1 Timoseewo 6 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

1 Timoseewo 6:1-21

Eby’abaddu ne Bakama baabwe

16:1 a Bef 6:5; Tit 2:9; 1Pe 2:18 b Tit 2:5, 8Abo bonna abali mu kikoligo ky’obuddu, basaana okussaamu bakama baabwe ekitiibwa, erinnya lya Katonda, awamu n’okuyigiriza kwaffe bireme kuvvoolebwa. 26:2 a Fir 16 b 1Ti 4:11Abaddu abalina bakama baabwe abakkiriza tebabanyoomanga, okubanga baganda baabwe, wabula bonna bongere bwongezi okubaweereza, kubanga bakkiriza era baagalwa, era be bayambibwa olw’okuweereza kwabwe okulungi.

Omugaso gw’okussaamu Katonda Ekitiibwa

Bino bibayigirizenga era obibakuutirenga. 36:3 a 1Ti 1:3 b 1Ti 1:10Omuntu yenna bw’ayigirizanga mu ngeri endala, nga takkiriziganya na bigambo ebya Mukama waffe Yesu Kristo ebireeta obulamu n’okugobereranga enjigiriza ey’okutya Katonda, 46:4 2Ti 2:14aba ajjudde okwekuluntaza era aba taliiko ky’ategeera naye aba aguddemu akazoole ak’okubuzaabuza mu buli kintu, n’okuwakana ku buli kigambo n’ekivaamu bwe buggya, n’okuyomba, n’okuvuma, n’okuwaayira, 56:5 Tit 1:15n’okukaayana. Ebyo bikolebwa abantu abaayonooneka ebirowoozo, abatakyalina mazima, abalowooza ng’okufuna amagoba kwe kutya Katonda. 66:6 a Baf 4:11; Beb 13:5 b 1Ti 4:8Weewaawo okutya Katonda kulimu amagoba mangi, omuntu bw’amalibwa mu ekyo ky’alina. 76:7 Yob 1:21; Mub 5:15Kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetuliiko kye tuliggyamu nga tuvaamu. 86:8 Beb 13:5Naye bwe tuba n’emmere, n’ebyokwambala ebyo bitumalenga. 96:9 a Nge 15:27 b 1Ti 3:7Abo abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu katego ak’okwegomba okw’obusirusiru era okw’akabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira. 106:10 a 1Ti 3:3 b Yak 5:19Kubanga okululunkanira ensimbi y’ensibuko y’ebibi byonna, era olw’okululunkana okwo abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe.

Okulabula

116:11 a 2Ti 3:17 b 2Ti 2:22Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebintu ebyo, ogobererenga obutuukirivu, n’okutya Katonda, n’okukkiriza, n’okwagala, n’okugumiikiriza, n’obuwombeefu. 126:12 a 1Ko 9:25, 26; 1Ti 1:18 b Baf 3:12Lwananga okulwana okulungi okw’okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo bwe wayitirwa, n’oyatula okwatula okulungi mu maaso g’abajulirwa abangi. 136:13 a Yk 18:33-37 b 1Ti 5:21Nkukuutira mu maaso ga Katonda, awa byonna obulamu, ne mu maaso ga Kristo Yesu eyayatula okwatula okulungi mu maaso ga Pontiyo Piraato, 14okuumenga ekiragiro nga tekiriiko bbala, wadde eky’okunenyezebwa okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo, 156:15 a 1Ti 1:11 b 1Ti 1:17 c Kub 17:14; 19:16kw’aliraga mu ntuuko zaakwo, aweebwa omukisa era nnannyini buyinza yekka, Kabaka wa bakabaka bonna, era Mukama wa bakama, 166:16 a 1Ti 1:17 b Yk 1:18ye yekka atafa era atuula mu kwakaayakana okutasemberekeka, era tewali n’omu yali amulabye, so tewali asobola kumulaba, oyo aweebwe ekitiibwa, n’obuyinza obutaggwaawo, Amiina.

Okulabula Abagagga

176:17 a Luk 12:20, 21 b 1Ti 4:10 c Bik 14:17Okuutirenga abagagga ab’omu mirembe gya kaakano, obuteekuluntaza, wadde okwesiga obugagga kubanga si bwa lubeerera, wabula beesige Katonda atuwa byonna olw’okwesanyusanga, 186:18 a 1Ti 5:10 b Bar 12:8, 13bakole ebirungi, babe bagagga mu bikolwa ebirungi, nga bagabi, era abaagala okugabana n’abalala. 196:19 Mat 6:20Bwe batyo beeterekere obugagga obw’engeri eyo nga gwe musingi omulungi ogw’ebiseera ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu bwennyini.

206:20 a 2Ti 1:12, 14 b 2Ti 2:16Timoseewo, kuumanga kye wateresebwa. Weewalenga ebigambo ebivvoola, era ebitaliimu nsa, n’empaka ez’ebigambo ebiyitibwa eby’amagezi naye nga bya bulimba, 216:21 2Ti 2:18abantu abamu ge balowooza okuba nago, ne basubwa ekigendererwa mu kukkiriza.

Ekisa kibeerenga nammwe.