1 Samwiri 16 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 16:1-23

Samwiri Afuka Amafuta ku Dawudi

116:1 a 1Sa 15:35 b 1Sa 15:23 c 2Bk 9:1 d Lus 4:17; 1Sa 9:16 e Zab 78:70; Bik 13:22Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, “Olituusa ddi okunakuwala olwa Sawulo, ate nga nze sikyamubala kuba kabaka wa Isirayiri? Jjuza ejjembe lyo amafuta nkutume eri Yese Omubesirekemu kubanga nnonze omu ku batabani be okuba kabaka.”

2Naye Samwiri n’ayogera nti, “Nnaagenda ntya? Sawulo bw’anakiwulira ajja kunzita.” Mukama n’amugamba nti, “Weetwalire ennyana oyogere nti, ‘Nzize kuwaayo ssaddaaka eri Mukama.’ 316:3 a Kuv 4:15 b Ma 17:15; 1Sa 9:16Yita Yese ajje okuwaayo ssaddaaka, nzija kukulaga eky’okukola. Ojja kufuka amafuta ku oyo gwe nnaaba nnonze.”

416:4 a Lub 48:7; Luk 2:4 b 1Bk 2:13; 2Bk 9:17Samwiri n’akola ekyo Mukama kye yamulagira. Bwe yatuuka e Besirekemu abakulu b’ekibuga ne bakankana olw’okutya bwe baamusisinkana era ne bamubuuza nti, “Ojja mirembe?” 516:5 Kuv 19:10, 22N’abaddamu nti, “Weewaawo, mirembe. Nzize okuwaayo ssaddaaka eri Mukama. Mwetukuze tugende ffenna tuweeyo ssaddaaka.” N’atukuza Yese ne batabani be, n’abayita okujja okuwaayo ssaddaaka.

616:6 1Sa 17:13Bwe baatuuka n’atunuulira Eriyaabu, n’alowooza nti, “Mazima Mukama ono gw’afuseeko amafuta, era y’ayimiridde kaakano mu maaso ga Mukama.” 716:7 a Zab 147:10 b 1Bk 8:39; 1By 28:9; Is 55:8Naye Mukama n’agamba Samwiri nti, “Totunuulira nfaanana ye wadde obuwanvu bwe, kubanga si gwe nnonze. Mukama tatunuulira ebyo abantu bye batunuulira. Abantu batunuulira bya kungulu naye Mukama atunuulira bya mu mutima.”

816:8 1Sa 17:13Awo Yese n’ayita Abinadaabu, n’amuyisa mu maaso ga Samwiri. Naye Samwiri n’ayogera nti, “Oyo naye Mukama si gw’alonze.” 9Yese n’ayita Samma n’amusimbawo, naye Samwiri n’ayogera nti, “Era n’oyo Mukama si gw’alonze.” 10Yese n’ayisa batabani be omusanvu mu maaso ga Samwiri, naye Samwiri n’amugamba nti, “Ku bo tekuli n’omu Mukama gw’alonze.” 1116:11 1Sa 17:12N’abuuza Yese nti, “Bano be batabani bo bokka?” Yese n’addamu nti, “Ekyasigaddeyo asingira ddala obuto, alunda ndiga.” Samwiri n’agamba Yese nti, “Mutumye; tetujja kuweera okutuusa lw’anajja.”

1216:12 a 1Sa 9:17 b Lub 39:6; 1Sa 17:42N’amutumya, n’aleetebwa. Yali mumyufu, n’amaaso ge nga malungi, era ng’alabika bulungi nnyo. Awo Mukama n’ayogera nti, “Golokoka omufukeko amafuta; ye wuuyo.” 1316:13 a Kbl 27:18; Bal 11:29 b 1Sa 10:1, 6, 9-10; 11:6Awo Samwiri n’addira ejjembe ly’amafuta, n’agamufukako mu maaso ga baganda be. Okuva ku lunaku olwo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Dawudi mu maanyi mangi. Oluvannyuma Samwiri n’addayo e Laama.

Dawudi Aweereza Sawulo

1416:14 a Bal 16:20 b Bal 9:23; 1Sa 18:10Awo Omwoyo wa Mukama Katonda yali avudde ku Sawulo, omwoyo omubi ogwava eri Mukama ne gumucoccanga.

15Awo abaweereza ba Sawulo ne bamuleetera ekiteeso nti, “Laba, omwoyo omubi okuva eri Katonda gukucocca. 1616:16 nny 23; 1Sa 18:10; 19:9; 2Bk 3:15Mukama waffe alagire abaweereza be kaakano okumunoonyeza omuntu asobola okukuba entongooli. Omwoyo omubi okuva eri Katonda bwe gunaabanga gukusseeko, bw’anagikubanga n’oddamu endasi, onoowuliranga bulungi n’okkakkana.”

17Awo Sawulo n’alagira abaweereza be nti, “Munfunireyo omuntu asobola okukuba entongooli obulungi, mumundeetere.” 1816:18 1Sa 3:19; 17:32-37Omu ku baweereza n’addamu nti, “Waliwo mutabani wa Yese Omubesirekemu gwe nalaba asobola okukuba entongooli obulungi. Musajja muzira era mulwanyi, ate nga mwogezi mulungi, era alabika bulungi. Ate Mukama Katonda ali wamu naye.” 19Awo Sawulo n’atuma ababaka eri Yese, ng’agamba nti, “Mpeereza mutabani wo Dawudi, alabirira endiga.” 2016:20 1Sa 10:27; Nge 18:16Yese n’addira endogoyi n’agitikka emigaati, n’eccupa y’envinnyo n’omwana gw’embuzi, n’abiweereza wamu ne mutabani we Dawudi eri Sawulo.

2116:21 Lub 41:46; Nge 22:29Dawudi n’atuuka eri Sawulo, n’afuuka omu ku baweereza be. Sawulo n’amwagala nnyo, era n’amufuula omu ku abo abaasitulanga ebyokulwanyisa bye. 22Awo Sawulo n’atumira Yese ng’agamba nti, “Kkiriza Dawudi asigale ng’omu ku baweereza bange, kubanga nsiimye by’ankolera.”

2316:23 nny 14-16Awo buli omwoyo omubi okuva eri Katonda lwe gw’ajjanga ku Sawulo, Dawudi n’amukubiranga entongooli, Sawulo n’akkakkana, era n’awulira bulungiko, n’omwoyo omubi ne gumuvaako.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

撒母耳记上 16:1-23

撒母耳膏立大卫做王

1耶和华对撒母耳说:“我已经拒绝让扫罗以色列王了,你还要为他哀伤多久呢?把你的角盛满膏油,我要差遣你到伯利恒耶西那里,我已选了他的一个儿子做王。” 2撒母耳说:“我怎么可以去呢?扫罗知道了,一定会杀掉我。”耶和华说:“你带一头牛犊去,就说,‘我是来向耶和华献祭的。’ 3你要请耶西参加献祭,我会告诉你怎么做,我会指示你膏立谁。” 4撒母耳遵行耶和华的吩咐,他来到伯利恒,那城的长老都战战兢兢地出来迎接他,问道:“你是为平安而来吗?” 5撒母耳答道:“是的,为平安而来,我是来向耶和华献祭的。你们要洁净自己,然后来和我一起献祭。”撒母耳耶西及其众子行过洁净礼后,便邀请他们参加献祭。

6耶西及其众子来了,撒母耳看见以利押,心里想:“这位肯定是耶和华要膏立的人。” 7但耶和华对撒母耳说:“不要看他相貌堂堂、身材高大,我要选的不是他。耶和华不像世人那样看人,人看外表,耶和华看内心。” 8耶西吩咐他的儿子亚比拿达撒母耳面前走过,但撒母耳说:“这也不是耶和华拣选的人。” 9耶西又叫沙玛撒母耳面前走过,但撒母耳说:“这也不是耶和华拣选的人。”耶西叫七个儿子一个一个从撒母耳面前走过,但撒母耳说他们都不是耶和华拣选的人。 10撒母耳耶西:“你的儿子全都到齐了吗?” 11耶西答道:“还有一个最小的,他正在田间放羊。”撒母耳耶西说:“派人叫他回来,他不来,我们就不入座。” 12耶西就派人去叫他回来。他面色红润,眉清目秀,相貌英俊。耶和华说:“就是他,起来膏立他吧。” 13撒母耳就拿出盛膏油的角,当着他哥哥们的面膏立他。从那天起,耶和华的灵降在大卫身上。事后,撒母耳拉玛去了。

大卫服侍扫罗

14耶和华的灵离开了扫罗,有个邪灵从耶和华那里来折磨他。 15扫罗的臣仆对他说:“现在有个邪灵从上帝那里来折磨你, 1616:16 ”希伯来文是“我们的主”。可以吩咐跟前的臣仆去找一个善于弹琴的人来。邪灵从上帝那里来到你身上的时候,他为你弹琴,你就会好。” 17扫罗说:“你们就为我找一个善于弹琴的人,带他到我这里来。” 18其中有一个仆人说:“我见过伯利恒耶西的一个儿子,他善于弹琴,英勇善战,谈吐合宜,相貌英俊,并且耶和华与他同在。” 19扫罗便差遣使者去见耶西,说:“请让你放羊的儿子大卫到我这里来。” 20耶西就把一些饼、一皮袋酒和一只山羊羔驮在驴背上,让儿子大卫带去送给扫罗21大卫到了扫罗那里,做了他身边的侍臣。扫罗非常喜欢大卫,让大卫为他拿兵器。 22扫罗派人去见耶西,说:“你就让大卫留在我的身边吧,因为我喜欢他。” 23每当有邪灵从上帝那里来到扫罗身上的时候,大卫就为他弹琴,扫罗便觉得舒畅,邪灵也离开了他。