusaayi, si na mazzi, naye n’amazzi n’omusaayi. Era ne Mwoyo ekyo akikakasa kubanga Mwoyo ye mazima. 75:7 Mat 18:16Waliwo okukakasa kwa mirundi esatu: 8Mwoyo Mutukuvu, n’amazzi, n’Omusaayi, era ebisatu ebyo bikkiriziganya. 95:9 a Yk 5:34 b Mat 3:16, 17Obanga tukkiriza obujulirwa bw’abantu, obujulirwa bwa Katonda tusaana okubukkiriza ennyo n’okusingawo, kubanga bwe businga obukulu ng’ategeeza ku Mwana we. 105:10 a Bar 8:16; Bag 4:6 b Yk 3:33Kale buli akkiririza mu Mwana wa Katonda akyetegeezeza ddala ye yennyini. Oyo atakkiririza mu Katonda ng’amufudde mulimba, kubanga takkiriza ekyo Katonda ky’ayogera ku Mwana we. 115:11 Yk 1:4; 1Yk 2:25Era buno bwe bujulirwa nti: “Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu buno buli mu Mwana we.” 125:12 Yk 3:15, 16, 36Buli alina Omwana alina obulamu, naye oyo atalina Mwana wa Katonda talina bulamu.

Okumaliriza

135:13 a 1Yk 3:23 b Yk 20:31Ebyo mbiwandiikidde mmwe abakkiriza erinnya ly’Omwana wa Katonda, mulyoke mumanye nti mulina obulamu obutaggwaawo. 145:14 a 1Yk 3:21 b Mat 7:7Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gy’ali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bw’asiima atuwulira. 155:15 nny 18, 19, 20Era bwe tutegeera nti atuwulira bwe tumusaba, buli kye tumusaba talema kukituwa.

165:16 Yak 5:15Omuntu yenna bw’alaba muganda we ng’agudde mu kibi ekitali kya kufa, amusabirenga, Katonda talirema kumuwa bulamu. Njogera ku abo bokka abagwa mu kibi ekitali kya kufa. 175:17 a 1Yk 3:4 b 1Yk 2:1Buli ekitali kya butuukirivu kibi, naye waliwo ekibi ekitaleetera muntu kufa.

185:18 Yk 14:30Tumanyi nga buli muntu yenna azaalibwa Katonda teyeeyongera kukola kibi, kubanga Katonda amukuuma, Setaani n’atamukola kabi. 195:19 a 1Yk 4:6 b Bag 1:4Tumanyi nga tuli ba Katonda, n’ensi yonna eri mu mikono gya Setaani. 205:20 a Luk 24:45 b nny 11Era tumanyi ng’Omwana wa Katonda yajja mu nsi, n’atuwa okutegeera tumanye Katonda ow’amazima, era tuli mu oyo Katonda ow’amazima, ne mu Yesu Kristo Omwana we. Oyo ye Katonda ow’amazima n’obulamu obutaggwaawo.

21Abaana abaagalwa, mwewalenga bakatonda abalala.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约翰一书 5:1-21

胜过世界的人

1每一个信耶稣是基督的人,都是从上帝生的。凡爱生他之上帝的,也爱上帝所生的。 2当我们爱上帝,遵行祂的命令时,便知道自己也爱祂的儿女。 3因为我们遵行上帝的命令就是爱上帝,祂的命令并不难遵守。 4因为凡是从上帝生的人都能胜过世界,使我们得胜的是我们的信心。 5谁能胜过世界呢?不就是那些信耶稣是上帝的儿子的人吗?

上帝的见证

6耶稣基督是借着水和血来的。祂不单是借着水来的,也是借着水和血来的,并且有圣灵为祂做见证,圣灵就是真理。 7这样,做见证的共有三样: 8圣灵、水和血。这三者是一致的。 9我们既然接受人的见证,就更该接受上帝的见证,因为上帝为祂的儿子做了见证。 10信上帝儿子的人心里有这见证,不信上帝的人等于把上帝当作撒谎的,因为他不信上帝为祂儿子做的见证。 11这见证就是:上帝已经把永恒的生命赐给我们,这生命在祂儿子里面。 12人有上帝的儿子,就有这生命;没有上帝的儿子,就没有这生命。

永恒的生命

13我把这些事写给你们这些信上帝儿子之名的人,是要你们知道自己有永生。 14我们若按着上帝的旨意祈求,祂必垂听,这是我们对上帝的信心。 15我们既然知道上帝垂听我们一切的祈求,就知道我们能得到所求的。

16若有人看见信徒犯了不至于死的罪,就当为他祷告,上帝必将生命赐给他。有的罪会导致死亡,我并不是说你们要为这样的罪祷告。 17一切不义的事都是罪,但有的罪不会导致死亡。

18我们知道从上帝生的不会继续犯罪,因为上帝的儿子保护他,那恶者无法害他。 19我们知道自己属于上帝,全世界都在那恶者手中。

20我们知道上帝的儿子已经来了,并且赐给了我们悟性,使我们能认识真神。我们在真神里面,就是在祂儿子耶稣基督里面。祂是真神,也是永生。

21孩子们啊,你们要远离偶像!