1 Samwiri 8 – LCB & CARSA

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 8:1-22

Abayisirayiri Basaba Kabaka

18:1 Ma 16:18-19Samwiri bwe yakaddiwa, n’alonda batabani be okuba abalamuzi ba Isirayiri. 28:2 Lub 22:19; 1Bk 19:3; Am 5:4-5Erinnya lya mutabani we omukulu ye yali Yoweeri, n’owokubiri nga ye Abiya, ne balamulanga mu Beeruseba. 38:3 Kuv 23:8; Ma 16:19; Zab 15:5Naye batabani be ne batagoberera mpisa ze, ne bakyama ne banoonya amagoba, ne balya enguzi, era nga tebalamula mu bwenkanya.

48:4 1Sa 7:17Awo abakadde bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaana ne bajja eri Samwiri e Laama, 58:5 Ma 17:14-20ne bamugamba nti, “Laba, okaddiye ne batabani bo tebagoberera mpisa zo, kaakano tulondere kabaka anaatukulemberanga, tubeere ng’amawanga amalala gonna.”

68:6 1Sa 15:11Naye bwe baayogera nti, “Tuwe kabaka anaatukulemberanga,” ne kitasanyusa Samwiri. Samwiri n’asaba eri Mukama. 78:7 Kuv 16:8; 1Sa 10:19Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, “Wuliriza ebigambo byonna abantu bye bakugamba. Tebajeemedde ggwe, naye bajeemedde nze nneme kuba kabaka waabwe. 8Okusinziira ku bikolwa byabwe okuva ku lunaku lwe nabaggya mu Misiri okutuusa ku lunaku lwa leero, bwe banjeemera, ne baweereza bakatonda abalala, nawe bwe batyo bwe bakuyisa. 98:9 nny 11-18; 1Sa 10:25Kaakano bawulirize, naye obalabulire ddala, era obategeeze ebintu byonna kabaka anaabafuga by’alibakola.”

10Awo Samwiri n’ategeeza abantu abaali bamusaba kabaka, ebigambo byonna Mukama bye yamugamba. 118:11 a 1Sa 10:25; 14:52 b Ma 17:16; 2Sa 15:1N’abagamba nti, “Bino bye bintu kabaka alibafuga by’alibakola: alitwala batabani bammwe n’abafuula abagoba ab’amagaali ge n’abeebagazi ab’embalaasi ze, n’abamu okuddukiranga mu maaso ag’amagaali ge. 128:12 1Sa 22:7Abamu ku bo alibafuula abaduumizi b’enkumi, n’abalala n’abafuula abaduumizi b’ataano, n’abalala okumulimiranga ennimiro ze n’okuzikungulanga, n’abalala okuweesanga ebyokulwanyisa n’ebintu eby’amagaali ge. 13Alitwala bawala bammwe, okumuteekerateekera ebyakaloosa, n’okumufumbiranga, n’okumukoleranga emigaati. 148:14 a Ez 46:18 b 1Bk 21:7, 15Alitwala ennimiro zammwe ennungi, n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu n’ez’emizeeyituuni, n’aziwa abaweereza be. 15Alitwala ekimu eky’ekkumi eky’emmere yammwe ey’empeke, n’eky’ennimiro zammwe ez’emizabbibu, n’akigabira abakungu be n’abaweereza be. 16Alitwala abaweereza bammwe abasajja n’abaweereza bammwe abakazi, n’abavubuka bammwe abasinga obulungi n’endogoyi, n’abyeddiza. 17Alitwala ekimu eky’ekkumi ku bisibo byammwe, mmwe n’abafuula abaweereza be. 188:18 Nge 1:28; Is 1:15; Mi 3:4Luliba lumu, mulyekkokkola kabaka wammwe gwe mwerondera, naye Mukama talibafaako ku lunaku olwo.”

198:19 Is 66:4; Yer 44:16Naye abantu ne bagaana okuwuliriza Samwiri, ne boogera nti, “Nedda! Twagala kabaka okutufuga, 208:20 nny 5naffe tubeere ng’amawanga amalala gonna, nga tulina kabaka atufuga ayinza okutukulembera n’atulwanira entalo zaffe.”

218:21 Bal 11:11Awo Samwiri bwe yawulira ebigambo byonna eby’abantu, n’abiddiramu Mukama. 228:22 nny 7Mukama n’addamu Samwiri nti, “Bawulirize obalondere kabaka.”

Awo Samwiri n’agamba abantu ba Isirayiri nti, “Buli omu ku mmwe addeyo ewuwe.”

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

1 Царств 8:1-22

Народ требует себе царя

1Состарившись, Шемуил назначил судьями над Исраилом двух своих сыновей. 2Его первенца звали Иоиль, а второго сына – Авия. Они были судьями в Беэр-Шеве. 3Но его сыновья не следовали по отцовским стопам. Они гонялись за нечестной наживой, брали взятки и извращали правосудие.

4Все старейшины Исраила собрались вместе и пришли к Шемуилу в Раму. 5Они сказали ему:

– Ты стар, а твои сыновья не следуют по твоим стопам. Поставь же над нами царя, чтобы он вёл нас, как это есть у всех других народов.

6Но когда они сказали: «Дай нам царя, чтобы он вёл нас», это не понравилось Шемуилу. Он помолился Вечному, 7и Вечный сказал ему:

– Послушайся всего, что говорит тебе народ. Не тебя они отвергли, они отвергли Меня как своего Царя. 8Как они поступали со Мной с того дня, как Я вывел их из Египта, и до сегодняшнего дня, оставляя Меня и служа другим богам, так они поступают и с тобой. 9Итак, послушайся их, но строго предупреди и расскажи, что станет делать царь, который будет ими править.

10Шемуил пересказал все слова Вечного народу, который просил у него царя. 11Он сказал:

– Вот что станет делать царь, который будет вами править: он возьмёт ваших сыновей и заставит их служить при своих колесницах и лошадях, и они будут бегать перед его колесницами. 12Некоторых он назначит начальниками над тысячью воинами, а некоторых – над пятьюдесятью. Одним он повелит пахать его землю и собирать его урожай, а другим – делать воинское оружие и снаряжение для его колесниц. 13Он возьмёт ваших дочерей, чтобы они приготавливали благовония, готовили пищу и пекли хлеб. 14Он возьмёт у вас лучшие поля, виноградники и оливковые рощи и отдаст их своим слугам. 15Он возьмёт десятую часть вашего зерна и винограда и отдаст своим приближённым и слугам. 16Ваших слуг и служанок, и ваших юношей, и ваших ослов он заберёт себе. 17Он возьмёт десятую часть вашего мелкого скота, а сами вы станете у него рабами. 18Когда этот день наступит, вы взмолитесь об избавлении от царя, которого выбрали, но Вечный не ответит вам.

19Но народ отказался слушать Шемуила.

– Нет! – сказали они. – Мы хотим, чтобы над нами был царь. 20Тогда мы будем как все другие народы: царь будет править нами, выходить перед нами и вести наши войны.

21Услышав всё, что сказал народ, Шемуил повторил это перед Вечным. 22Вечный ответил:

– Послушайся их и дай им царя.

Тогда Шемуил сказал исраильтянам:

– Идите каждый в свой город.