1 Yokaana 4 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

1 Yokaana 4:1-21

Mugezese Emyoyo

14:1 2Pe 2:1; 1Yk 2:18Abaagalwa, temukkirizanga buli myoyo, naye musookenga okugyetegereza mulabe obanga givudde eri Katonda, kubanga kaakano waliwo bannabbi ab’obulimba bangi mu nsi. 24:2 a Yk 1:14; 1Yk 2:23 b 1Ko 12:3Eno y’engeri gye tutegeeramu Mwoyo wa Katonda: buli ayatula nti Yesu Kristo yafuuka omubiri, ng’ava eri Katonda, oyo y’alina Mwoyo wa Katonda. 34:3 1Yk 2:22; 2Yk 7Naye buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda. Ogwo gwe mwoyo ogw’Omulabe wa Kristo, gwe mwawulira nti ajja mu nsi, era amaze okutuuka.

44:4 a Bar 8:31 b Yk 12:31Mmwe, abaana abaagalwa, muli ba Katonda era mumaze okuwangula, kubanga oyo ali mu mmwe wa maanyi okusinga oyo ali mu nsi. 54:5 Yk 15:19Bo ba nsi era boogera bya nsi, era abantu b’ensi kyebava babawuliriza. 64:6 a Yk 8:47 b Yk 14:17Naye ffe tuli bantu ba Katonda, era buli amanyi Katonda atuwuliriza; atali wa Katonda tatuwuliriza. Eyo y’engeri gye tusobola okwawulamu omwoyo ogw’amazima n’omwoyo ogw’obulimba.

74:7 a 1Yk 3:11 b 1Yk 2:4Abaagalwa, twagalanenga, kubanga okwagala kuva eri Katonda, era buli alina okwagala mwana wa Katonda, era amanyi Katonda. 84:8 nny 7, 16Naye buli atalina kwagala tamanyi Katonda, kubanga Katonda kwagala. 94:9 Yk 3:16, 17; 1Yk 5:11Katonda yatulaga okwagala kwe, bwe yatuma mu nsi Omwana we omu yekka bw’ati, tulyoke tube abalamu ku bw’oyo. 104:10 a Bar 5:8, 10 b 1Yk 2:2Mu kino mwe tutegeerera ddala okwagala kwennyini, kubanga teyakikola lwa kuba nti ffe twali twagala Katonda, naye ye yennyini ye yatwagala, n’awaayo Omwana we ng’omutango olw’ebibi byaffe. 114:11 Yk 3:16Kale abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bw’atyo naffe tuteekwa okwagalananga. 124:12 a Yk 1:18; 1Ti 6:16 b 1Yk 2:5Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, naye bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, n’okwagala kwe ne kulabikira mu ffe. 134:13 1Yk 3:24Mu ekyo mwe tutegeerera nti Katonda ali mu ffe era naffe tuli mu Ye, olwa Mwoyo gw’atuwadde. 144:14 a Yk 15:27 b Yk 3:17Era ffe twamulaba n’amaaso gaffe, kyetuva tutegeeza nti Kitaffe yatuma Omwana we okuba Omulokozi w’ensi.

154:15 Bar 10:9Kale buli ayatula nti Yesu Mwana wa Katonda, nga Katonda ali mu ye era nga naye ali mu Katonda. 164:16 a nny 8 b 1Yk 3:24Ffe tumanyi okwagala kwa Katonda era tukkiririza mu kwagala kwe okwo kw’alina gye tuli.

Katonda kwagala, era buli abeera n’okwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye. 174:17 1Yk 2:5Bwe twagala bannaffe nga Kristo bwe yakola ng’ali mu nsi muno, tetulibaako kye tweraliikirira ku lunaku olw’okusalirako omusango. 184:18 Bar 8:15Mu kwagala temuliimu kutya, kubanga okwagala okutuukiridde kumalawo okutya; kubanga okutya kulimu okubonerezebwa, na buli atya, aba tannatuukirira mu kwagala.

194:19 nny 10Tulina okwagala kubanga Ye ye yasooka okutwagala. 204:20 a 1Yk 2:9 b 1Yk 2:4Omuntu yenna bw’agamba nti, “Njagala Katonda,” naye n’akyawa muganda we, omuntu oyo mulimba. Kubanga buli atayagala muganda we gw’alabako, tasobola kwagala Katonda gw’atalabangako. 214:21 Mat 5:43Era Katonda yennyini yatulagira nti, “Buli ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we.”