1 Peetero 2 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

1 Peetero 2:1-25

Ejjinja Eddamu n’Eggwanga Ettukuvu

12:1 a Bef 4:22 b Yak 4:11Kale mukomye buli ngeri yonna ey’ettima, n’obulimba bwonna, n’obukuusa, n’obuggya, n’okwogera ekibi kwonna. 22:2 a 1Ko 3:2 b Bef 4:15, 16Ng’abaana abaakazaalibwa bwe beegomba amata, nammwe mwegombenga amata ag’omwoyo, muganywenga mukule era mulokolebwe, 32:3 Beb 6:5kubanga mwalega ku bulungi bwa Mukama.

42:4 nny 7Mujje gy’ali kubanga ye ly’ejjinja eddamu, abantu lye baasuula nga balowooza nti terigasa, kyokka eryalondebwa Katonda era ery’omugaso omunene ennyo. 52:5 a 1Ko 3:9 b 1Ti 3:15 c Is 61:6 d Baf 4:18; Beb 13:15Mujje gy’ali nga muli ng’amayinja amalamu, muzimbibwemu ennyumba ey’omwoyo. Mulyoke mube bakabona be abaweereza ssaddaaka ey’omwoyo, esiimibwa Katonda mu Yesu Kristo Mukama waffe. 62:6 a Bef 2:20 b Is 28:16Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti,

“Laba, nteeka mu Sayuuni,

ejjinja ery’oku nsonda ery’omuwendo omungi eddonde,

oyo eyeesiga Kristo,

taliswazibwa.”

72:7 a 2Ko 2:16 b Zab 118:22Ejjinja eryo lya muwendo mungi nnyo eri mmwe abakkiriza. Naye eri abatakkiriza,

“Lye jjinja abazimbi lye baagaana,

lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.”

82:8 a Is 8:14; 1Ko 1:23 b Bar 9:22Era

“Lye jjinja abantu lye beekoonako,

lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.”

Beesittala kubanga bajeemera ekigambo kya Katonda, nga bwe ky’ateekebwateekebwa.

92:9 a Ma 10:15 b Is 62:12 c Bik 26:18Naye mwe muli kika kironde, bakabona bw’obwakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu ba Katonda bennyini. Mwalondebwa mulyoke mutende ebirungi bya Katonda eyabaggya mu kizikiza n’abayingiza mu butangaavu bwe obutenkanika. 102:10 Kos 1:9, 10Edda temwali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda, era mwali temusaasirwa, naye kaakano Katonda abasaasidde.

Abaweereza ba Katonda

112:11 a Bag 5:16 b Yak 4:1Abaagalwa, mutegeerere ddala nti ku nsi kuno muli bayise. Kyenva mbeegayirira mwewale okwegomba kw’omubiri, kubanga kulwanagana n’omwoyo. 122:12 a Baf 2:15; 1Pe 3:16 b Mat 5:16; 9:8Mukuumenga empisa zammwe ennungi, abo be mubeera nabo abatakkiriza, newaakubadde baboogerako nti ebikolwa byammwe bibi, basobole okulaba ebirungi bye mukola, balyoke bagulumize Katonda ku lunaku lw’alirabikirako.

132:13 Bar 13:1Ku lwa Mukama waffe, mugonderenga buli kiragiro ky’abo abali mu buyinza, oba kabaka alina obufuzi obw’oku ntikko, 142:14 a Bar 13:4 b Bar 13:3oba abafuzi abalala b’atuma okubonerezanga abakola ebikolwa ebibi, era n’okusiimanga abo abakola ebikolwa ebirungi. 152:15 a 1Pe 3:17 b nny 12Kubanga Katonda asiima mukolenga ebirungi, mulyoke musirisenga abantu abasirusiru era abatalina kye bamanyi. 162:16 a Yk 8:32 b Bar 6:22Mubenga ba ddembe, kyokka nga temulyesigamya ku kukola bitasaana, wabula mulikozese ng’abaweereza ba Katonda. 172:17 a Bar 12:10 b Bar 13:7Mussengamu abantu bonna ekitiibwa, mwagalenga nnyo abooluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu ekitiibwa abafuzi.

Tulabire ku Kristo

182:18 a Bef 6:5 b Yak 3:17Abaddu, mugonderenga bakama bammwe, nga mubassaamu ekitiibwa ekijjuvu, si abo bokka abalungi n’abakwatampola naye n’abo abakambwe. 192:19 1Pe 3:14, 17Kubanga kya mukisa omuntu bw’abonyaabonyezebwa awatali nsonga, n’agumiikiriza olw’okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala. 202:20 1Pe 3:17Kale kitiibwa ki kye mufuna bwe mugumiikiriza mu kubonaabona olw’okukola ekibi? Naye Katonda abasiima bwe mugumiikiriza nga mubonyaabonyezebwa olw’okukola obulungi. 212:21 a Bik 14:22 b Mat 16:24Ekyo kye mwayitirwa kubanga ne Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, n’abalekera ekyokulabirako kye musaana okugoberera.

222:22 Is 53:9“Kristo teyakola kibi

wadde okwogera ebyobukuusa.”

23Bwe yavumibwa, ye teyavuma. Era abaamubonyaabonya teyabeewerera, wabula yeewaayo eri Katonda alamula awatali kusaliriza. 242:24 a Beb 9:28 b Bar 6:2Yesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri obutuukirivu. Olw’ebiwundu bye, muwonyezebbwa. 25Kubanga mwali muwabye ng’endiga, naye kaakano mukomezebbwaawo eri Omusumba era alabirira obulamu bwammwe.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

彼得前书 2:1-25

渴慕灵奶

1因此,你们既然已经除去一切恶毒、欺诈、虚伪、嫉妒和毁谤, 2就要像初生的婴儿一样渴慕纯净的灵奶,好不断成长,直到完全得救。 3因为你们尝过主恩的滋味是何等甘美。

灵宫活石

4主是活石,虽然被人弃绝,却被上帝拣选、视为宝贵。 5你们也如同活石,被用来建造属灵的宫殿,好做圣洁的祭司,借着耶稣基督献上蒙上帝悦纳的灵祭。 6因为圣经上说:

“看啊,我在锡安放了一块蒙拣选的宝贵房角石,

信靠祂的人必不会蒙羞。”

7所以,对你们信的人而言,这石头是宝贵的;但对那些不信的人来说,却是:

“工匠丢弃的石头,

已成了房角石。”

8也是:

“绊脚石和使人跌倒的磐石。”

他们跌倒是因为他们不顺服真道,这种下场早已注定了。

9但你们是蒙拣选的族群,是君尊的祭司,是圣洁的国度,是上帝的子民,因此你们可以宣扬上帝的美德。祂曾呼召你们离开黑暗,进入祂奇妙的光明。 10从前你们不是上帝的子民,现在却做了祂的子民;从前你们未蒙怜悯,现在却蒙了怜悯。

上帝的仆人

11亲爱的弟兄姊妹,你们是客旅,是寄居的,我劝你们要禁戒与灵魂为敌的邪情私欲。 12你们在异教徒当中要品行端正。这样,尽管他们毁谤你们是作恶的人,但看见你们的好行为,也会在主来的日子把荣耀归给上帝。

13为主的缘故,你们要服从人间的一切权柄,不管是居首位的君王, 14还是被君王派来赏善罚恶的官员。 15因为上帝的旨意是要你们行善,使那些愚昧无知的人哑口无言。 16你们是自由的人,不要以自由为借口去犯罪作恶,要做上帝的奴仆。 17要尊重所有的人,爱主内的弟兄姊妹,敬畏上帝,尊敬君王。

受苦的榜样

18你们做奴仆的,要存敬畏的心顺服主人,不但顺服那良善温和的,也要顺服那凶暴的。 19因为人若为了让良心对得起上帝而忍受冤屈之苦,就会得到恩福。 20如果你们犯罪受责打,能够忍受得住,有什么功劳呢?但如果你们因行善而受苦,还能忍受,就是上帝所喜悦的。

21你们蒙召也是为此,因为基督也为你们受过苦,给你们留下榜样,叫你们可以追随祂的脚步。 22祂没有犯罪,口中也没有诡诈。 23祂被辱骂也不还口,被迫害也不扬言报复,只把自己交托给按公义施行审判的上帝。 24祂被钉在十字架上,亲身担当了我们的罪,使我们向着罪死了,可以过公义的生活。因祂所受的鞭伤,你们得到了医治。 25从前你们好像是迷路的羊,现在却归向了你们灵魂的牧人和监护者。