1 Samwiri 15 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 15:1-35

115:1 1Sa 9:16Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Mukama nze gwe yatuma okukufukako amafuta okuba kabaka w’abantu be Isirayiri, noolwekyo wuliriza obubaka obuva eri Mukama Katonda. 215:2 Kuv 17:8-14; Kbl 24:20; Ma 25:17-19Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna nti, ‘Ndibonereza Abamaleki olw’ekyo kye baakola Isirayiri bwe baabateega nga bayambuka okuva mu Misiri. 315:3 Kbl 24:20; Ma 20:16-18; Yos 6:17; 1Sa 22:19Kaakano genda olumbe Abamaleki obazikiririze ddala, n’ebintu byabwe byonna. Tobasaasira, otta abasajja n’abakazi, abaana n’abato ddala, ente, n’endiga, n’eŋŋamira n’endogoyi.’ ”

4Awo Sawulo n’akuŋŋaanya abasajja, n’ababalira e Terayimu, nga bawera abaserikale ab’ebigere emitwalo amakumi abiri, n’abalala omutwalo gumu okuva mu Yuda. 5Sawulo n’asemberera ekibuga kya Amaleki n’abateegera mu kiwonvu. 615:6 Kuv 18:10, 19; Kbl 10:29-32; 24:22; Bal 1:16; 4:1N’agamba Abakeeni nti, “Muve mu Bamaleki mugende nneme okubazikiririza awamu nabo, kubanga mwakolera Abayisirayiri bonna ebyekisa bwe bayambuka okuva mu Misiri.” Abakeeni ne basenguka okuva mu Bamaleki.

715:7 a 1Sa 14:48 b Lub 16:7; 25:17-18; Kuv 15:22Awo Sawulo n’alumba Abamaleki okuviira ddala e Kavira okutuuka e Ssuuli, ekiri ebuvanjuba w’e Misiri. 815:8 1Sa 30:1N’awamba Agagi kabaka w’Abamaleki nga mulamu, naye abantu abalala bonna n’abazikiririza ddala n’ekitala. 915:9 nny 3, 15Era Sawulo n’eggye ne baleka Agagi nga mulamu, era endiga n’ente, n’ennyana n’abaana b’endiga n’ebyassava, n’ebyo byonna bye baalaba nga bya muwendo, ne batabizikiririza ddala. Naye ebirala byonna ebitaali bya muwendo nga binyoomebwa oba nga binafu, ne babizikiririza ddala.

10Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Samwiri nti, 1115:11 a Lub 6:6; 2Sa 24:16 b Yos 22:16 c 1Sa 13:13; 1Bk 9:6-7 d nny 35“Nejjusizza okufuula Sawulo kabaka, kubanga avudde kukungoberera, n’atakolera ku biragiro byange.” Samwiri n’anyolwa nnyo, n’akabira Mukama ekiro kyonna.

1215:12 Yos 15:55Enkeera ku makya Samwiri n’agolokoka n’agenda okusisinkana Sawulo, naye ne bamutegeeza nti, “Sawulo yazze e Kalumeeri gye yeezimbidde ekijjukizo, kyokka kaakano avuddeyo n’aserengeta e Girugaali.”

13Awo Samwiri bwe yamutuukako, Sawulo n’ayogera nti, “Mukama akuwe omukisa. Ngoberedde ebiragiro bya Mukama.” 14Naye Samwiri n’amuddamu nti, “Ate okubejjagala okw’endiga n’okuŋooŋa kw’ente bye mpulira biva wa?” 15Sawulo n’amuddamu nti, “Abaserikale baaziggye ku Bamaleki. Baaleseewo ente n’endiga ezisinga obulungi okuba ebiweebwayo eri Mukama Katonda wo, naye ebirala byonna twabizikiririzza ddala.”

16Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Sirika! Ka nkutegeeze Mukama kye yaŋŋambye ekiro.” Sawulo n’amuddamu nti, “Ntegeeza.” 1715:17 1Sa 9:21Samwiri n’amugamba nti, “Newaakubadde nga wali weeraba ng’oli mutono, tewafuuka mukulu wa bika bya Isirayiri? Mukama yakufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri. 18Naakutuma omulimu, ng’agamba nti, ‘Genda ozikiririze ddala abalina ebibi abo Abamaleki, obalwanyise okutuusa lw’olibamalirawo ddala.’ 1915:19 1Sa 14:32Lwaki tewagondedde ddoboozi lya Mukama? Lwaki mwalulunkanidde omunyago ne mukola ekibi mu maaso ga Mukama?”

2015:20 nny 13Sawulo n’addamu Samwiri nti, “Nagondedde eddoboozi lya Mukama, era nagenze ku mulimu Mukama gwe yantumye. Nazikiririzza ddala Abamaleki era ne ndeeta Agagi kabaka waabwe. 21Abaserikale baatute endiga n’ente, ebisinga obulungi ku ebyo ebyali biteekeddwa okuzikirizibwa, babiweeyo eri Mukama Katonda wo e Girugaali.”

2215:22 Zab 40:6-8; 51:16; Is 1:11-15; Yer 7:22; Kos 6:6; Mi 6:6-8; Mat 12:7; Mak 12:33; Beb 10:6-9Naye Samwiri n’amugamba nti,

Mukama asanyukira nnyo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka,

okusinga okugondera eddoboozi lya Mukama?

Okugonda kusinga ssaddaaka,

era n’okuwuliriza kusinga amasavu g’endiga ennume.

2315:23 a Ma 18:10 b 1Sa 13:13Kubanga obujeemu buli ng’ekibi eky’okusamira,

era n’obukakanyavu buli ng’ekibi eky’okusinza bakatonda abalala.

Kubanga ojeemedde ekigambo kya Mukama,

naye akugaanye okuba kabaka.”

2415:24 a 2Sa 12:13 b Nge 29:25; Is 51:12-13Awo Sawulo n’agamba Samwiri nti, “Nyonoonye. Najeemedde ekiragiro kya Mukama era n’ebigambo byo, kubanga natidde abantu ne ŋŋendera ku bigambo byabwe. 2515:25 Kuv 10:17Kaakano nkusaba, osonyiwe ekibi kyange, okomewo nange nsobole okusinza Mukama.”

2615:26 1Sa 13:14Naye Samwiri n’amuddamu nti, “Sijja kuddayo naawe kubanga ovudde ku kigambo kya Mukama, ne Mukama akugaanye okuba kabaka wa Isirayiri.” 2715:27 1Bk 11:11, 31Awo Samwiri bwe yakyuka okugenda, Sawulo n’akwata ekirenge ky’ekyambalo kye, ne kiyulika. 2815:28 1Sa 28:17; 1Bk 11:31Samwiri n’amugamba nti, “Mukama akuyuzizzaako obwakabaka bwa Isirayiri leero, n’abuwa omu ku baliraanwa bo akusinga. 2915:29 a 1By 29:11; Tit 1:2 b Kbl 23:19; Ez 24:14Oyo ayitibwa Ekitiibwa kya Isirayiri talimba ate takyusakyusa kirowoozo kye, kubanga si muntu nti anaakyusa ekirowoozo kye.”

3015:30 Is 29:13; Yk 5:44; 12:43Sawulo n’addamu nti, “Nyonoonye, naye nzisaamu ekitiibwa mu maaso g’abakadde b’abantu bange, ne mu maaso ga Isirayiri, oddeyo nange, nsinze Mukama Katonda wo.” 31Awo Samwiri n’addayo ne Sawulo, Sawulo n’asinza Mukama.

32Samwiri n’alagira nti, “Mundeetere Agagi kabaka w’Abamaleki.”

Agagi n’ajja gy’ali ng’akankana naye ng’agamba mu mutima gwe nti, “Mazima ddala obubalagaze bw’okufa buyise.”

3315:33 Lub 9:6; Bal 1:7Naye Samwiri n’ayogera nti,

“Ng’ekitala kyo bwe kyaleetera abakazi abangi obutaba na baana,

ne nnyoko talibeera na mwana.”

Awo Samwiri n’atemaatema Agagi n’amuttira mu maaso ga Mukama e Girugaali.

3415:34 a 1Sa 7:17 b 1Sa 11:4Samwiri n’alyoka agenda e Laama, naye Sawulo ye n’agenda ewuwe mu Gibea ekya Sawulo. 3515:35 a 1Sa 19:24 b 1Sa 16:1Samwiri yanakuwala nnyo olwa Sawulo, era teyaddayo kulabagana ne Sawulo okutuusa Samwiri lwe yafa. Mukama n’anyolwa olw’okufuula Sawulo kabaka wa Isirayiri.