1 Samwiri 26 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 26:1-25

Dawudi Agaana Omulundi Ogwokubiri Okutta Sawulo

126:1 a 1Sa 23:19 b Zab 54Awo ab’e Zifu ne bagenda eri Sawulo e Gibea ne bamugamba nti, “Olowooza nga Dawudi teyeekwese ku lusozi Kakira, ku luuyi olw’ebuvanjuba olwolekera eddungu Yesimoni?”

226:2 1Sa 13:2; 24:2Awo Sawulo n’abasajja abolondemu enkumi ssatu aba Isirayiri, ne bagolokoka ne baserengeta mu ddungu ery’e Zifu, okunoonya Dawudi. 3Sawulo n’asiisira ku mabbali g’ekkubo ku lusozi Kakira okwolekera eddungu, naye Dawudi n’asigala mu ddungu. Awo bwe yalaba Sawulo ng’amugoberedde mu ddungu, 4n’atuma abakessi okukakasiza ddala obanga Sawulo yali atuuse.

526:5 1Sa 14:50; 17:55Dawudi n’agolokoka n’agenda mu kifo Sawulo we yali asiisidde. N’alaba Sawulo ne Abuneeri mutabani wa Neeri omuduumizi w’eggye, we baali beebase. Sawulo yali yeebase wakati mu lusiisira, ng’eggye limwetoolodde.

626:6 Bal 7:10-11; 1By 2:16Awo Dawudi n’abuuza Akimereki Omukiiti ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya26:6 Zeruyiya ye yali mwannyina Dawudi omukulu (1By 2:16). Noolwekyo Abisaayi, ne Yowaabu (eyafuuka omuduumizi w’eggye kya Dawudi) ne Asakeri baali batabani be (2Sa 2:18). nti, “Ani anaaserengeta nange, tugende mu lusiisira lwa Sawulo?” Abisaayi n’addamu nti, “Nze n’aserengeta naawe.”

7Awo Dawudi ne Abisaayi ne bagenda mu lusiisira ekiro, ne basanga Sawulo nga yeebase wakati mu lusiisira, effumu lye nga lisimbiddwa mu ttaka emitwetwe we. Abuneeri n’abaserikale baali beebase okumwetooloola.

8Abisaayi n’agamba Dawudi nti, “Leero, Katonda awaddeyo omulabe wo mu mukono gwo. Kale nno mpa olukusa mmufumitire wansi awo n’effumu. Siimufumite gwakubiri.”

926:9 a 2Sa 1:14 b 1Sa 24:5Naye Dawudi n’addamu Abisaayi nti, “Tomuzikiriza, kubanga ani ayinza okugolola omukono gwe okutta oyo Mukama gwe yafukako amafuta, n’ataba na musango? 1026:10 a 1Sa 25:38; Bar 12:19 b Lub 47:29; Ma 31:14; Zab 37:13 c 1Sa 31:6; 2Sa 1:1Mukama nga bw’ali omulamu, Mukama yennyini yali mukuba. Luliba lumu, olunaku lwe lulituuka n’afa, oba aligenda mu lutalo n’azikiririra eyo. 11Kikafuuwe nze okugolola omukono gwange okutta oyo Mukama gwe yafukako amafuta. Naye ddira effumu n’eccupa ey’amazzi ebiri emitwetwe we obisitule tugende.”

1226:12 Lub 2:21; 15:12Awo Dawudi n’aggyawo effumu n’eccupa ey’amazzi ebyali emitwetwe wa Sawulo ne bagenda. Tewali yabalaba newaakubadde okukitegeera, wadde okusisimuka, kubanga bonna Mukama yali abeebasiza otulo tungi nnyo.

13N’oluvannyuma Dawudi n’asomoka n’agenda emitala, n’ayimirira walako ku ntikko ey’olusozi, nga wakati waabwe waliwo ekibangirizi kinene. 14N’akoowoola eggye ne Abuneeri mutabani wa Neeri ng’ayogera nti, “Tonziremu gwe Abuneeri?” Abuneeri n’addamu nti, “Ggwe ani alangiriza kabaka?”

15Awo Dawudi n’agamba Abuneeri nti, “Oli musajja muzira, si bwe kiri? Ani akwenkana mu Isirayiri? Kiki ekyakulobedde okukuuma obulungi mukama wo kabaka? Kubanga waabaddewo omuntu eyazze okuzikiriza mukama wo kabaka. 16Ekyo kye wakoze si kirungi. Nga Mukama bw’ali omulamu, ggwe n’abasajja bo musaana kufa, olw’obulagajjavu bwammwe, kubanga temwakuumye mukama wammwe, Mukama gwe yafukako amafuta. Mutunule mwetegereze; effumu lya kabaka n’eccupa ey’amazzi ebyabadde emitwetwe wa kabaka biri ludda wa?”

1726:17 1Sa 24:16Sawulo n’ategeera nga ddoboozi lya Dawudi, n’abuuza nti, “Ye ggwe mutabani wange Dawudi?” Dawudi n’addamu nti, “Ye nze mukama wange kabaka.” 1826:18 1Sa 24:9, 11-14Dawudi n’amubuuza nti, “Lwaki oyigganya omuweereza wo? Nakola ki, era musango ki gwe nazza? 1926:19 a 2Sa 16:11 b 2Sa 14:16Kaakano nno, mukama wange kabaka wuliriza ebigambo by’omuweereza wo. Obanga Mukama ye yakusindise okunjigganya, akkirize ekiweebwayo. Naye bwe baba nga baana ba bantu, bakolimirwe mu maaso ga Mukama, kubanga leero bangobye nneme okugabana mu busika bwa Mukama nga bagamba nti, ‘Genda oweereze bakatonda abalala.’ 2026:20 1Sa 24:14Kale nno omusaayi gwange guleme okuyiyibwa wansi ewala Mukama gy’atabeera. Kabaka wa Isirayiri avuddeyo okunoonya enkukunyi, ng’omuntu bwe yandiyizze enkwale mu nsozi.”

2126:21 a Kuv 9:27; 1Sa 15:24 b 1Sa 24:17Awo Sawulo n’ayogera nti, “Nnyonoonye. Komawo mutabani wange Dawudi. Sigenda kuddamu kugezaako kukukolako kabi n’akamu, kubanga leero ondaze, obulamu bwange bwe buli obw’omuwendo mu maaso go. Laba neeyisizza ng’omusirusiru, era nnyonoonye ekiyitiridde.”

22Dawudi n’addamu nti, “Effumu lya kabaka liirino. Tuma omu ku bavubuka bo ajje aliddukire. 2326:23 a Zab 62:12 b Zab 7:8; 18:20, 24Mukama asasula buli muntu ng’obutuukirivu bwe n’obwesigwa bwe, bwe biri. Mukama yakuwaddeyo mu mukono gwange leero, naye ne sigolola mukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta. 2426:24 Zab 54:7Nga bwe mbaliridde obulamu bwo okuba obw’omuwendo leero, kale obulamu bwange bubeere bwa muwendo mu maaso ga Mukama, era andokole mu bizibu byonna.”

25Awo Sawulo n’addamu nti, “Oweebwe omukisa mutabani wange Dawudi. Olikola ebintu ebikulu bingi era oliraba omukisa mu byo.”

Awo Dawudi n’agenda amakubo ge, ne Sawulo ne yeddirayo ewuwe.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

撒母耳记上 26:1-25

大卫再次放过扫罗

1西弗人到基比亚扫罗,说:“大卫正躲在旷野附近的哈基拉山中。” 2扫罗就带领三千以色列精兵到西弗的旷野去追捕大卫3他们在旷野附近路边的哈基拉山上扎营。大卫在旷野听说扫罗追来了, 4就派人去打探消息,得知扫罗的追兵果然已到。 5大卫来到扫罗的营地,看见了他和他的元帅——尼珥的儿子押尼珥睡觉的地方,他睡在军营中间,其他人围绕着他扎营。 6大卫亚希米勒洗鲁雅的儿子约押的兄弟亚比筛:“谁愿意跟我到扫罗的营里?”亚比筛答道:“我愿意。” 7大卫亚比筛就趁夜间走进扫罗的军营,发现扫罗正在熟睡,他的矛插在地上,靠近他的头,押尼珥和其他人睡在他周围。 8亚比筛大卫说:“现在上帝把你的敌人交在你手中了,让我一矛把他钉在地上,决不用刺第二下。” 9大卫却说:“不要杀他,谁杀害耶和华所膏立的王,都难逃罪责。 10我凭永活的耶和华起誓,耶和华必亲手击杀他。他要么寿终而死,要么命丧沙场。 11我在耶和华面前绝不敢出手伤害祂所膏立的王。我们拿走他旁边的矛和水瓶吧。” 12大卫拿上扫罗的矛和水瓶同亚比筛离开了,没有人看见,没有人知道,他们都在沉睡,没有人醒来,因为耶和华使他们都熟睡了。

13大卫爬上营地对面的山坡,远远地站在山顶上,与他们相距很远。 14他呼喊扫罗的士兵和尼珥的儿子押尼珥:“押尼珥,你回答我!”押尼珥问道:“你是谁,竟敢在王面前喊叫?” 15大卫说:“你不是勇士吗?在以色列有谁比得上你呢?有人来刺杀你的王,你的主,你为何没有保护他呢? 16你失职了。我凭永活的耶和华起誓,你们都该死。因为你们没有保护你们的主——耶和华所膏立的王。你看看王身边的矛和水瓶在哪里?”

17扫罗听出是大卫的声音,就说:“我儿大卫!是你吗?”大卫答道:“我主我王啊,是我。 18我主为什么又要追杀仆人呢?我做错了什么,犯了什么罪? 19我主我王,请听仆人说,如果是耶和华使你与我作对,愿祂悦纳我献上的祭物;如果这是出于人的主意,愿他们在耶和华面前受咒诅。因为他们赶我离开耶和华所赐的产业,叫我去服侍外族人的神明。 20求你不要让我死在远离耶和华的异乡!以色列王为何要像在山上猎杀鹧鸪一样追捕一只跳蚤呢?”

21扫罗说:“我犯罪了。我儿大卫,你回来吧,我不会再伤害你,因为你今日保存了我的性命。我真是糊涂,犯了大错。” 22大卫答道:“王的矛在这里,请派一个人来拿回去吧。 23耶和华赐福给公义、信实的人。今天耶和华把你交在我手中,但我不愿下手伤害耶和华所膏立的王。 24我今天保存了你的性命,愿耶和华也保存我的性命,救我脱离一切患难。” 25扫罗大卫说:“我儿大卫,愿你蒙福。你一定能建功立业,战胜仇敌。”于是,大卫起身离开,扫罗也回家去了。