1 Samwiri 5 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 5:1-12

Abafirisuuti n’Essanduuko ya Mukama mu Asudodi ne Ekuloni

15:1 a 1Sa 4:1; 7:12 b Yos 13:3Awo Abafirisuuti bwe bawamba essanduuko ya Katonda, ne bagiggya Ebenezeri ne bagitwala mu Asudodi; 25:2 Bal 16:23ne bagisitula ne bagiteeka mu ssabo lya Dagoni5:2 Dagoni ye yali lubaale omukulu ow’Abafirisuuti (laba Bal 16. 23), okuliraana Dagoni. 35:3 Is 19:1; 46:7Awo abantu ba Asudodi bwe baagolokoka enkeera, baasanga Dagoni agudde mu maaso g’essanduuko ya Mukama. Ne basitula Dagoni ne bamuzzaawo. 45:4 Ez 6:6; Mi 1:7Era ne bwe baagolokoka enkeera ku lunaku olwaddirira, baasanga Dagoni agudde mu maaso g’essanduuko ya Mukama, ng’omutwe gwe n’emikono gye bikutuseeko nga bigudde mu mulyango, ng’ekiwuduwudu kye, kye kisigaddewo. 55:5 Zef 1:9Bakabona ba Dagoni n’abo bonna abayingira mu ssabo lya Dagoni kyebava balema okulinnya ku mulyango gw’essabo lye, ne leero.

65:6 a nny 7; Kuv 9:3; Zab 32:4; Bik 13:11 b Kuv 9:11; Zab 78:66 c Ma 28:27; 1Sa 6:5Omukono gwa Mukama ne gubonereza abantu b’e Asudodi n’emiriraano, n’abaleetako entiisa era ne bakwatibwa ebizimba. 7Awo abantu b’e Asudodi bwe baalaba ebyabatuukako ne boogera nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri teteekwa kusigala wano naffe, kubanga omukono gwe gutuliko era guli ne ku lubaale waffe Dagoni.” 85:8 nny 11Ne bakuŋŋaanya abakungu bonna ab’Abafirisuuti ne bababuuza nti, “Tunaakola tutya essanduuko ya Katonda wa Isirayiri?” Ne baddamu nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri etwalibwe e Gaasi.” Awo ne batwala eyo essanduuko ya Katonda wa Isirayiri.

95:9 nny 6, 11; Ma 2:15; 1Sa 7:13; Zab 78:66Naye bwe baagituusa eyo, omukono gwa Mukama ne gulwana n’ekibuga ekyo, ne waba okutya kungi nnyo nnyini mu batuuze b’ekibuga ekyo. Abakulu n’abato n’abaleetako ebizimba ku bitundu byabwe eby’ekyama. 10Kyebaava baweereza essanduuko ya Katonda mu Ekuloni.

Naye essanduuko ya Katonda bwe yali ng’eneetera okutuuka mu Ekuloni, Abaekuloni ne bakaaba nga boogera nti, “Batuleetedde essanduuko ya Katonda wa Isirayiri, okututta n’abantu baffe.” 115:11 nny 6, 8-9Awo ne bakuŋŋaanya abakungu bonna ab’Abafirisuuti, ne babagamba nti, “Muzzeeyo essanduuko ya Katonda wa Isirayiri mu kifo kyayo, ereme kututta ffe n’abantu baffe.” Omukono gwa Katonda gwali gubazitooweredde nnyo era nga bajjudde entiisa ey’okufa. 12Abo abataafa baalwala ebizimba, okukaaba mu kibuga ne kutuuka mu ggulu.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

撒母耳记上 5:1-12

约柜在非利士人手中

1非利士人将掳来的上帝的约柜从以便以谢抬到亚实突城, 2把它抬进大衮庙,放在大衮神像旁边。 3第二天早上,亚实突人起来,发现大衮神像倒在耶和华的约柜前,面伏于地,他们就把大衮神像扶起来,放回原处。 4次日早上起来,他们又发现大衮神像倒在耶和华的约柜前,面伏于地,头和双手都在门槛处折断了,只剩下躯干。 5因此,大衮的祭司和所有进亚实突大衮庙的人至今都不踏庙的门槛。 6耶和华重重地惩罚亚实突及附近村庄的居民,使他们都患上毒疮。 7亚实突人见此情形,就说:“以色列上帝的约柜不能留在我们这里,因为上帝重重地惩罚我们和我们的大衮神。” 8亚实突人召集了非利士所有的首领,问他们:“我们如何处理以色列上帝的约柜?”他们答道:“把它送到迦特去。”于是,众人把以色列上帝的约柜送到迦特9约柜抵达迦特的时候,耶和华攻击那城,使那里的男女老少都患了毒疮,全城惊恐不已。 10于是,他们把约柜送往以革伦以革伦的人看见上帝的约柜到了,就惊叫道:“他们把以色列上帝的约柜带来是要害死我们和我们的人民!” 11他们派人召集非利士的首领,说:“把以色列上帝的约柜送回原处吧,免得它杀害我们和我们的人民。”因为上帝重重地惩罚他们,全城都笼罩在死亡的恐惧中。 12那些没有死的人都饱受毒疮的折磨,城中的哭喊声上达于天。