Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

1 Yokaana 1

Kigambo Aleeta Obulamu

1Tubawandiikira ku Kigambo ow’obulamu, eyaliwo okuva ku lubereberye, gwe twawulira, gwe twalaba n’amaaso gaffe, era gwe twakwatako n’engalo zaffe. Obulamu bwalabisibwa, era tubulabye, tubuweerako obujulirwa, era tubategeeza obulamu obutaggwaawo obwali ne Kitaffe, era ne bulabisibwa gye tuli. Tubategeeza ekyo kye twawulira era kye twalaba, mulyoke mutwegatteko, mubeere bumu naffe, era mussekimu ne Kitaffe awamu n’Omwana we Yesu Kristo. Era tubawandiikira ebintu bino essanyu lyaffe liryoke lituukirire.

Okutambulira mu Musana

Buno bwe bubaka bwe twafuna okuva gy’ali: tubategeeza nti, Katonda musana; mu ye temuliimu kizikiza n’akatono. Noolwekyo bwe twogera nti tussakimu naye, ate ne tutambulira mu kizikiza, tuba balimba era tetuba ba mazima. Naye bwe tutambulira mu musana nga ye bw’ali omusana, olwo tussakimu buli muntu ne munne, n’omusaayi gwa Yesu Omwana we, gutunaazaako buli kibi kyonna. Bwe twogera nti tetulina kibi, twerimba ffekka, era n’amazima tegaba mu ffe. Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna. 10 Bwe tugamba nti tetulina kibi, tumufuula mulimba era nga n’ekigambo kye tekiri mu ffe.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约翰一书 1

生命之道

1论到从太初就已经存在的生命之道,我们曾经耳闻目睹,亲眼看过,亲手摸过。 这生命曾显现过,我们看见了,现在做见证,向你们传扬这原本与父同在、曾向我们显现的永恒生命。 我们把所见所闻传给你们,使你们可以与我们相交。诚然,我们是与父和祂儿子耶稣基督相交。 我们将这些话写给你们,是要让大家都充满喜乐。

要活在光中

我们从耶稣那里听见、现在传给你们的信息就是:上帝是光,在祂里面毫无黑暗。 如果我们说与祂相交,却仍过着黑暗的生活,就是撒谎,没有遵行真理。 如果我们生活在光明之中,像上帝在光明中一样,就能够彼此相交,上帝儿子耶稣的血能洗净我们一切的罪。

如果我们说自己没有罪,便是自欺,真理就不在我们心中。 如果我们承认自己的罪,上帝是信实公义的,必赦免我们的罪,洗净我们一切的不义。 10 我们如果说自己没有犯过罪,就是把上帝看作说谎的,祂的道也不在我们心中。