1 Peetero 1 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

1 Peetero 1:1-25

Okulamusa

11:1 a 2Pe 1:1 b Mat 24:22 c Bik 16:7Nze Peetero omutume wa Yesu Kristo, mpandiikira abalonde ba Katonda, abaasaasaanira mu Ponto, ne mu Ggalatiya ne mu Kapadokiya, ne mu Asiya ne mu Bisuniya, 21:2 a Bar 8:29 b 2Bs 2:13 c Beb 10:22; 12:24Katonda Kitaffe be yasooka okumanya ne batukuzibwa Omwoyo olw’okugondere Yesu Kristo, era ne balongoosebwa n’omusaayi ggwe, ogwabamansirwako.

Ekisa n’emirembe byeyongerenga mu mmwe.

Essuubi Eddamu

31:3 a 2Ko 1:3; Bef 1:3 b Tit 3:5; Yak 1:18 c 1Ko 15:20Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo atenderezebwe. Olw’okusaasira kwe okungi twazaalibwa mu bulamu obulina essuubi omulundi ogwokubiri, olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu. 41:4 Bak 1:5Bw’atyo n’atusuubiza omugabo mu busika, ogw’olubeerera ogutakyusa langi era ogutafuma, gw’atuterekedde mu ggulu. 51:5 Yk 10:28Era Katonda, mu buyinza bwe, alibakuuma olw’okukkiriza kwammwe, n’abatuusa mu bulokozi obwateekebwateekebwa okubikkulirwa mu biro eby’enkomerero. 61:6 a Bar 5:2 b 1Pe 5:10 c Yak 1:2Ekyo, kijja kubasanyusa nnyo newaakubadde nga mujja kusanga ebizibu bya ngeri nnyingi okumala akaseera. 71:7 a Yak 1:3 b Yob 23:10; Zab 66:10; Nge 17:3 c Bar 2:7Kubanga okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe, kwa muwendo mungi nnyo okusinga zaabu egezebwa mu muliro n’ekakasibwa, kulyoke kusaanire ettendo n’ekitiibwa n’okugulumizibwa ku lunaku luli Mukama waffe Yesu Kristo lw’alirabikirako. 81:8 Yk 20:29Newaakubadde nga Yesu oyo temumulabangako, kyokka mumwagala, era ne kaakano temumulaba naye mumukkiriza ne mujjula essanyu eritayogerekeka ne mumugulumiza, 91:9 Bar 6:22era ekiva mu kukkiriza kwammwe kwe kulokolebwa kw’emyoyo gyammwe.

101:10 a Mat 26:24 b Mat 13:17Bannabbi baafuba nga bwe baasobola okuvumbula era n’okutegeera okulokolebwa kuno, ne bategeeza eby’omu maaso ku kisa kya Katonda ky’agenda okubawa. 111:11 2Pe 1:21Omwoyo wa Kristo ng’ali mu bo, yategeeza eby’omu maaso ku kubonaabona kwa Kristo era n’ekitiibwa ekiriddirira, ne bafuba okuvumbula omuntu gwe kirituukako n’ekiseera we kirituukira. 121:12 nny 25Bannabbi bano Katonda yabalaga nti ebyo tebabikola ku lwabwe, wabula ku lwammwe. Era kaakano Enjiri ebuuliddwa gye tuli ffenna. Yatubuulirwa mu maanyi ga Mwoyo Mutukuvu eyava mu ggulu. Bino by’ebintu ne bamalayika bye bayaayaanira okutegeera.

Twayitibwa kuba Batukuvu

13Noolwekyo mwetegeke nga muli bateefu, nga mutadde emitima gyammwe ku kisa kya Katonda ekiribaweebwa, Yesu Kristo bw’alirabika. 141:14 a Bar 12:2 b Bef 4:18Mugonderenga Katonda, kubanga muli baana be, muleme kufugibwa okwegomba kwammwe okubi okw’edda, kwe mwatambulirangamu mu butamanya. 151:15 2Ko 7:1; 1Bs 4:7Kale, nga Katonda eyabayita bw’ali omutukuvu, nammwe mubeerenga batukuvu mu byonna bye mukola. 161:16 Lv 11:44, 45Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Mubenga batukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu.”

171:17 a Bik 10:34 b Beb 12:28Mujjukire nti Kitammwe gwe musaba, asalira omusango buli muntu awatali kusaliriza, musaana mumusseemu ekitiibwa, nga mwetwala ng’abagenyi ku nsi kuno. 181:18 Mat 20:28Kubanga mumanyi nti mwanunulibwa mu mpisa zammwe embi ezaava ku bajjajjammwe. Temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo nga ffeeza oba zaabu. 191:19 a Yk 1:29 b Kuv 12:5Wabula mwanunulibwa n’omusaayi gwa Kristo ogw’omuwendo omungi ennyo, ogw’omwana gw’endiga ogutaliiko kamogo oba ebbala. 201:20 a Bef 1:4 b Beb 9:26Kristo yategekebwa dda nga n’ensi tennatondebwa, kyokka mu nnaku zino ezaakayita n’alabisibwa ku lwammwe. 211:21 Bar 4:24Mu ye, mwe mwayita okukkiriza Katonda eyamuzuukiza mu bafu, n’amuwa ekitiibwa, era okukkiriza kwammwe n’okusuubira kwammwe kyebivudde binywerera ku Katonda.

221:22 a Yak 4:8 b Yk 13:34; Beb 13:1Kale kaakano nga bwe mumaze okutukuza emyoyo gyammwe olw’okukkiriza amazima, ne mwagalanira ddala mu luganda lwennyini, mweyongere okwagalana n’omutima ogutaliimu bukuusa. 231:23 a Yk 1:13 b Beb 4:12Kubanga okusinziira mu kigambo kya Katonda ekiramu era eky’olubeerera, mwazaalibwa omulundi ogwokubiri. 24Kubanga,

“Abantu bonna bali ng’omuddo,

n’ekitiibwa kyabwe kiri ng’ekimuli ky’omuddo.

Omuddo gukala, ekimuli kyagwo ne kigwa.

251:25 Is 40:6-8Naye ekigambo kya Mukama Katonda kibeerera emirembe gyonna.”

Era ekigambo ekyo y’Enjiri eyababuulirwa.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

彼得前书 1:1-25

1我是耶稣基督的使徒彼得,写信给蒙上帝拣选,寄居在本都加拉太加帕多迦亚细亚庇推尼各地的人。 2你们蒙拣选是按照父上帝预先定好的旨意,借着圣灵得以圣洁,好顺服耶稣基督,并靠祂的血得到洁净。

愿上帝赐给你们丰丰富富的恩典和平安!

活泼的盼望

3愿颂赞归于我们主耶稣基督的父上帝!祂有无穷的怜悯,借着耶稣基督从死里复活使我们获得重生,有活泼的盼望, 4可以承受那不会朽坏、没有污点、不会衰残、为你们存留在天上的产业。 5你们这些因信而蒙上帝用大能保守的人,必能得到那已经预备好、在末世要显明的救恩。

6为此,即使现今你们必须暂时在百般试炼中忍受痛苦,也要满怀喜乐。 7这样,你们的信心经过试验便显明是真实的,比那经过火炼仍会坏掉的金子更加宝贵,使你们可以在耶稣基督显现时得到称赞、荣耀和尊贵。 8你们虽然没有见过基督,却爱祂;虽然现在看不见祂,却信祂,并且有无法形容、充满荣耀的喜乐。 9因为你们得到了信心带来的果效,就是你们的灵魂得救。

10有关这救恩,那些预言恩典要临到你们的众先知早已详细寻求查考了。 11基督的灵曾在他们心中指示他们,预言基督要受苦,然后得荣耀。他们便详细查考这些事会在什么时候、什么情况下发生。 12他们得到启示,知道他们传讲这些事不是为了自己,而是为了你们。现在,那些靠着从天上差来的圣灵向你们传福音的人,已经将这些事传给你们了。连天使也想把这些事看个明白。

要圣洁像主

13所以,要预备好你们的心,谨慎自律,专心盼望耶稣基督显现时要带给你们的恩典。 14你们既是顺服的儿女,就不要再像从前无知的时候那样放纵私欲。 15那呼召你们的是圣洁的,你们在一切事上也要圣洁。 16因为圣经上说:“你们要圣洁,因为我是圣洁的。”

17既然你们称呼那位按各人的行为公正无私地审判人的上帝为父,就应该存着敬畏的心过你们在世上寄居的日子。 18要知道,你们从传统的、没有意义的生活中被救赎出来,不是靠金银等会朽坏的东西, 19而是靠无瑕无疵的代罪羔羊——基督的宝血。 20基督是上帝在创世以前预先拣选的,却在这末世为你们显现。 21你们借着基督信了使祂从死里复活、赐祂荣耀的上帝,所以,你们的信心和盼望都在于上帝。

22你们既因顺服真理,洁净了自己的心,能够真诚地爱弟兄姊妹,就当以清洁的心彼此切实相爱。 23你们获得重生,不是借着会腐烂的种子,而是借着不会腐烂的种子——上帝活泼永存的道。 24因为

“芸芸众生尽如草,

荣华不过草上花;

草必枯干花必残,

25唯有主道永长存。”

这道就是传给你们的福音。