1 Peetero 5 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

1 Peetero 5:1-14

Katonda Talemererwa

15:1 a Bik 11:30 b Luk 24:48 c 1Pe 1:5, 7; Kub 1:9Noolwekyo mbulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe, omujulirwa w’okubonaabona kwa Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulirwa. 25:2 a Yk 21:16 b 1Ti 3:3Mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, mukiriisenga nga mukirabirira n’okwagala so si na kwemulugunya, nga mukolerera amagoba ag’obukuusa wabula olw’okujjumbira Katonda. 35:3 a Ez 34:4 b Baf 3:17Be mukulembera temubakambuwaliranga wabula mubakulemberenga nga mubalaga ekyokulabirako ekirungi. 45:4 1Ko 9:25Era Omusumba Omukulu bw’alikomawo, muliweebwa engule ey’ekitiibwa ekitaliggwaawo.

55:5 a Bef 5:21 b Nge 3:34; Yak 4:6Mmwe abavubuka, mugonderenga abakulu. Muweerezeganenga mwekka na mwekka n’obuwombeefu kubanga

“Katonda akyawa ab’amalala

naye abawombeefu abawa omukisa.”

65:6 Yak 4:10Noolwekyo mwewombeeke wansi w’omukono gwa Katonda ogw’amaanyi, naye alibagulumiza ng’obudde butuuse. 75:7 a Zab 37:5; Mat 6:25 b Beb 13:5Mumutwalirenga byonna bye mweraliikirira kubanga abalumirwa era afaayo ku buli ekibatuukako.

85:8 Yob 1:7Mutunulenga, mwekuume omulabe wammwe Setaani, atambulatambula ng’empologoma enjala gy’eruma egenda ng’ewuluguma ng’enoonya gw’eneerya. 95:9 a Yak 4:7 b Bak 2:5 c Bik 14:22Mumwaŋŋange ng’abalumbye, nga mwesiga Mukama, era mujjukire nti ebibonoobono ebiri ng’ebyo bituuka ne ku bakkiriza abalala mu nsi yonna.

105:10 a 2Ko 4:17 b 2Bs 2:17Bwe mulibonaabonera akaseera, Katonda waffe atukwatirwa ekisa ng’ayita mu Kristo, alibawa ekitiibwa kye ekitaliggwaawo. Alibakomyawo, alibazzaamu amaanyi, alibawanirira era alibanyweza. 115:11 Bar 11:36Ekitiibwa n’amaanyi bibeerenga gy’ali emirembe n’emirembe. Amiina.

125:12 a 2Ko 1:19 b Beb 13:22Ebbaluwa eno nzija kugikwasa Sirwano5:12 Sirwano Mu Luyonaani oluusi ayitibwa Siira, gwe mmanyi nga waaluganda mwesigwa ddala, agibaleetere. Nsuubira nga mbazizzaamu amaanyi mu bbaluwa eno, era nga mbalaze engeri Katonda gy’agabamu ekisa kye ekingi. Ebyo bye mbategeezezza bibayambe okunywerera mu kwagala kwe.

135:13 Bik 12:12Balonde bannammwe mu kkanisa y’e Babulooni, babalamusizza. Ne mutabani wange Makko naye abalamusizza.

14Mulamusagane n’okwagala okw’Ekikristaayo.

Emirembe gibeerenga mu mmwe mwenna abali mu Kristo.