1 Timoseewo 1 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

1 Timoseewo 1:1-20

Okulamusa

11:1 a Tit 1:3 b Bak 1:27Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda Omulokozi waffe ne Kristo Yesu essuubi lyaffe, bwe baalagira, 21:2 a Bik 16:1 b 2Ti 1:2; Tit 1:4nkuwandiikira ggwe Timoseewo, omwana wange ddala mu kukkiriza. Nkwagaliza ekisa n’okusaasira, n’emirembe, ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe.

Okwerinda Enjigiriza Enkyamu

31:3 a Bik 18:19 b Bag 1:6, 7Njagala osigale mu Efeso, nga bwe nakukuutira nga ŋŋenda e Makedoniya oziyize abantu baleme kuyigiriza njigiriza ndala. 41:4 a 1Ti 4:7; Tit 1:14 b 1Ti 6:4Bagambe balekeraawo okwemalira ku nfumo, ne ku kulondoola enkalala empanvu ez’amannya g’abajjajja. Ebyo byongera mpaka, mu kifo ky’okuyigiriza abantu ebya Katonda ebiri mu kukkiriza. 51:5 a 2Ti 2:22 b 2Ti 1:5Kye tugenderera mu kiragiro kino, kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu, n’omwoyo omulungi, n’okukkiriza okutaliimu bukuusa. 6Ebyo abantu abamu babivaako ne badda mu mpaka ezitaliimu mugaso. 7Beefuula bayigiriza b’amateeka ga Katonda, songa tebategeera bye boogera, wadde bye bakakasa. 81:8 Bar 7:12Tumanyi ng’amateeka malungi, omuntu bw’agakozesa mu ngeri entuufu. 91:9 Bag 3:19Tusaanye tutegeere nga Amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo bamenyi baago na bajeemu, aboonoonyi, n’abatatya Katonda, n’abatali batukuvu, n’abagwenyufu, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era n’abatta abantu abalala, 101:10 2Ti 4:3; Tit 1:9n’abenzi, n’abalya ebisiyaga, abagula n’abatunda abaddu, abalimba n’abalayirira obwereere, ne bonna abatakkiriziganya na njigiriza ntuufu, 111:11 Bag 2:7ng’Enjiri ey’ekitiibwa kya Katonda atenderezebwa, gye yankwasa bw’eri.

Okwebaza Katonda olw’Ekisa kye

121:12 Baf 4:13Neebaza Kristo Yesu Mukama waffe eyampa amaanyi ag’okumuweereza. Mwebaza kubanga yalaba nga nsaanira, n’ankwasa omulimu gwe. 131:13 a Bik 8:3 b Bik 26:9Newaakubadde ng’edda namwogerangako bubi, ne mmuyigganya era ne mmuvuma, kyokka yansaasira, kubanga ebyo nabikolanga mu butamanya nga sinnaba kumukkiriza. 141:14 a Bar 5:20 b 2Ti 1:13Naye Mukama waffe yankwatirwa ekisa kingi n’ampa okukkiriza kungi, era n’okwagala kwe tufunira mu Kristo Yesu. 151:15 1Ti 3:1; 2Ti 2:11; Tit 3:8Ekigambo kino kituufu, kisaanye okukkiriza, ekigamba nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi. Mu bo nze mwonoonyi asookera ddala. 161:16 nny 13Katonda kyeyava ansaasira, Kristo Yesu alyoke ayoleseze mu nze, omwonoonyi asingira ddala okugumiikiriza kwe okutakoma, era mbeere ekyokulabirako eri abo abalimukkiriza ne bafuna obulamu obutaggwaawo. 171:17 a Kub 15:3 b Bak 1:15 c Bar 11:36Kabaka ow’olubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga, emirembe n’emirembe. Amiina.

181:18 a 1Ti 4:14 b 2Ti 2:3Mwana wange Timoseewo, nkukubiriza ojjukire ebigambo bya bannabbi bye baakwogerako edda, olyoke olwane olutalo n’obuzira, 191:19 1Ti 6:21ng’okukkiriza, n’omwoyo omulungi, bye byokulwanyisa byo. Kubanga abalala abagaana okuba n’omwoyo ogwo omulungi bafiirwa okukkiriza kwabwe. 201:20 a 2Ti 2:17 b 2Ti 4:14 c 1Ko 5:5Mu abo mwe muli Kumenayo ne Alegezanda be n’awaayo eri Setaani bayige obutavumanga Katonda.