1 Samwiri 4 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 4:1-22

Abafirisuuti Bawamba Essanduuko ya Katonda

14:1 a 1Sa 7:12 b Yos 12:18; 1Sa 29:1Awo ekigambo kya Samwiri ne kibuna Isirayiri yenna.

Mu biro ebyo Abayisirayiri ne balumba Abafirisuuti, Abayisirayiri ne basiisira okumpi ne Ebenezeri, ate nga Abafirisuuti bo basiisidde mu Afeki. 2Abafirisuuti ne basimba ennyiriri okulumba Abayisirayiri ne bayungula eggye lyabwe okulumba; olutalo bwe lwanyiinyiitira, Abayisirayiri ne bawangulibwa, era enkumi nnya ku bo ne battibwa. 34:3 a Yos 7:7 b Kbl 10:35; Yos 6:7Abalwanyi bwe baddayo mu nkambi, abakadde ba Isirayiri ne beebuuzaganya nti, “Lwaki Mukama alese Abafirisuuti okutuwangula leero? Tuleete essanduuko ya Mukama ey’endagaano okuva e Siiro, tugende nayo etuwonye amaanyi g’abalabe baffe.”

44:4 Kuv 25:22; 2Sa 6:2Awo abantu ne batuma abasajja e Siiro, ne baggyayo essanduuko ey’endagaano ya Mukama Ayinzabyonna, atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka wakati mu bakerubi. Batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi nabo ne bagenda n’essanduuko ya Katonda ey’endagaano.

54:5 Yos 6:5, 10Essanduuko ya Mukama ey’endagaano bwe yatuuka mu nkambi ey’Abayisirayiri, bonna ne baleekaanira waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka, n’ettaka ne liyuuguuma. 6Awo Abafirisuuti bwe baawulira oluyoogaano ne beebuuza nti, “Oluyoogaano olwo lwonna mu nkambi ey’Abaebbulaniya lutegeeza ki?”

Bwe baategeera nti essanduuko ya Mukama ereeteddwa mu nkambi, 74:7 Kuv 15:14Abafirisuuti ne batya. Ne boogera nti, “Lubaale azze mu nkambi. Tufudde! Tewabangawo kigambo ekifaanana bwe kityo. 8Zitusanze! Ani ayinza okutuwonya balubaale4:8 Abafirisuuti bakkiririzanga mu bakatonda bangi. bano ab’amaanyi? Bano be balubaale abaabonyaabonya Abamisiri n’endwadde n’ebibonoobono ebya buli ngeri mu ddungu. 94:9 Bal 13:1; 1Ko 16:13Abafirisuuti, mugume omwoyo, mube basajja. Bwe kitaabe bwe kityo munaaba baddu b’Abaebbulaniya nga bo bwe babadde abaweereza bammwe. Mube basajja mulwane.”

104:10 nny 2; Ma 28:25; 2Sa 18:17; 2Bk 14:12Abafirisuuti ne beerwanako ne bawangula Abayisirayiri. Buli Muyisirayiri n’addukira mu nsiisira ye. Ne waba okuttibwa kunene nnyo, Abayisirayiri ne bafiirwa abaserikale abaatambuzanga ebigere emitwalo esatu. 114:11 1Sa 2:34; Zab 78:61, 64Essanduuko ya Katonda n’ewambibwa, era ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi ne battibwa.

Okufa Kwa Eri

124:12 Yos 7:6; 2Sa 1:2; 15:32; Nek 9:1; Yob 2:12Olunaku lwe lumu ne wabaawo omusajja Omubenyamini eyava mu lutalo n’adduka okutuuka e Siiro, ng’ayuzizza engoye ze n’omutwe gwe nga gujjudde enfuufu. 134:13 nny 18; 1Sa 1:9Bwe yatuuka, Eri yali atudde mu ntebe ye ku mabbali g’ekkubo ng’atunula, nga yeeraliikiridde olw’essanduuko ya Katonda. Omusajja bwe yatuuka mu kibuga n’asaasaanya amawulire ku ebyo ebibaddewo, ekibuga kyonna ne kikuba ebiwoobe.

14Eri bwe yawulira oluyoogaano n’abuuza nti, “Oluyoogaano luno luva ku ki?”

Omusajja n’ayanguwa n’atuuka awaali Eri n’amutegeeza. 154:15 1Sa 3:2Eri yali aweza emyaka egy’obukulu kyenda mu munaana, amaaso ge nga gayimbadde, era nga n’okulaba takyalaba. 16Omusajja oyo n’ategeeza Eri nti, “Naakava mu lutalo, era nziruseeyo leero.”

Eri n’amubuuza nti, “Bigenze bitya mwana wange?” 17Omusajja eyaleeta amawulire n’amuddamu nti, “Isirayiri edduse Abafirisuuti, era eggye lyaffe lifiiriddwa abalwanyi bangi. Ate ne batabani bo bombi Kofuni ne Finekaasi battiddwa, era n’essanduuko ya Katonda ewambiddwa.”

184:18 nny 13Olwayogera ku ssanduuko ya Katonda, Eri n’asirituka okuva ku ntebe ye n’agwa okumpi n’omulyango. Ensingo ye n’emenyeka n’afiirawo kubanga yali musajja mukadde nnyo ate nga n’obuzito muzito. Yali akulembedde Isirayiri okumala emyaka amakumi ana.

19Mu kiseera ekyo muka mwana we, Finekaasi, yali lubuto era ng’anaatera okuzaala. Bwe yawulira amawulire nti Essanduuko ya Katonda ewambiddwa era nti ne ssezaala we ne bba bafudde, n’alumwa era n’azaalirawo, kubanga obulumi bwamuyitirirako. 20Omukazi oyo bwe yali ng’anaatera okufa, abamuzaalisa ne bamugamba nga boogera nti, “Totya, kubanga ozadde mulenzi.” Naye n’atabaanukula wadde okubassaako omwoyo.

214:21 a Lub 35:18 b Zab 26:8; Yer 2:11N’atuuma omwana erinnya Ikabodi, amakulu gaalyo nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isirayiri,” kubanga essanduuko ya Katonda yali ewambiddwa ate nga ssezaala we ne bba bafudde. 22N’ayogera nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isirayiri kubanga essanduuko ya Katonda ewambiddwa.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

撒母耳記上 4:1-22

約櫃被擄

1那時,以色列人去迎戰非利士人,他們在以便以謝紮營,非利士人在亞弗紮營。 2非利士人列陣與以色列人交戰,大敗以色列人,殺了他們四千人。 3軍隊回營後,以色列的長老說:「為什麼今天耶和華使我們敗在非利士人手下?我們從示羅把耶和華的約櫃抬來吧,讓它4·3 」或作「祂」。與我們同去,好從仇敵手中救我們。」

4於是,他們派人去示羅把那坐在基路伯天使上的萬軍之耶和華的約櫃抬來。以利的兩個兒子何弗尼非尼哈也隨上帝的約櫃同來。 5以色列人看見耶和華的約櫃到了營中,就高聲歡呼,聲音震天動地。 6非利士人聽見了喊聲就說:「希伯來人在營中喊什麼?」後來他們知道是耶和華的約櫃到了營中, 7就害怕起來,說:「有神明到了他們營中,我們大禍臨頭了,我們從來沒有遇過這種事情! 8我們大禍臨頭了!誰能從這些大能的神明手中救我們?在曠野用各種災禍毀滅埃及人的就是這些神明。 9非利士人啊,要剛強,做大丈夫。不然,我們就會成為希伯來人的奴隸,像他們做我們的奴隸一樣。我們要做大丈夫,奮力征戰。」

10非利士人和以色列人交戰,以色列人敗下陣來,紛紛逃回家中。他們傷亡慘重,損失了三萬步兵。 11上帝的約櫃被擄走了,以利的兩個兒子何弗尼非尼哈被殺身亡。

以利之死

12當天有一個便雅憫人逃出了戰場,他撕爛衣服,頭蒙灰塵,來到示羅13以利正坐在路旁的座位上觀望,因為他心裡為上帝的約櫃擔憂。那個從戰場回來的人進城報信後,全城的人都放聲大哭。 14以利聽見哭喊聲,就問:「人們為何喊叫?」那人趕忙告訴他。 15那時,以利已經九十八歲,眼睛因為年老而失明。 16報信的人對以利說:「我今天是從戰場逃回來的。」以利問:「我的孩子,情況怎麼樣?」 17報信的答道:「以色列人被非利士人擊潰,傷亡慘重,你的兩個兒子何弗尼非尼哈都死了,上帝的約櫃也被擄走了。」 18以利年老體胖,聽到約櫃被擄去,就從門邊的座位上向後跌倒,頸斷身亡。他做士師審理以色列人的事務共四十年。

19以利的兒媳婦、非尼哈的妻子當時懷孕在身,接近產期。她聽說上帝的約櫃被擄、公公和丈夫都死了,就突然陣痛,生下了孩子。 20在她彌留之際,身旁的婦人對她說:「不要怕,你生了一個男孩。」但她既不理會,也不回答。 21她給孩子取名叫以迦博,意思是:「榮耀離開以色列了」。這是因為上帝的約櫃被擄走,她的公公和丈夫都死了。 22她說:「榮耀離開了以色列,因為上帝的約櫃已經被擄走了。」